TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mumbere: Ekkomera kitaawe gye yafiira naye limulondodde

Mumbere: Ekkomera kitaawe gye yafiira naye limulondodde

Added 2nd December 2016

W’osomera bino nga Mumbere atemeza mabega wa mitayimbwa, mu kkomera e Kirinnya- Jinja gy’ali ku limanda ku musango gw'obutemu nga kigambibwa nti yeenyigira mu kutta omuserikale wa Poliisi, No 53221 PC Geofrey Kasimba.

 Pulezidenti Museveni ne Mumbere lwe baamutikkira mu 2009.

Pulezidenti Museveni ne Mumbere lwe baamutikkira mu 2009.

Oluvannyuma lw’obusambattuko obubaddewo wiiki eno mu bitundu by’ensozi z’e Rwenzori, obuvuddeko abantu abasoba mu 100 okuttibwa n’okukwatibwa kw’Omusinga, Charles Wesley Mumbere, Ahmed Mukiibi alaze ebyafaayo bya Mumbere n’Obusinga bwa Rwenzururu n’obuzibu we buva.

OMUSINGA (Kabaka) wa Rwenzururu , Charles Wesley Kisembo Muhindo Mumbere Irema-Ngoma Kibanzanga II ye mukulembeze w'Obusinga bwa Rwenzururu obutwala ekitundu eky'omu nsozi z'e Rwenzori.

W’osomera bino nga Mumbere atemeza mabega wa mitayimbwa, mu kkomera e Kirinnya- Jinja gy’ali ku limanda ku musango gw'obutemu nga kigambibwa nti yeenyigira mu kutta omuserikale wa Poliisi, No 53221 PC Geofrey Kasimba.

Bwe yasimbiddwa mu kkooti e Jinja, Mumbere 64, omujaasi omutendeke era eyali aduumiddeko olutalo yalabise nga tatidde.

Mumbere musajja mumalirivu y'ensonga lwaki teyakoma ku kuzuuzumbya gavumenti ya Milton Obote kati n’eya Pulezidenti Museveni agireppusa!

Bw’omulaba ng'akamwenyumwenyu kamwetimbye ku matama n'okubeera omusajja omumpi, oyinza okumunyooma.

Okutuuka okukwatibwa, Mumbere yasoose kunyoomoola kiragiro kya Pulezidenti bwe yamuwadde essaawa bbiri zokka ku Ssande nga November 27, 2016 okuwaayo abavubuka ababadde bamukuuma mu Lubiri lwe.

Mumbere yagaanyi, olwo amagye ne Poliisi ne bakozesa eryayi, Mmamba z'amagye ne ziyingira mu Lubiri lwe olw'e Buhikira emmundu n'etokota okukkakkana ng'Olubiri lutuntumuka muliro n'abantu abasoba mu 100 battiddwa ne Mumbere akwatiddwa mu ngeri ey'okumutyoboola.

Mumbere mu kyambalo ky’amagye ekimufaananya komando.

 

MUMBERE Y'ANI?

Charles Wesley Mumbere yazaalibwa November 14, 1952 e Kitagwenda mu Toro. Baamuzaalira ku ssomero lya Ntuntu Primary School, kitaawe, omugenzi Isaya Musabuli Kibanzanga gye yali omusomesa wa Pulayimale.

Nnyina ye Christine Biira-Mbuka Mukirania enzaalwa ey'e Bundibugyo akyaliwo. Bwe yali yaakazaalibwa, kitaawe Musabuli yakyusibwa okugenda e Bundibugyo okwongera okukuuta ennoni, bwatyo n'atwala famire ye.

E Bundibugyo, Musabuli Kibanzanga yakola omulimu gw'obusomesa ng'eno bw'azannya n'ebyobufuzi naddala ebyokulwanirira okwetongola kw'Abakonjo n'Abamba abaali bafugirwa mu Bwakabaka bwa Toro era nga bwatwalibwa nga Batooro , so nga baalina obuwangwa n'olulimi lwabwe.

Olwo gwali mwaka gwa 1954, nga Musabuli asitudde enkundi agamba nti Abakonjo n'Abamba balina okwekutula.

