TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mao yeerayiridde okufaafagana n'abaagala okusanyaawo DP mu Busiro South

Mao yeerayiridde okufaafagana n'abaagala okusanyaawo DP mu Busiro South

Added 5th December 2016

Mao yeerayiridde okufaafagana n'abaagala okusanyaawo DP mu Busiro South

 Mao ng'ayogera ku mukolo gw'amatikkira

Mao ng'ayogera ku mukolo gw'amatikkira

PULEZIDENTI w'ekibiina kya DP Nobert Mao alayidde okufafaagana n'abo bonna abazingamizza ekibiina kya DP mu Busiro South ekibadde ekibaletedde okukendeera amaanyi ge kyalina mu biseera by'emabega. 

Bino Mao abyogeredde ku mukolo gw'okutikkira munnakibiina kya DP Al Bashir Kayondo era nga ye kansala wa Ssisa ku Disitulikiti e Wakiso ogw'abadde mu makaage e Bweya -Kajjansi.

Kayondo yatikiddwa diguli y'amawulire gye yafunidde ku ttendekero lya St. Lawrence University.

Mao yebazizza nnyo Kayondo olw'okwongera ku bitabo bye ekiweesa ekibiina ekitiibwa. yayongedde namwebaza okubeera n'omutima gw'ekibiina obutakyukakyuka.

Mao yayongedde n'ategeeza nti waliwo abamu ku baali ba memba b'ekibiina  abafubye okulaba nga bazza ekibiina emabega nga bekutula ku bannaabwe ekitadde ekibiina wansi nabalayirira nga bwajja okukola ne banne bakizze waggulu.

Ku mukolo gwegumu gwabadde n'eyavuganya ku bubaka bwa palementi mu kitundu kino Stephen Ssekigozi  era nga ye yatwala omubaka Peter Ssematimba olw'obutaba na mpapula n'agumya abalonzi okwetegekera okuddamu okulonda kubanga ensolo ku kizigo kweri.

Ye Bashir Kayondo yebazizza nnyo abantu abamuwa obululu neyeyama okubakolera nga teyebalirira. Yatenderezza nnyo Nobert Mao okukkiriza najja ku mukolo gwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...