TOP

Mumbere agguddwaako gwa butemu

Mumbere okutwalibwa mu kkooti ento e Jinja, yaggyiddwa mu kkomera ly'abatujju ery'e Nalufeenya gy'abadde yaggalirwa okuva ku Ssande lwe yaggyibwa e Kasese nga talinnya oluvannyuma lw'okuyiwa omusaayi e Kasese okwafiiriddemu abantu abasoba mu 100 okwabadde n'abaserikale ba Poliisi 16.

 Mumbere (ku ddyo) ng’afuluma mu kkooti.

Mumbere (ku ddyo) ng’afuluma mu kkooti.

Bya Ahmed Mukiibi, JACKIE NAMBOGGA, Eria Luyimba zi, S.Muso ke ne A. Namutebi

OMUSINGA wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere agguddwaako omusango gw'okutta omuserikale wa Poliisi n'asindikibwa ku limanda mu kkomera ly'e Kirinnya e Jinja.

Yasimbiddwa mu kkooti e Jinja wakati mu kwerinda n'obunkenke, Omulamuzi akulira kkooti ento e Jinja, John Francis Kaggwa n'amusomera omusango gw'okutta omuserikale wa poliisi.

Omulamuzi Kaggwa olwamaze okusomera Mumbere omusango, n'amugaana okubaako gy'ayogera kyonna, kubanga kkooti ye terina buyinza kuwulira musango gwa nnaggomola, nti obuyinza obwo buli wa mulamuzi wa Kkooti Enkulu.

Mu kkooti mwabaddemu; Nnaabakyala wa Rwenzururu, Agnes Nyabaghole Ithungu, munnamateeka wa Mumbere David Bwambale, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, era omubaka omukazi owa Kasese Winne Kiiza n'abantu abatonotono.

Mumbere ng’atwalibwa mu kkomera. Ku ddyo mu byeru ye mukyala we.

 

Mumbere okutwalibwa mu kkooti ento e Jinja, yaggyiddwa mu kkomera ly'abatujju ery'e Nalufeenya gy'abadde yaggalirwa okuva ku Ssande lwe yaggyibwa e Kasese nga talinnya oluvannyuma lw'okuyiwa omusaayi e Kasese okwafiiriddemu abantu abasoba mu 100 okwabadde n'abaserikale ba Poliisi 16.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lutegeezezza nti nga March 24, 2016 Mumbere yalagira abakuumi be n'abawagizi okulumba poliisi y’e Kidodo mu kibuga ky’e Kasese nga mu bulumbaganyi obwo, omuserikale wa Poliisi, Geoffrey Kasimba yattibwa.

Bw’amaze okusomerwa emisango, oludda oluwaabi lusabye omulamuzi Kaggwa, Mumbere aggalirwe mu kkomera ly'e Kirinnya ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omulamuzi yalagidde Mumbere okudda mu kkooti nga December 13, 2016.

Mumbere okusimbibwa mu kkooti e Jinja mu kifo ky'e Kasese gy’agambibwa okuddiza omusango kyaddiridde Omuwaabi w'emisango gya Gavumenti, Mike Chibita okuwandiikira Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe ng'asaba olukusa omuwawaabirwa ne banne babavunaanire e Jinja kubanga embeera eri e Kasese si nnungi.

Okusooka, Minisita w'Ensonga ez’omunda, Gen. Jeje Odongo yalidde matereke n'ababaka ba Palamenti bwe yabadde abannyonnyola ku by'okukwatibwa kwa Mumbere n'ebyabadde e Kasese okuva ku Lwomukaaga oluwedde, amagye ne Poliisi bwe baakoze ekikwekweto mu lubiri lwa Mumbere.

Ababaka naddala ab'e Kasese baamwambalidde nti ekiwandiiko kye kyabaddemu obulimba, kyekubiira, okulebula, okuvvoola n'okusavuwaza ku nsonga ez'e Kasese era baasabye gavumenti esseewo akakiiko k'abalamuzi okunoonyereza ku nsonga z'e Kasese okuzinogera eddagala ery'olubeerera.

Baasabye ne Mumbere ayimbulwe awatali kakwakkulizo.