Yategeezanga nti Obwakabaka bwabwe bwakuyitibwa 'Rwenzururu Bakonzo- Bamba', kyokka abafuzi b'amatwale baagaana ne basalawo okukwata Musabuli ne banne ne babasiba.

N’eyo mu kkomera, Musabuli yasigala akyalwana, okutuusa amaanyi ge lwe gaavaamu ebibala nga June 30, 1963, lwe yalondebwa ebika by'Abakonjo n'Abamba ng'omukulembeze waabwe ow'ennono.

Yaweebwa ekitiibwa eky'Omusinga wa Rwenzururu. Waayita emyaka esatu ng'amaze okulondebwa ng'Omusinga, Musabuli n'afa nga September 2, 1966.

Kigambibwa nti mu kiraamo kye, Musabuli yali yalaamira Petero Mumbere, omwana wa muganda we omulenzi okumusikira ng'Omusinga. Wabula Petero eyali ow'emyaka 22, yafa mu ngeri etaategeerekeka nga waakayita emyezi esatu nga Musabuli afudde era okufa kwe kwakwasisa abantu babiri; Yustasi Masereka ne Yusufu Musobolo abagambibwa nti be baaluka olukwe lw'okumutta nga kigambibwa nti baali batumiddwa Isaaya Mukirane eyali yeegwanyiza entebe y'Obusinga.

Mutabani wa, Isaya Musabuli, Charles Mumbere ow'emyaka 14, yatikkirwa ng’Omusinga wa Rwenzururu owookubiri nga October 19, 1966.

Olw'okuba yali tannaweza myaka 18, Mumbere yassibwako abakuza babiri okumuyamba okuddukanya Obusinga okuli Yohana Mwambalha ne nnyina Christine Mukirania.

Omwogezi wa Poliisi, AIGP Felix Kaweesi ng’alaga ebyokulwanyisa bye baasanze mu Lubiri lwa Mumbere.

 

MUMBERE ATENDEKEBWA MU BY'EKIJAASI

Emyaka gye gyonna egy'obuto, okuva lwe yatandika okutegeera, Mumbere yakulira mu lutalo nga kitaawe Musabuli alwanirira Obusinga bwa Rwenzururu , okutuuka lwe yafa mu September wa 1966.

Mumbere agamba nti yali wa myaka 9, kitaawe Musabuli n'amutwala mu nsozi mu kifo ekiyitibwa Kasulenge n'atandika okutendekebwa ng'omujaasi.

Okutendetekwa kwali kwa kaasammeeme kubanga eyo ye yali entikko olw'olutalo Obwakabaka bwa Toro lwe lwali lwaggula ku Bakonjo n'Abamba okubalemesa okwekutulako.

Mumbere agamba nti okuva mu 1960 okutuukira ddaala 1965, yali mu kutendekebwa mu bifo eby'enjawulo mu nsozi z'e Rwenzori ku ludda lwa Uganda n'oludda lwa DR, Congo, (eyali Zaire).

Waliwo lwe yasimattukira awatono okuttibwa, abajaasi ab'eggye ba gavumenti erya King's African Rifle (KAR) ne Poliisi bwe yabalumba mu nsozi z'e Rwenzori n'esaanyaawo enkambi yaabwe ey'e Kasulenge bannaabwe bangi ne battibwa.

Mumbere agamba nti kitaawe yamuddusa n’amutuusa mu bibira by'e Mathungu mu DR Congo ne babeera eyo nga balwana okutuusa kitaawe lwe yafa.

Nga kitaawe afudde, Mumbere yasigala mu nsiko era Obote yagenda okuwera Obwakabaka mu 1967 nga Mumbere ali eyo.

Amin bwe yawamba mu 1971, Abataka bw'e Rwenzori okwali Abakonjo n'Abamba baamusisinkana ne basaba okuweebwa disitulikiti okwetongola ku Toro, ekintu Amin kye yakkiriza ne watondebwawo disitilikiti y'e Rwenzori oluvannyuma eyafuuka Kasese n'eya Semliki oluvannyuma eyafuuka Bundibugyo.

Mumbere ne banne baava e Congo ne badda mu Uganda , Mumbere n'alonda Yolamu Mulima nga Katikkiro wadde ng'Obwakabaka bwali buwereddwa mu Uganda.

