TOP

Abatabbuliiki baakuwa ekiddako leero

Added 28th November 2016

Abatabbuliiki baakuwa ekiddako leero

 Sheikh Mwanje eyakwatiddwa.

Sheikh Mwanje eyakwatiddwa.

EMBEERA eyasangiddwa mu Basiraamu ku Muzigiti gw’e Nakasero awali ekitebe ekikulu eky'Abatabbuliiki yabadde ya kiyongobero oluvannyuma lw’okukwata Sheikh Yahaya Ramadhan Mwanje abadde akola ng'omukulembeze waabwe gwe baalonda okudda mu bigere bya Sheikh Muhammad Kamoga ali mu kkomera e Luzira.

Shiekh Isihaaka Uthuman Mayanja omu ku bakulembeze e Nakasero ategeezezza nti Abasiraamu oluvannyuma lw’okusaala esswala ya 'Zuhuli' ku ssaawa 7:00, Sheikh Mwanje abaserikale ba poliisi baamuggye mu muzigiti gw’e Matugga gye yabadde agenze okusaala esswala ya 'Subuhi' ne bamufulumya yekka ne bamutwala era okuva olwo tebamanyi gye bamukuumira.

Mayanja yakubirizza Abasiraamu okubeera abagumiikiriza n’okukuuma obukkakkamu n’akamwa kaabwe mu mbeera eriwo mu kiseera kino nga bwe balindirira ekiddako ku Mmande ku ssaawa yonna  e Nakasero bababuulire ekiddako.

Sheikh Mwanje yakwatiddwa oluvannyuma lw’okuttibwa kwa Maj. Kiggundu nga kigambibwa okubaako ky'amanyi nga byekuusa ku bigambo by'azze ayogerera Kiggundu bwe yali ku muzigiti e Nakasero.

Sheikh Mwanje bwe yali e Nakasero ng'abuulira Abasiraamu ebivudde mu kkooti, yagamba, "Sheikh Kiggundu yansanga mu ofiisi yange nahhamba nti, ggwe Yahaya owoza kimu nti, Allah agenda kututaasa ng'ambihhamba maaso ku maaso ne mmugamba sirinaayo mulala atali Allah, wandigenze ewa Kamoga n’omugamba akkirize eby’okutta Mustafa Bahiga ffe tusobole okwogera ku by’obuyeekera. Namugamba nti, nkulayirira mu Allah sijja kukikola.

Ggwe bwe wali odduka okugenda e Kenya baaleka emmundu mu mulyango gwo, ggwe waziteekawo? Ne mmugamba bwe baba baakufa, bafe naye sisobola n’olwaleero nkyakifumiitirizaako nnyo. Ebyo Kiggundu yabihhamba misana ng'atudde ku katebe kange era okuva olwo teyadda mu ofiisi yange kubanga yalaba nga waya zigenze.’’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Sserwadda

Taata wa kazannyirizi Maria...

Abakungubazi beeyiye mu bungi mu maka ga Ssentebe waabwe Benard Sserwadda Mpokota ng'ono ye taata wa Comedian MC...

Omugenzi Kaggwa

Kitalo! Munnamawulire Kavum...

Kitalo! Munnamawulire Kavuma Kaggwa afudde Omutaka w'e Kyaggwe Joseph Mukuba Kavuma Kaggwa afudde olwaleero...

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Poliisi ekutte bana ababba ...

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma...

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANG...

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde...

Omusumba Serverus Jjumba.

Abasumba bavumiridde ebikol...

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola...