TOP

Sheikh Kamoga ne banne munaana Gavt. ebamezze

Added 1st December 2016

Sheikh Kamoga ne banne munaana Gavt. ebamezze

 Kamoga (owookubiri ku kkono) ne banne mu kkooti.

Kamoga (owookubiri ku kkono) ne banne mu kkooti.

SHEIKH Yunus Kamoga eyali akulira Abatabbuliiki nga kati awerennemba n'emisango gy'okutta Basiraamu banne alagiddwa okuliyirira Gavumenti olw'okugimalira ssente n'ebiseera ng'agivunaana mu kkooti mu nsonga ezitaliimu.

Ssente zino Kamoga agenda kuzisasula ne banne abalala munaana bwe bavunaanibwa okuli Sheikh Siraje Kawooya, Murta Mudde Bukenya, Abdulsalaam Sekayanja, Abdul Hamid Mubiru Sematimba, Rashid Jjingo, Twaha Sekitto, Yusuf Kakande ne Fahad Kalungi wabula kkooti teyawadde muwendo gwa ssente ze bagenda kuliwa.

Kino kiddiridde abalamuzi ba kkooti etaputa Ssemateeka 5 abaakulembeddwa Steven Kavuma okugoba omusango gwabwe mwe babadde bavunaanira omuwaabi wa Gavumenti omukulu, Mike Chibita okujeemera ebiragiro bya kkooti bwe yalagirwa mu March 2015 okuwaayo obujulizi bwonna bw'agenda okwesigamako okugussa omusango gw'obutemu mu bbanga lya myezi ebiri kyokka emyezi ne giggwaako nga tannabuwaayo.

Kamoga ne banne era baasaba bwe kiba kisoboka Chibita naye asindikibweko mu kkomera amaleyo emyezi mukaaga olw'okuyisa amaaso mu biragiro by'abalamuzi.

Abalamuzi bonna bakkaanyizza nti ensonga za Kamoga ne banne teziriimu ggumba era zaali tezisaana kutwalibwa mu kkooti etaputa ssemateeka kubanga mu mateeka tebasobola kuyingirira muwaabi wa gavumenti n'okumusalirawo engeri gy'alina okukolamu emirimu naddala mu kuwaayo obujulizi wabula ne babagamba nti bwe baba bakyawakanya enkola ye bagende mu kkooti ekola ku misango gy'engassi gye baba batwala okwemulugunya kwabwe.

Wabula ensala y'abalamuzi egenze okujja nga kkooti yatandika dda okuwulira obujulizi obubalumika mu musango gw'okutemula Sheikh Hassan Kirya ne Mustapha Bahiga nga n'obujulizi bwe baali basaba beetegekere okwewozaako bwabaweebwa.

Baasaba n'abalamuzi batunule mu nsonga y'okubatulugunyiza ku poliisi n'okubakuumirayo okumala essaawa 48 nga tebatwalibwa mu kkooti oba kikkirizibwa okweyimirirwa. Ku nsonga eno era abalamuzi baagigobye ne babalagira bagende mu kkooti y'engassi bagisabe eragire gavumenti ebaliyirirwe singa kizuulwa nti baatulugunyizibwa.

Kamoga ne banne baakwatibwa wakati wa January 2015 ne February 2016 ne baggalirwa mu kkomera e Luzira nga kigambibwa nti be bali emabega w'ettemu ly'Abasiraamu n'okutiisatiisa omulangira Kassim Nakibinge ne Sheikh Kibaate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...