TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nantaba ne Namuganza beeyogeredde ebisongovu mu lujjudde

Minisita Nantaba ne Namuganza beeyogeredde ebisongovu mu lujjudde

Added 13th December 2016

Namuganza yamwanukudde nti bw’aba alowooza nti ye (Namuganza) mmere, agenda kumuggyamu enjawulo n’amuwa amagezi yeemalire ku nsonga eza ICT, eby’ettaka ebyesonyiwe kubanga okuva lwe yaggyibwa mu Minisitule y’ettaka, alina okukimanya nti eby’ettaka tebikyamukwatako.

 Namuganza ne Nantaba

Namuganza ne Nantaba

Bya Musasi Waffe

OLUTALO lw’ebigambo wakati wa Baminisita; Aidah Erios Nantaba ne Persis Namuganza lutemyemu kabineti ng’abamu ku baminista omusango bagussa ku Nantaba nti ayitawo nnyo we yandikomye ate abalala nga banenya Namuganza okugenda mu kitundu ky’e Kayunga nga tamaze kukkaanya ne Minisita munne akiikirira ekitundu ekyo.

Nantaba nga ye Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya ne tekinologiya (ICT) ne munne Namuganza, Minisita omubeezi ow’ebyettaka baayanise obuziina bwabwe mu lujjudde, Namuganza n’atuuka n’okukissa ku Nantaba nti mulalu eyeetaaga okukebera omutwe.

Entabwe yavudde ku Namuganza okugenda e Kayunga okukola ku nsonga ez’ettaka aboolekedde okusengulwa Omugagga Madhivani nga Nantaba akiikirira ekitundu ekyo mu Palamenti tategeezeddwaako.

Nantaba yavudde mu mbeera n’alangira Minisita Namuganza okwekobaana n’ababbi b’ettaka b’aludde ng’alwanyisa n’awera okufaafaagana ne Namuganza kubanga tayinza kugumiikiriza muntu yenna asaagira ku ttaka ly’e Kayunga.

Namuganza y’eyadda mu kifo kya Nantaba ekya Minisita omubeezi ow’ebyettaka.

Namuganza yamwanukudde nti bw’aba alowooza nti ye (Namuganza) mmere, agenda kumuggyamu enjawulo n’amuwa amagezi yeemalire ku nsonga eza ICT, eby’ettaka ebyesonyiwe kubanga okuva lwe yaggyibwa mu Minisitule y’ettaka, alina okukimanya nti eby’ettaka tebikyamukwatako.

Minisita Namuganza yannyonnyodde nti okugenda e Kayunga yatumiddwa Sipiika Kadaga eyamulagidde okugendayo okukola ku nsonga eyaleeteddwa mu Palamenti omubaka wa Bbaale, Nsamba Kumama nti abatuuze abasukka mu 20,000 boolekedde okusengulwa.

Yannyonnyodde nti bwe yali tannagenda Kayunga, yayogerako ne Nantaba ng’alowooza nti muntumulamu wabula tebakkaanya kubanga Nantaba yamutegeeza nti e Kayunga tewali ensonga yonna ya ttaka yeetaaga kugonjoolwa era tasaana kugendayo.

Wabula Namuganza yagambye nti yasalawo okugenda n’asanga nga ddala ensonga eyeetaaga okugonjoolwa gy’eri era abatuuze ne bajjumbira olukungaana lwe wadde nga Nantaba yagezaako okulemesa olukung’aana olwo.

Baminisita ab’enjawulo, Bukedde be yatuukiridde wabula nga baasabye amannya gaabwe okusirikirwa baagambye nti okukoonagana kuno kubatabudde kubanga Baminisita bombi beeyogerera amafuukuule mu lujjudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....