
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima
POLIISI ekubye omusuubuzi amasasi agamusse bw’ebadde etaasa omubbi aleme kuttibwa bantu ku luguudo lwa Nasser mu Kampala.
Lawrence Semujju, 24 omutuuze mu Wansanso Zooni e Kibuye, abadde akuba bitabo ku luguudo lwa Nasser mu Kampala nga kigambibwa nti yayimiridde ku mmotoka okumpi n’edduuka lye okulaba omubbi Joseph Sekitto ow’e Kasubi gwe baabadde bakuba emiggo oluvannyuma lw’okuyingira mu dduuka n’abbamu laptop ku ssaawa 3.00 ez’oku makya ku Lwokubiri.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza nti poliisi yayitiddwa nga waliwo omubbi anyaze laptop mu dduuka ku luguudo lwa Nasser nga bamukuba emiggo.
Agamba nti abaabadde bamukuba baabadde bamaliridde okumutta ate poliisi eyazze okutaasa embeera ne bagikuba amayinja!
Agamba nti, Poliisi mu kwetaasa, baawandagazza amasasi mu bbanga okugumbulula abasuubuzi wabula mu butanwa essasi ne likwata omusuubuzi Lawrence Semujju mu lubuto era yafiiridde mu ddwaaliro e Mulago.
Poliisi erabudde abantu okukomya okugisoomooza kubanga balina emmundu, ssinga abaserikale basunguwala, balina kwetaasa nga babaanukuza masasi.
Bagamba nti omuserikale yabadde yeetaasa kyokka essasi ne likwatamu omuntu mu butanwa.