TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mayanja omusunyi w'ennanga agobye omukazi mu nnymba

Mayanja omusunyi w'ennanga agobye omukazi mu nnymba

Added 10th December 2016

Mayanja omusunyi w'ennanga agobye omukazi mu nnymba

 Nabulime n’ezzadde lye .

Nabulime n’ezzadde lye .

OMUYIMBI omusunyi w’ennanga, Henry Mayanja agobye mukazi we mu nnyumba ng’amulumiriza obwenzi n’eddogo. Mayanja eyaakawasa omugole, agamba nti, mukyalawe asusse okumuloga nga kye kyamuggye awaka n’adduka ate n’asinziira gy’addukidde n’amusaba ave mu nnyumba ye amufunire awalala gy’anaasobola.

Mayanja eyeesitudde ku Lwokuna n’ajja ku kitebe kya Vision Group etwala ne Bukedde, yagambye nti, waliwo omusawo w’ekinnansi eyajja awaka n’ayamba ku mukyala we okusimba eddagala mu luggya ne bamala obudde bungi mu kiro ekyamulowoozesa nti, bayinza okuba balina kye baatuukako nga y’ensonga lwaki alina omu ku baana gw’alowooza nti ayinza obutaba wuwe. Kyokka omukyala ono, Shamim Nabulime abeera mu maka ga Mayanja e Katale ku lw’e Ntebe olupya yamuzzeemu nga Mayanja bwe yeekangabiriza ng’amusibako eky’obwenzi so nga ye ye mwenzi ow’ebbaluwa eyatuuka n’okusigulwa omukazi gwe yaakawasa, Mecky Ngotezi n’amulesaawo n’abaana be abato bana.

Agamba nti, ekimugobya mu nnyumba, Mayanja ayagala kuleetamu mugole kubanga yanyiiga nnyo nga Nabulime ayingidde ennyumba nga Mayanja tamanyi so nga yali agitegekedde mugole, Ngotezi.

Nabulime agamba nti, Mayanja yamukubidde ssimu nga November 25, ku ssaawa 9:19 n’addamu n’amukubira nga November 30, ng’amulaalika nga bw’alina okuva mu nnyumba eyo kubanga tekuli mugabo gwe.

Mayanja yamukubidde ssimu emulagira okuva mu nnyumba eyo n’abaana be kyokka bwe yabiwulidde n’addukirawo n’agenda amuwawaabira mu kkooti e Nsangi ku ‘family cause’ nnamba 37 omwaka 2016, ng’agamba nti, Mayanja ayagala kumugoba mu nnyumba n’asaba kkooti emugaane okuddamu okusaalimbira ku nnyumba eno.

 

Empaaba YA NAB ULIME Mu mpaaba ye, yasabye kkooti Mayanja aggyibweko obuyinza obulabirira abaana be bumuweebwe kubanga Mayanja takyabasobola. Abaana kuliko; Ronald Senungi 7, Linet Nakayita 6, Henry Mayanja 4 ne Jacob Kasimaggwa ow’emyaka ebiri.

Mu kiwandiiko kya kkooti ekyassibwako emikono nga December 1, omwaka guno, Nabulime ayagala na bino; l Mayanja asigale kuwa baana byetaagisa l Ennyumba gye babeeramu e Katale ewaandiisibwe mu mannya g’abaana abo n’omukyala

l Kkooti ewe Mayanja obudde n’ennaku z’alina okulabirangamu abaana abo so si buli w’aba ayagalidde

l Okuyimiriza Mayanja okugoba famire ye mu nnyumba eno Ensonga ezirum a omu kyala

l Nabulime yassa ssente nnyingi mu nnyumba eno ng’akimanyi nti bazimba y’amaka n’abaana baabwe n’ettaka kwe yazimbibwa yassaako ssente ze.

l Mayanja yagaana okulabirira abaana be awatali nsonga nnungamu n’agattako okutiisatiisanga okubagoba mu nnyumba l Yasuulawo mukyala we, Nabulime n’afuna omulala Mecky Ngotezi.

l Bazze bafuna obutakkaanya wabula olumu, Mayanja yakkiriza ng’ennyumba eyo bw’eri y’abaana n’omukyala n’asuubiza n’okubalabirira n’obutabagobaamu. Endagaano eyo yagikolera ku poliisi e Nsangi nga September 9, 2016.

l Mayanja muyimbi asula n’okusiiba mu bidongo era talina budde bulabirira baana. Nabulime awera Yalayidde mu kiwandiiko ekyo nti; Ssente ennyingi ze yassa mu by’okwezimba ne Mayanja, ze zimu ku zaavaako ne bizinensi ze okugwa n’aggwamu.

