TOP

Mumbere bamututte mu batujju e Nalufeenya

Munnamawulire wa ttivvi ya KTN e Kenya Joy Biira baamukutte olw’okuwandiika ku by’e Kasese mu ngeri esasamaza.

 Mumbere nga bamulunnyisa emmotoka eyamututte e Nalufeenya.

Mumbere nga bamulunnyisa emmotoka eyamututte e Nalufeenya.

Bya ALI WASSWA, GEORGE BUKENYA, ERIA LUYIMBAZI, DICKSON KULUMBA, HENRY KASOMOKO NE GODFREY LUKANGA

AMAGYE gawadde ekiragiro ku by’e Kasese, tewali muntu akkirizibwa kuddamu kweyita mukuumi wa Mbumbere eyakwatiddwa ku Ssande.

Omuduumizi w’ekibinja ky’amagye agali e Kasese Peter Erweru yagambye nti tayagala kuddamu kuwulira muntu eyeeyita omukuumi wa Mumbere.

Olubiri olwakubiddwa ku Ssande, poliisi n’amagye baasiibye balukuuma nga tebakkiriza muntu yenna kuyingirayo.

Omusinga Wesley Mumbere eggulo baamukyusizza okuva gye baasoose okumukuumira ne bamutwala mu kkomera e Nalufeenya gye basibira abatujju nga gye yasuze. Ababaka ba Palamenti okuva e Kasese ne mukyala wa Mumbere baagenze e Nalufeenya okumusisinkana okulaba embeera gy’alimu n’okwogera ku nsonga ez’enjawulo.

Munnamawulire wa ttivvi ya KTN e Kenya Joy Biira baamukutte olw’okuwandiika ku by’e Kasese mu ngeri esasamaza.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi ku Ssande yategeezezza nti Mumbere bagenda kumuggulako gwa kulya mu nsi lukwe.

Eggulo baayise olukungaana lw’abannamawulire ku Media Centre mu Kampala wabula Kaweesi ne Paddy Ankunda omwogezi w’amagye bwe baatuuseewo ne bategeeza nti baabadde bakyakola ku kiwandiiko nga baabadde baakutegeeza ekiddako kyokka bwatuuse kuziba nga tewali kye bafulumizza.

Abakonjo eggulo baatuuzizza olukungaana lw’abamawulire ku Centenary Park, Godfrey Muhindo akulira ekibiina ekigatta abava e Rwenzori abali mu Kampala (Rwenzori Flatanity Association) mu Kampala ne bategeeza nti baagala Gavumenti ekkirize Omusinga asobole okutuukirirwa bannamateekabe, omusawo we kubanga yeetaaga okuba ne ddembe lye. Baasabye nti abaakwatiddwa batwalibwe mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe bwe baba nga balina omusango bwe baba tebalina kye babavunaana bayimbulwe.

Baagala Gavumenti ewe abantu emirambo gy’abehhanda babaziike. Ab’ehhanda z’abantu abattiddwa mu bulumbaganyi n’ebikwekweto ebyakoleddwa poliisi n’amagye e Kasese baakedde kugumba ku ggwanika nga baagala babawe emirambo gy’abehhanda zaabwe.

Emirambo baagibammye ne babategeeza nti baabadde balindirira bakugu okuva e Kampala beekebejje emirambo.

Basoose ne balemerawo ku ggwanika ly’eddwaaliro lya munisipaali y’e Kasese ne babagumbulula era amasasi bwe gaavuze ne baddukawo.

Omubaka omukyala wa disitulikiti y’e Kasese era akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Winnie Kiiza, yatuuse ku kitebe kya poliisi e Kasese n’asaba Gavumenti ekkirize abantu batwale emirambo gyabwe giziikibwe.

Yasabye babalage be baakutte basobole okumanya gye bali oba balamu oba bafu! Ayagala abavunaanibwa babalage basobole okubafunira Bannamateeka.

EKIBIINA EKIGATTA ENZIKIRIZA KIRABUDDE:

Eggulo baatudde bukubirire ne bayisa ekiwandiiko nga balabula Gavumenti obukuubagano obuliwo babumalirize na kuteesa so si kukozesa lyaanyi ne batta abantu.

Ssaabawandiisi wa IRCU, Joshua Kitakule bwe yabadde asoma ekiwandiiko eri abaamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Bulange okuliraana ewa Polof. Nsibambi, Kitaakule yagambye nti abakulembeze ba IRCU wiiki ejja bagenda kukyala e Kasese boogere n’abantu nga batema empenda okuzza emirembe mu kitundu.

Basabye okuteekawo akakiiko kanoonyereze okuzuula ebiviirako obutabanguko mu kitundu kino. Balabudde Abakonjo okwewala okuwoolera eggwanga ku mbeera eriwo kubanga kijja kwongera kuyiwa musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...