DDIIRU YA MUMBERE NE OBOTE

Okuva mu myaka gya 1960, gavumenti eya wakati yagezaako okukola ku nsonga za Rwenzururu naddala ey'okutongola Abakonjo n'Abamba okubaggya ku Toro.

Idi Amin ne bwe yakkiriza okutondawo disitulikiti bbiri eya Semliki ne Rwenzori, ekyo tekyalobera Bakonjo n'Abamba kusigala nga bakyatolotooma.

Pulezidenti Godfrey Lukongwa Binaisa naye yagezaako kyokka n'alemwa mu myezi 11 gye yali Pulezidenti wa Uganda Mumbere yasigala mu nsiko mu nsozi z'e Rwenzori ng'alwanyisa gavumenti ya Obote okutuusa mu August wa 1982 lwe yamatizibwa eyali Minisita wa Obote, Amon Bazira, Mumbere n'ava mu nsiko n'awaayo ebyokulwanyisa byonna, n'abalwanyi be abakkiriza okuva mu nsiko ne bayingizibwa mu magye g'eggwanga erya Uganda National Liberation Army (UNLA).

Wabula abamu ku balwanyi baasigalayo mu nsiko nga bagamba nti bajja kulwana okutuuka ku muntu asembayo era bano Amon Kabunga Bazira kwe yazimbira mu 1988 bwe yali atandika ekibiina ky'abayeekera ekya National Army for the Liberation of Uganda (NALU)

We yakukunukira mu nsiko mu 1982, Mumbere yali yakoma mu P.4 ng'obulamu bw'amanyi bwa mu ttale na mmundu.

Gavumenti ya Obote n'emusindika mu Amerika okusoma nga wa myaka 32

Enteekateeka za Mumbere okugenda mu Amerika okusoma zaamala emyaka ebiri nga zikyekulula okutuuka buli kimu lwe kyaggwa n'asitula mu September wa 1984 okugenda mu Amerika ku misomo egy'obukulu.

Mu Amerika, Mumbere yatuukira mu Maryland mu maka ga Aggrey Siryoyi Awori, eyali omubaka wa Uganda mu Amerika.

Ewa Aggyey Awori, Mumbere yasulawo emyezi mukaaga nga bw’asoma okutuuka lwe yafuna omuzigo gwe. Mumbere yali yaakakkalira mu Amerika, gavumenti ya Obote y'ewambibwa mu 1985, emisomo gye ne gigootaana n’atandika okukuba ekyeyo.

Ekyeyo, Mumbere yakikuba okumala emyaka 25 nga tewali akimanyi nti mwana wa ngoma.

Yasigala mu bitundu bya Maryland ng'akuba ekyeyo okutuukira ddala mu 1998, gavumenti ya NRM lwe yamufunira sikaala n'addamu okusoma.

Yafuna ekifo mu Harrisburg Area Community College (HACC) e Harrisburg, mu ssaza ly'e Pennsylvania n'asoma kkoosi mu Lungereza, kompyuta n'ebyobufuzi mu 1999 era bwe yaggwa n'asigala ng'akola mu malwaliro n'ebifo omukuumirwa abakadde nga nansi omusajja.

Wakati mu kukuba ekyeyo mu Amerika n'okusoma, Mumbere kigambibwa nti yasigalaamu ak'obuyeekera, nga kigambibwa nti yawagiranga Amon Bazira n'abayeekera aba NALU mu lutalo lwabwe olw'okulwanyisa gavumenti ya NRM. Mu ntikko y’amagye ga UPDF okulwanyisa NALU mu nsozi z'e Rwenzori, waliwo amabaluwa ana (40) agaazuulibwa mu nkambi za Bazira nga Mumbere yali amuwandiikira okumuzzaamu amaanyi.

Mumbere ne mukyala we nga yaakazaala Omumbejja mu 2010.

 

Emu ku bbaluwa Mumbere gye yawandiikira Bazira yali eraga nti ye Mumbere ye mumyuka we era ekiseera kyonna agenda kumwegattako bakekeze ennyago.

