TOP

Abuzizzabuzizza omusawo n'amubbako omwana

Added 4th December 2016

Abuzizzabuzizza omusawo n'amubbako omwana

 Bukenya ng’aleze ddole gye yalese azazise awaabadde omwana (mu katono) gwe yabbye

Bukenya ng’aleze ddole gye yalese azazise awaabadde omwana (mu katono) gwe yabbye

POLIISI y’e Kawempe ekutte omukazi abbye ku musawo omwana gw’abadde yaakazaalira mu ddwaaliro lya gavumenti e Kawempe. Gloria Bukenya baamukutte abbye omwana, Prince Morgan Naluswa ku nnyina, Aisha Matovu, 25.

Matovu musawo mu ddwaaliro lya Modern Care e Kawaala ate bba Tonny Blessing Naluswa akola byamasannyalaze nga batuuze b’e Kasubi. Bukenya omwana yamubbye ku ssaawa 8.00 ez’emisana. Yasoose kuyingira mu ddwaaliro nga bwabadde akola bulijjo nga yeefuula alina omwana gw’alabirira mu ddwaaliro.

Yabuzaabuzizza abasawo bwe yazze ne kkeesi omwabadde engoye za bbebi. Yakutte bbebi (gwe yabbye) n’amwambaza ku ngoye ze yaleese n’amwambula n’akakomo akaliko amannya ga nnyina! Yamwambazza ppampa endala olwo abasawo ne babuzaabuzibwa. Mu kkeesi ya Bukenya mwabaddemu ddole ya pulasitiika gye yayambazza engoye n’agizazika awaabadde bbebi (gwe yabbye). Yabadde ne fulasika n’ennywanto era obwedda omwana amuwa caayi, asobole okuyita ku ggeeti y’eddwaaliro ng’omwana takaaba.

Wabula olwatuuse ku ggeeti, omuserikale n’amubuuza ebimukwatako n’agamba nti alina emyaka 23! Gino gyawulikise ng’emitono ku ndabika ye, abaserikale ne babuusabuusa by’ayogera era ne bongera okumukunya. Olwakwatiddwa n’aleekaana nga bw’abadde anoonya okutereeza obufumbo oluvannyuma lw'omusajja okugaana okumuwasa ng’ayagala asooke kumuzaalira.

NNANNYINI MWANA AYOGEDDE: Aisha Matovu agamba: “Nalongoosebwa ku Lwokuna omwana omulenzi. Abasawo bansannyalazza we baasala ne nsigala nga ntegeera era omwana namulabye ne mmwetegereza.

Omwana abasawo baamututte ajjanjabibwe kuba yabadde tassa bulungi. Baze, Naluswa ne mwannyina Joweria Tamale baamuwerekedde okumanya gy’atwaliddwa era be baabadde bamulambula.

Nga ntereddemu, nanonye omwana wange ku Lwokutaano ne bamumpa. Namulekedde muganda wange amukuume ne hhenda okufuna eddagala. Gwe namulekedde yavuddewo nga tamanyi nti waliwo amuswamye.

Omwogezi w’eddwaaliro, Sarah Ndibalekera alabudde bamaama abagenda mu ddwaaliro okuzaala okubayambako okuzuula abantu abakyamu ababeerimbikamu. N’agamba nti omujjuzo gwe balina gwe gubadde guyambye Bukenya okufulumya omwana. Asabye abakyala okweyunira amalwaliro ga Health Centre amalala. Bukenya yagguddwaako omusango gw'okubba omwana ku poliisi y’e Kawempe nga ku fayiro nnamba SD:65/02/12/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...