TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaali ba Minisita ne bava mu palamenti bazze mu kulima

Abaali ba Minisita ne bava mu palamenti bazze mu kulima

Added 10th December 2016

Abaali ba Minisita ne bava mu palamenti bazze mu kulima

 Eyali Minisita Cryspus Kiyonga ne Migereko nga bali ku nnasale y'emiyembe

Eyali Minisita Cryspus Kiyonga ne Migereko nga bali ku nnasale y'emiyembe

Bya Saul Wookula

ABAALI Baminisita batandise kaweefube ow’okusitula omutundo gw’ebibala nga bongera ku bungi bw’ebyo ebirimibwa wamu n'okwongera ku mutindo gwabyo.

Bano baakoze ekibiina nga kikulemberwa eyali minisita w’ebyokwerinda Dr. Cryspus Kiyonga era essira balitadde ku miyembe n’emicungwa nga baakutandikira ku nnasale ezimeza ebibala bino okutuukira ddala lwe biggyibwamu omubisi.

Abalala abali mu kibiina kuliko Sulaiman Madada eyali ow’abalema n’abakadde, Daudi Migereko eyali ow’ebyettaka, amayumba n’okukulaakulanya ebibuga, Hajati Lukia Nakama Isanga eyali ow’ekikula ky’abantu  ne Fredrick Nkaayi Mbagadhi.

Baagala okulaba nga ebibala ebirimibwa byeyongera obungi bikamulwemu omubisi oba n’okukolamu ensaano ebisobola okutundibwa ne mu mawanga ag’ebweru okwongera okuyingiza ensimbi mu ggwanika ly’eggwanga n’omulimi yeyongere okufunamu.

Bano baagala wakiri buli kyalo ku beereko ekifo ekimeza endokwa z’ebibala era nga kuliko n’abalimi wakiri basatu abalina yiika z’ebibala emiyembe oba emicungwa eziwera ssatu buli omu.

Kiyonga agamba nti abalimi b’ebibala nga emiyembe n’emicungwa babadde bafiirwa nga abasuubuzi ebintu byabwe babigula bbeeyi dondolo olwokuba tewabadde ddoboozi lyawamu nga kino ekibiina kijja kubayamba obutafiirizibwa.

Baagala abalimi bayige okulabirira ennimiro zaabwe kubanga omuti gw’omuyembe gumu nga gubaze bagusuubira okuvaako emiyembe 400 buli sizoni.

Ekibiina kino kyagala okulaba nga emiyembe n’emicungwa ebirimibwa wano bikamulwamu omubisi gutundibwe ebweru w’eggwanga abalimi beyongere okuganyulwa.

 Ate ye Madada yagambye nti baakukubiriza abalimi batandike okumezesa endokwa z’emiyembe n’emicungwa kubanga buli ndokwa gavumenti
yakugigula 4,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....