TOP

Eyatabuse ne Bugingo akomyewo awera

Added 14th December 2016

Eyatabuse ne Bugingo akomyewo awera

 Bugingo ne Sebuguzi nga bakyali wamu.

Bugingo ne Sebuguzi nga bakyali wamu.

PASITA Martin Sebuguzi eyayawukanye ne Pasita Aloysious Bugingo, ng’asitula okuva e Yisirayiri yasoose kuweereza bubaka bwe yasaasaanyizza ku mikutu gya yintaneeti yategeezezza nti we yasaliddewo okwetongola okukola ekkanisa eyiye eya Alive by Faith International Ministries, nga yeetegese ekimala era abagenda okumwegattako balinze bulinzi.

Sebuguzi yagambye ntiatonnya ku kisaawe e Ntebe essaawa musanvu zennyini ez’emisana olwaleero alangirire mu butongole enteekateeka ze. Mu baaasuubira okumwegattako mwe muli nabo ababadde bamukkiririzaamu ng’akyali ewa Bugingo.

Obubaka bwa Sebuguzi bwajjulirirziddwa omu ku bayambi be yagenda nabo e Yisirayiri eyagambye nti; “Ebbanga Pasita Sebuguzi lye yamala ewa Serwadda ssaako eryo ly’amaze ne Pasita Bugingo limuzimbye ekimala nga kati amafuta agawonya abantu n’obukugu okuwonya n’okuweereza Katonda abafunye,” omu ku baatambudde ne Pasita Sebuguzi bweyategeezezza eggulo.

Bugingo yategeezezza nti Sebuguzi ng’ono mutabani wa Pasita Serwadda owa Victory Church mu Ndeeba, abadde amuliira munda nga kigenge kuba abadde amwesiga kyokka nga tamanyi nti alina entegeka ez’okumwawukanako akole bibye. Katonda ansitudde sikyalwana - Bugingo Bugingo wadde yabadde ategese nti mu kusaba kwa Ssande, okulangirira bapasita abalala okudda mu kifo kya Sebuguzi, teyakikoze n’abuulira ku birala.

Ensonda okuva mu kkanisa ya Bugingo eya House of Prayer Ministries zaategeezezza nti enteekateeka eno Bugingo yagisazizzaamu ku Lwomukaaga olw’eggulo oluvannyuma lw’okuwabulwa nti gy’akoma okwogera ku Sebuguzi, ayongera kumuzimba n’okulaga nti yatidde nnyo. Oluvannyuma yagenze ku ttivi ya Salt n’ategeeza abalabi okusingira ddala abagoberezi be nti ‘Katonda yamusitula yamala, abamwekoonako tekiwetaagisa kubaddiza, Katonda yabeekolerako.” Yakkaatirizza nti tagenda kulwana na muganda we Sebuguzi eyamwawukanyeeko.

Okunyweza kino, ne mu kusaba ku Ssande ebya Sebuguzi teyabikonyeeko n’abuulira njiri yokka. Seb uguzi by’ategeka okukola Ensonda okuva ewa Sebuguzi ziraga nti ategeka okukyusaamu mu nkola y’ebintu mu kkanisa ye ku ngeri ebimu ku bintu by’abagamba nti bibadde tebitambula bulungi ewa Bugingo.

Mu bino, mulimu ye ky’ayita Bugingo okwogera buli kintu awatali kwerekerayo n’okuyitiriza okwogera akaati nga tabisseeko abamu kye bagamba nti avuma abantu. Ebirala nti by’agenda okukola mulimu okuwa abantu omukisa buli omu okukola omulimu gwe ng’obukugu bwe bwe bumusobozesa so si kwetuumako mirimu buli kintu ne kiba nga kitambulira ku ye yekka.

Ku ky’obwerufu bwa Bugingo bw’abadde akola okulangirira ensimbi ezikuhhanyiziddwa n’ensaasanya yaazo, agenda kugenda nakyo mu maaso era asingewo ng’asasule abantu okusinziira ku busobozi n’amaanyi gaabwe ate aleme kudda mu lujjudde kwogerera b’aba aliko bayambyeko mu byensimbi.

OBUN KENKE KU KKANIS A YA BUGINGO

Obunkenke bukyali bungi mu kkanisa ya Bugingo nga kumpi buli mugoberezi atandise okwekengera munne nga tamanyi ludda lw’aggwaako era bonna balindiridde Lwakusatu ng’ekkanisa ya Alive by Faith Ministries egguddewo mu butongole olwo bamanye ani agenze n’asigaddewo.

BUGINGO NE SEBUGUZI GY E BAVUDDE

Bugingo yatandika ekkanisa ya House of Prayer Ministries mu 2011 ne waayita ekiseera kitono ne Sebuguzi n’amwegattako. Bombi baava mu kkanisa ya Victory Christian Centre mu Ndeeba ey’omusumba Dr. Joseph Serwadda. Bugingo ne Martin gubadde gubasaza mu kabu okumala emyaka 14 gye babadde bonna era ettuttumu baalizimbira ku leediyo ya Impact FM eya Serwadda.

Mu kubuulira mu kkanisa ya House of Prayer Ministries mu kifo ekkyakazibwako Canaan e Bwaise, Bugingo nga bw’asookawo, Sebuguzi n’asembayo. Ne mu kubudaabuda abantu ku kkanisa eno babadde n’obusenge, ng’abagoberezi abamu bagenda wa Bugingo ate abalala wa Martin. Bombi era bwe babadde bakola pulogulaamu “Emisingi” ku Salt Ttivvi ne ku Salt FM eya Bugingo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...