(Yagamba nti yali musuubuzi mu Kikuubo era kye yasookerako kugulira Mayanja nnanga gye yasooka okukuba) Mu October w’omwaka guno, Mayanja yayanjulwa Mecky mu bakadde be e Masaka kyokka wakati mu mikolo gino, Nabulime n’amuloopa ku poliisi obutalabirira baana nga ne lw’abawadde ekyokulya abawa 7,000/- oba 8,500/- olunaku so nga bali bana nga tezibamala.

Mayanja ALAZ E EKYAMUDDUSA

Agamba nti okudduka awaka, omukyala ono yali asusse okufuweetanga emmindi ekyamukakasa nti yali amuloga. “Eddagala lye nalya olimanyi ggwe? Nzenna nalogwalogwa. Emmindi nagisanga mu nju ng’enyooka ne mmubuuza ekolaki mu nnyumba.

Byamulema okunnyonnyola ne ngenda. Ne asikaali yali yamala dda okuhhamba ng’omukyala ono bw’ajja n’abasawo b’ekinnansi awaka ne basimba eddagala ne bagenda.” Omwana asembayo obuto, Mayanja agamba nti yalowooza nti si wuwe kubanga abasawo b’ekinnansi abajjanga awaka okumukolera eddagala nga balisimba ku nnyumba, yabasuzanga mu ‘boys quarters’ era asikaali yantegeeza nti, baaberangamu bonna okutuusanga eyo ssaawa 9:00.

Agamba nti, ekirala ekyamunyiiza ye mukyala oyo okuyingira ennyumba nga tamukkirizza ate nga tategedde wabula n’amusaba aveemu esooke eggwe n’agaana kubanga ye yali alowooza nti, egenda kuweebwa muggya we, Mecky Ngotezi.

Yattottodde ng’abaana be bw’abaagala era abawa buli kimu. Mu kusooka nti yabawanga 30,000/- buli lunaku wabula bwe yamuleetako akamanyiiro okumuyisanga obubi omuli n’okumuvumiranga mu baana be abato nga bamulaba, yazisalako n’amuwanga 20,000/- ng’essomo. Eby’embi, nti yagaana okuyiga kwe kutandika okumuwa 85,000/- buli lunaku ezibeera 250,000/- omwezi.

“Ebyo byonna nga mbikola kubanga ekinnyiiza, ebintu by’amaka ng’abitwala mu mawulire ne ku poliisi nga gye biggwera. Wabula ku ssente ezo ze mmuwa kati, muweererezaako n’akasawo k’obuwunga, aka sukaali ne kalonda omulala ebya buli mwezi na kati gye biri awaka.

Abaana bange mbaweerera mu masomero ga ssente nnyingi, okugeza, Ronald Ssennungi asasula 1,000,000/- kalamba ku ssomero lya St. Anthony e Gayaza. Abalala babiri basasula 500,000/- mu masomero ag’enjawulo.

Nze saagalangako kutwala nsonga zino mu mawulire kubanga birengezza naye kyansusseeko ate bwe nalabye ng’antutte ne mu kkooti. Nakizudde nti nnina okuwa ku bujulizi abantu balabe nti siri mubi nnyo. Alimba nti yangulira emmotoka ya Caldina naye ekikulu, nze namugulira emmotoka ey’ekika kya Subaru gye nagula obukadde 17 era bwe nali muleka mu nju, nagimulekera wadde nga yali mpya.

Nagenda okuwulira nti yagitunda nga tanneebuuzizzaako. Yansaba ssente ne muwa obukadde 25 ku bukadde 35 ze neewola mu bbanka ya Centenary ng’ahhambye nti agenda kusuubula ngoye e China. Waayita akaseera katono n’ahhamba nti mu Kikuubo gy’asuubulira, ssente z’obupangisa nyingi mwongereyo obukadde musanvu nabwo ne mbumwongera.

Eby’embi ssente zonna yazitta n’ahhamba nti ziweddewo naye ng’engeri gye ziweddewo tetegeerekeka. Ne bbanka yagaana okuddamu okusasula era nze nakola ekisoboka okusasula na kati nkyasasula kubanga ye yasasulira emyezi ndowooza ebiri gyokka n’akita olwo nze gwe baaziwa ne ntandika okufaafaagana n’ebbanja.

Ekisesa, agamba nti yanteekamu ssente nga tutandika ebya laavu nti n’ennyumba yagissaako ssente ne poloti twagigula ffenna, naye olwo bwe kiba bwe kityo, kijja kitya nti ekyapa kiri mu mannya gange tekuli lirye? Singa yassaako ssente teyandikaayanye?

Ekikulu ennyumba eyo tajja kugibeeramu kubanga si yiye ate agireetamu abasajja abalala. Ku poliisi nakola endagaano nga bwe sijja kugimugobamu naye nnali ndowooza nti anaakyusaamu naye takyusa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...