TOP

Owa Gambia akkirizza ebivudde mu kalulu

Added 4th December 2016

Owa Gambia akkirizza ebivudde mu kalulu

 Pulezidenti Yahya Jammeh

Pulezidenti Yahya Jammeh

PULEZIDENTI wa Gambia Yahya Jammeh akkirizza ebivudde mu kulonda n’akubira eyamuwangudde essimu ng’amuyozaayoza n’okuwa obweyamu nti waakuwaayo obuyinza mu mirembe.

Yawanguddwa omusuubuzi w’ettaka n’ebizimbe Adama Barrow eyasussizza mu bululu 45 ku buli 100 ate nga Jammeh afunye obululu 36 byokka ku buli 100. Jammeh afugidde Gambia emyaka 22 okuva lwe yawamba obuyinza mu 1994 era eggwanga abadde alifugira ku biragiro ebitaddibwamu.

Yeerangirirako nti alina eddagala eriwonya akawuka ka siriimu n’obugumba era n’atandika n’okuligabira abantu, kyokka abasinga baagamba nti lyali lya kiwaani nga terikola.

Pulezidenti Jammeh yasinzidde ku ttivvi ya Gavumenti n’ategeeza ensi nti akkirizza ebivudde mu kulonda era waakukwasa Barrow obuyinza mu ddembe.

Bombi balina emyaka 51 kyokka Barrow abadde tabeerangako mu kifo kya byabufuzi kyonna era abawagizi be beeyiye ku nguudo nga basaakaanyiza waggulu nti baleese Donald Trump waabwe eyamezze nnaakyemalira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...