MUMBERE BAMULUMIRIZZA

Gen. Odongo yalumirizza Mumbere nti ye yavuddeko okuyiwa omusaayi era nti agenda kukisasulira n'annyonnyola nti abakuumi b'Omusinga enfunda nnyingi babadde basoomooza n'okulumba ebitongole ebikuumaddembe okuli enkambi z'amagye ne poliisi ne batta n'okubba emmundu nga kino kye kyavuddeko okubawaliriza okukwata Mumbere.

Nga tannagenda mu Palamenti, Minisita Odongo yasoose kutuuza lukuhhaana lwa bannamawulire ku Media Centre n'ategeeza nti Mumbere yennyinni ye yabadde omuduumizi w'abakuumi be abeetuuma, "Kirumira Mitima" nga batta abantu abatalina musango oluvannyuma ne baddukira mu Lubiri lwa Mumbere.

"Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti obulumbaganyi obubadde e Kasese bubadde bukolebwa abakuumi b'Omusinga era nga bwe babadde bamaliriza okulumba nga baddukira mu lubiri ekiraga nti n'Omusinga abadde abamanyi," Minista Odongo bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti ku Lwomukaaga nga November 28 abakuumi b'Omusinga baalumba abaserikale abaali mu kulawuna ekibuga Kasese ne babakasukira bbomu n'okufumita omuserikale omu ekiso n’abaserikale nabo ne beerwanako ne bakuba amasasi nga kino kyaviirako obulumbaganyi okukolebwa ku baserikale mu bitundu ebirala mu Kasese naddala mu magombolola okuli Ihandiro, ku ddwaaliro ly’e Kagandi e Kisunga, Bwesumba, Kyabarungira, Mubuku e Maliba ne Ibanda mu Bugoyi.

Yategezezza nti akabinja ka 'Kirumira mutima' kaasooka kweyita 'Isyomago Syo Businga' ekivvuunulwa nti ‘abavubuka b'Obusinga’ oluvannyuma ne keeyubula nga babadde batendekebwa okukuuma ebyama n'okubeera n'omutima omugumu era babadde beenyigira mu ttemu eribaddewo.

Yanyonyodde nti nga November 21 olukiiko lw'ebyokwerinda olugatta disitulikiti 7 ezikola ekitundu kya Rwenzori nga lwalimu ba RDC ne ba Ssentebe ba disitulikiti zino abaatuula e Kabarole ne bakkaanya enkambi zonna ezaatandikibwawo aba Kirumira Mutima okuggalibwawo bunnambiro nga kino kyalina okukulemberwamu abeebyokwerinda.

Minisita Odongo yagambye nti aba Kirumira Mutima bwe baawulira bino, ne balumba poliisi era abaserikale ba poliisi 16 battiddwa mu bulumbaganyi buno ne batwala emmundu 4 nga bakozesa amajambiya, amafumu, bbomu guluneedi n’ebissi ebirala.

Yagambye nti mu kwerwanako abasirikale basse abakuumi b'Omusinga 46 n'okukwata abantu 149, abamu ne baddukira mu lubiri, amagye ne poliisi ne babalumbayo.

Yagasseeko nti oluvannyuma lw'okulumba Olubiri lwa Mumbere n’akwatibwa n’atwalibwa e Nalufeenya, poliisi yazudde emmundu z'ekika kya SMG 7, basitoola, amajambiya, amafumu, bbomu enkolerere 16 nga byonna byasangiddwa mu lubiri.

Amajambiya agaasangiddwa mu lubiri lwa Mumbere.

 

GAVUMENTI ENOONYEREZA

Yagambye nti gavumenti etandise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko obuzibu e Kasese nga batunuulidde ensonga omuli oba nga byekuusa ku Ttaka, ebyenfuna, ebyobuwanga naddala okusika omuguwa wakati w'Obusinga n'Obudingiya, ebyobufuzi kuba kibadde kiwanuuzibwa nti kisoboka olwa NRM okuwangulwa mu kitundu kino.

Mu ngeri y’emu omuduumuzi wa Poliisi, Gen Kale Kayihura, yalonze SCP Fadil Kaali okukuliramu ebikwekweto mu Kasese n’amuwa ebiragiro okulaba ng’embeera edda mu nteeko.

Omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi yagambye nti poliisi eriko emmundu endala nnya z’ezudde mu nkambi za ‘Kirumira Mutima.’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....