TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawannyondo ba kkooti baboye ekizimbe ky'omukadde e Nansana

Bawannyondo ba kkooti baboye ekizimbe ky'omukadde e Nansana

Added 13th December 2016

Ku Mmande ku ssaawa nga 1:00 ey’oku makya, bawannyondo ba kkooti nga bawerekebwako abaserikale baagenze e Nansana mu West II zooni ne bakasuka ebintu bya Ssemanda n’abapangisa be wabweru nga bwe bakuba ekibaati okwetooloola ekizimbe ekintu ekyaggye abatuuze mu mbeera ne beekolamu omulimu ne batandika okukoona amabaati agaabadde gakubiddwaako.

 Abapoliisi b’e Nansana nga bakuuma bawannyondo bwe baabadde baddamu okukuba ekibaati ku kizimbe kya Ssemanda ekyaboyeddwa. Mu katono ku kkono ye Mzee Ssemanda

Abapoliisi b’e Nansana nga bakuuma bawannyondo bwe baabadde baddamu okukuba ekibaati ku kizimbe kya Ssemanda ekyaboyeddwa. Mu katono ku kkono ye Mzee Ssemanda

Bya ROGERS KIBIRIGE

BAWANNYONDO ba kkooti baboye ekizimbe kya nnamukadde Paul Ssemanda, 90 ekibalirirwamu obukadde 300 ne bakiguza omugagga ku bukadde 6,500,000/-.

Ssemanda omutuuze w’e Nansana mu West II zooni bawannyondo ba kkooti abaakuliddwa Godfrey Kintu gwe baakasukidde ebintu wabweru oluvannyuma lw’okubowa ekizimbe kye ekisangibwa ku luguudo lw’e Hoima ne bakiguza omugagga Micheal Tugyetwena ne Elizabeth Tugyetwena ku bukadde mukaaga n’ekitundu (6,500,000/-).

Kino kyaddiridde ekiragiro kya kkooti ekyateereddwaako omukono gw’omuwandiisi wa kkooti enkulu Samuel Twakyire ng’alagira Bawannyondo abakulirwa Godfrey Kintu okubowa ekizimbe kya Ssemanda era kitundibwe ku nnyondo oluvannyuma lw’okusala omusango gw’engassi, Jane Kabonge ne Nansana Town council gwe baaloopa nnamukadde Paul Ssemanda.

Ku Mmande ku ssaawa nga 1:00 ey’oku makya, bawannyondo ba kkooti nga bawerekebwako abaserikale baagenze e Nansana mu West II zooni ne bakasuka ebintu bya Ssemanda n’abapangisa be wabweru nga bwe bakuba ekibaati okwetooloola ekizimbe ekintu ekyaggye abatuuze mu mbeera ne beekolamu omulimu ne batandika okukoona amabaati agaabadde gakubiddwaako.

Kino kyawalirizza abaserikale ba poliisi y’e Nansana okuyingirawo ne bazza embeera mu nteeko n’okuwa bawannyondo obukuumi.

Oluvannyuma amabaati gazziddwaako n’ebintu ebyabadde bisigadde mu nju ne bikanyugibwa wabweru.

Ssemanda yategeezezza Bukedde nti nga June 4, 1995 yasala ku kibanja kye poloti eweza fuuti 110 ku 78 n’agiguza Jane Kabonge ku kakadde kamu kyokka bwe waayita ekiseera Kabonge ne yeeyongeza fuuti nnya ekyamuwaliriza okumuloopa mu LC era omusango n’agusinga.

Kabonge bwe yagaana okuseeseetula empaanyi ze nga LC bwe yamulagira, Ssemanda n’agenda mu kkooti y’e Wakiso era omusango n’agusinga.

Omulamuzi Esther Rebecca Nassambu bwe yasala omusango nga November 26, 2014 yalagira Kabonge okumenya ekizimbe kye yali azimbye ku kibanja kye (Ssemanda) n’okumuliyirira obukadde butaano ng’amuteereddemu amagoba ga bitundu 25 ku buli 100 kyokka Kabonge n’ajulira mu kkooti enkulu.

Ssemanda agamba nti omulamuzi Andrew K. Bashaija owa kkooti enkulu yalagira omusango okuzzibwayo mu kkooti y’e Wakiso guddemu guwulirwe era nga kati guwulirwa omulamuzi Martins Kirya nga guddamu leero ku Lwokubiri.

Kyokka ekyamwewuunyisizza kwe kulumbibwa Bawannyondo ba kkooti ne bamukasukira ebintu wabweru nga bamutegeeza ng’ekizimbe kye bwe baakitunze.

Ssemanda yasabye Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe okuyingira mu nsonga ze ng’agamba nti Kabonge yakozesezza kkooti enkulu n’eyisa ekiragiro ekibowa n’okutunda ekizimbe kye kyokka ng’omusango gwe yawangula gwalagirwa okuddibwa mu kkooti e Wakiso.

Oluvannyuma lwa Bawannyondo ba kkooti okussa mu nkola ekiragiro ky’okukasuka Ssemanda wabweru w’ekizimbe, kyakwasiddwa Micheal ne Elizabeth Tugyetwena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....