TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omukuumi wa Seiko gye yasse abantu babiri

Engeri omukuumi wa Seiko gye yasse abantu babiri

Added 5th December 2016

Engeri omukuumi wa Seiko gye yasse abantu babiri

 Juma Seiko

Juma Seiko

AMASASI ganyoose ewa Maj. Juma Seiko e Nakasero okukkakkana ng’abantu babiri battiddwa ate omu n’agendera ku bisago. Abattiddwa kuliko Fred Sembatya ng’ono muvuzi wa bodaboda ku luguudo Balintuma e Mengo ssaako n’omu ku bakulira abakozi mu kkampuni ya Securiko emanyiddwa nga SGA, Lameck Ogwang.

Zaabadde ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza Ssande, omuvubuka abeera mu maka ga Maj. Seiko agasangibwa e Nakasero ku kibanja 1A nga waakayita ku Blood Bank, amanyiddwa nga Solomon Semaganda Mugabi bwe yakomyewo ne banne okuli Sembatya, Ogwang, David Senkubuge ne Katumba ne bayingira kyokka omukuumi wa Seiko eyategeerekese nga Alex Cherotic (ono yazirwanako) n’akkirizaako Mugabi gw’amanyi abasigadde n’abagaana okuyingira. Mu kavuvung’ano akaddiridde, omukuumi we yakubidde be yabadde akaayana nabo amasasi n’attako babiri, omulala n’agenda n’essasi mu kugulu.

Nnyini maka Maj. Juma Seiko agamba nti amasasi gaavuze ali mu kisenge kye nga yeebaseemu kuba yabadde akooye ng’ava kulaba mupiira. Agamba nti bwe yatuuse awaka yayingidde buyingizi n’alinnya mu kalina waggulu n’assaako ttivvi n’alaba amawulire ku mukutu gwa Aljazeera n’oluvannyuma ne yeebaka.

Amasasi agaavuze ge gaamuzuukusizza kyokka n’alowooza nti Poliisi erwana na babbi. “Saabifuddeko nnyo kuba nalowoozezza nti abo babbi kuba ekifo ekyo okuliraana geeti yange babbirawo nnyo abantu era naakabataasa emirundi ng’ena”. Bwatyo Seiko bwe yategeezezza.

Yagambye nti oluvannyuma waliwo omwana eyamuyise n’amutegeeza omutawaana oguguddewo era kwe kubuuza omukuumi we eyamuyitiddemu nga Mugabi bw’abadde ayingiza abantu b’atamanyi bw’abagaanye ne balwana era naye n’abaanukuza omuliro gw’emmundu.

Maj. Seiko agamba nti Mugabi tamumanyi nnyo wabula ky’amanyi nti yali mukwano gwamutabani we Abdul Seiko nti kyokka omutabani bwe yagenda e Dubai, ate Mugabi yasigala asula awaka yadde nga Seiko tamulinaako kakwate.

Amangu ago Seiko yakubidde DPC wa Poliisi ya CPS eyatuuse mu bwangu n’ekwata omukuumi, omulenzi w’awaka Mugabi, emmundu eyasse ssaako n’emirambo n’abaalumiriziddwa n’ebatwala. Maj. Seiko ateebereza nti bano bandiba nga baabadde baagala kumubba kuba olujja lwe lulimu emmotoka nnyingi ate ng’omukuumi we y’abeera n’ebisumuluzo naye ate ekyewuunyisa, abaakubiddwa bonna tekwabadde yabadde na kissi kyonna okuggyako densite zaabwe zokka.

Okusinziira ku Nnamwandu wa Fred Sembatya, omu ku battiddwa, Resty Ssembatya, omwami we yamukubidde essimu ku saawa 2:00 n’amutegeeza nga bw’akyali ku mulimu wabula n’amusuubiza okudda ku ssaawa 6:00 z’annyuka. Resty yagambye nga bwe yalinze bba nga tadda kyokka olw’okuba nga yabadde amusuubizza okukomawo ku saawa 6:00 ez’ekiro yabadde n’essuubi nti alabika akyalina ebimukutte wabula agenda okuddamu okukuba ku ssimu ye nga teriiko. “ Nalabye baze tadda kwe kusalawo okwebaka naye ng’amatu ngatadde ku luggi oba olyawo anaakomawo, wabula obudde bwakedde nga simuwulizza.

Ku saawa 1:30 omuserikale okuva ku poliisi ya CPS yakubidde mulamu wange essimu ng’akozesa essimu ya baze ng’abuuza oba nnannyini ssimu eno yabadde amumanyi , era oluvannyuma lw’okumutegeeza nga bw’amumanyi kwe kumusaba agende ku poliisi ya CPS nti kubanga nnyini ssimu yabadde akubiddwa amasasi e Nakasero era ng’afudde.” Resty bwe yategeezezza. Yagasseeko nti mu kiseera ekyo, byonna bye yabadde atandise okukola we yabikomezza , n’awunga, nga tamanyi kyavuddeko muntu waabwe kukubwa masasi, ate ng’abaagamukibisizza yabapangisizza kumuzza waka.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emiliano Kayima yakkirizza okukwatibwa kw’omukuumi ssaako n’emmundu n’ategeeza nti kati batandise okunoonyereza okulaba ekyavuddeko okutta abantu abataabadde na kissi kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.