TOP

Bbaasi 10 ze zikwatiddwa mu kikwekweto

Added 14th December 2016

GAVUMENTI etandise ebikwekweto ku bbaasi ezitikkira ku nguudo era eggulo yakutte 10 ze yasanze nga zikolera ebweru wa ppaaka ya Qualicel Bus Terminal ne Arua Park.

 Eno y’embeera eri mu ppaaka ya bbaasi eya Qualicell Bus Terminal.

Eno y’embeera eri mu ppaaka ya bbaasi eya Qualicell Bus Terminal.

Bya Samuel BALAGADDE, Hannington NKALUBO NE FRANK SSEKYANZI

GAVUMENTI etandise ebikwekweto ku bbaasi ezitikkira ku nguudo era eggulo yakutte 10 ze yasanze nga zikolera ebweru wa ppaaka ya Qualicel Bus Terminal ne Arua Park.

Kiddiridde entegeka empya ekitongole kya Gavumenti ekya Transport Licensing Board (TLB) ze kyalangirira gye buvuddeko omuli okukyusa bbaasi okusinziira ku nguudo n’ebitundu gye zikolera.

Mu ntegeka empya, bbaasi ezikwata oluguudo lw’e Mbarara, Kabaale, Mutukula ne Ntungamo yazisindika mu ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal.

Ezigenda ebweru w’eggwanga omuli e Rwanda, Burundi, Tanzania, Kenya, ne Zambia zaasindikibwa mu ppaaka ya Namayiba. Mu paaka eno era yatwalayo n’ezikolera e Ggulu, Kitgum Arua n’ebitundu bya Acholi byonna.

Ate ezigenda e Jinja, Iganga, Mbale, Teeso ne Busia zassibwa mu Qualicel Bus Terminal.

Omuwandiisi w’ekitongole kya TLB, Winstone Katushabe yategeezezza nti kino Gavumenti yakikoze kuyamba kukendeeza mujjuzo ku nguudo z’omu Kampala naddala ku Namirembe Road, Ben Kiwanuka, Luwum, Nakivubo ne Arua Park.

Bbaasi 10 omuli eya kkampuni ya Ibabu Coaches, Sevaoir, Kakise, KK Travellers zaasangiddwa nga zijeemedde ekiragiro kya Gavumenti era abaserikale baazikutte ne bazitwala ku CPS n’abasaabaze abaabaddemu.

yakulidde ekikwekweto kino, Isreal Wambetyo yagambye nti bbaasi ezitagondera mateeka tezigenda kuweebwa layisinsi zizikkiriza kusaabaza bantu mu nnaku za Ssekukkulu ezisembedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.

Wabulya (owookubiri ku ddyo) eyafiiriddwa mutabani we.

Engeri mutabani w'omukungu ...

MUTABANI w’omukungu wa bbanka ya Uganda afiiridde mu ggwanga lya Hungary gy’abadde asoma obusawo. Eyafudde ye...

Augustine Yiga lwe yali mu kkomera e Kitalya ku misango gy'okuwakanya nti obulwadde bwa Corona Virus tebuliiyo

Paasita Yiga Mbizzaayo assi...

Paasita Augustine Yiga Mbizzaayo ow'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala asizza ku byuma!