Wabula olutalo lw'ekiyeekera Bazira lwamuyinga nga UPDF emuli bubi n'addukira e Kenya wabula n'afiirayo, abatemu bwe baamuteega mu luguudo oluva e Nairobi okudda e Nakuru ne bamukuba ebyasi nga August 20, 1993.

Nga Bazira attiddwa, n'abayeekera ba NALU bangi babattidde mu nsozi, abaasimattuka beegatta ku kibiina kya ADF aba Jamil Mukulu ne batandika okulwanyisa gavumenti ya NRM mu 1995.

Gavumenti bwe yakitegeera nti Mumbere yalina omukono mu bya ADF ne zidda okunywa era waaliwo enteekateeka ezaakolebwa okumukwata wabula muto we Christopher Kibanzanga, eyali omubaka wa Palamenti akiikirira Busongora South ekiseera ekyo, n'Abataka b'e Rwenzori baasaba Pulezidenti Museveni okuwa Mumbere ekisonyiwo.

Mumbere yasinziira mu Amerika ne yeegaana ADF n'addamu okusaba Gavumenti okutongoza Obusinga, bwa Rwenzururu okufaananako nga bwe yatongoza Obwakabaka mu bitundu bya Uganda ebirala.

Mu kampeyini z'Obwapulezidenti mu 2001 ne 2006, ensonga z'Obusinga zaabuutikira ebyobufuzi bw'omu bitundu by'e Rwenzoori nga bannabyobufuzi ab'oludda oluvuganya Gavumenti bazeeyambisa okukyayisa Museveni ne NRM.

 

Ng'oggyeeko abantu abatonotono abaali ku ludda lwa Dr. Crispus Kiyonga eyali tawagira Businga, abantu abasukka mu 90 ku 100 okusinziira ku kunoonyereza okukolebwa mu 2005 baali bafiira ku Businga.

Mu kulonda kwa 2001 ne 2006, Pulezidenti Museveni teyakwatamu mu kalulu k'e Kasese, ng'obululu, Abakonjo n'Abamba baabuyiira Dr. Besigye.

Mu August wa 2009, oluvannyuma lw'enteeseganya ez'ekyama wakati wa Museveni n'abantu abakwatibwako ensonga e Kasese, Mumbere yadda mu ggwanga n'atikkirwa mu October wa 2009, era awo Pulezidenti Museveni n'amanya nti kiwedde.

Wabula mu kulonda kwa 2011, Besigye n'aba FDC era baddamu okuwangula Kasese, ate bwe twatuuse mu kulonda kwa 2016, FDC yawangudde NRM e Kasese n'edda ne mu kati ne yeewogoma.

Kigambibwa nti Mumbere yawagira Besigye kyere n'atuuka n'okuwa Pulezidenti Museveni amagezi nti bw'anaawangulwa, akkirize aweeyo obuyinza.

MUMBERE ALINA ABAANA BATAANO

Mumbere musajja mufumbo mukyala we ye Naybaghole, Agnes Ithungu Asiimawe. Naybaghole kye kitiibwa ekiweebwa muka Omusinga okufaananako nga Nnaabagereka bw'ali mu Buganda.

Yamuwasa mu 2007, balina abaana basatu omuli Omulangira Charles Nyamutswa eyazaalibwa mu 2009 n'Abambejja babiri: Vickie Michelle Kibanzanga n'omuto eyazaalibwa mu 2013.

Mumbere alinayo abaana abakulu, Joyce Christabel Biira Furaha n'Omulangira Wesley Albert Asimawe ababeera mu Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...

Omusomesa ng'akebera omuyizi corona virus.

Minisitule y'ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ekoze enkyukakyuka mu birina okusomesebwa abayizi ba P7 abazzeeyo ku masomero n’ab’ebibiina...

Zzimula n'embuzi ze.

EMBUZI GYE BAMPA MU MUSOMO ...

ZZIMULA , mutuuze w’e Busega Kibumbiro zooni B mu munisipaali y'e Lubaga mu Kampala. Muluunzi wa mbuzi era yazizimbira...

Aikoru n'abaana baabadde atulugunya.

Abadde asuza abaana mu kaab...

OMUKAZI Juliet Aikoru ow’e Kazo Angola akwatiddwa ng’abadde amaze ebbanga ng’atulugunya abaana ba muggyawe be yalekera...