TOP

Poliisi ekutte abadde yeeyita omukozi wa UMEME

Added 10th December 2016

Poliisi ekutte abadde yeeyita omukozi wa UMEME

 Ebyamasannyalaze bye baakutte ne Kazibwe (mu katono).

Ebyamasannyalaze bye baakutte ne Kazibwe (mu katono).

Ekitongole kya Umeme nga kiyambibwako poliisi y’e Nakulabye, bakutte omuvubuka abadde yeeyita owa Umeme ng’atambuza amasannyalaze mu bantu. Akwatidwa ye Bashir Kazibwe ow’e Nakulabye Zooni IV.

Yasangiddwa n’ebintu by’amasannyalaze ebitamanyiddwa gye yabiggya. Aba UMEME baategeezezza nti ebintu bye baamusanze nabyo omuntu yenna okubifuna alina okuba ng’akwatagana na kitongole.

Kazibwe bwe yalabye poliisi, yagezezzaako okudduka kyokka poliisi bwe yakubye amasasi mu bbanga, ne yeewaayo. Yagguddwaako omusango gwa kwenyigira mu bubbi bw’amasannyalaze ku fayiro nnamba Ref SD:19/08/12/2016.

Omu ku bakozi ba UMEME eyeEtabye mu kikwekweto ataayagadde kumwatuukiriza mannya, yategeezezza nti obuzibu bw’okubba amasannyalaze bususse mu Nakulabye naye ebikwekweto bikyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...