TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Matia Nsubuga Birekeraawo aziikiddwa mu kitiibwa

Matia Nsubuga Birekeraawo aziikiddwa mu kitiibwa

Added 22nd December 2016

Matia Nsubuga Birekeraawo aziikiddwa mu kitiibwa

 Bannaddiini nga bassa ekimuli ku keesi y'omugenzi Matia Nsubuga Birekeraawo ku ntaana ye oba giyite enju ye ey'olubeerera

Bannaddiini nga bassa ekimuli ku keesi y'omugenzi Matia Nsubuga Birekeraawo ku ntaana ye oba giyite enju ye ey'olubeerera

Bya Florence Tumupende

NNAMUNGI w’omuntu yeeyiye mu kuziika omwoyo gw'omugenzi Mathias Nsubuga Birekeraawo  mu makaage ku kyalo Mmanja mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Mu bubaka obuweereddwa Omubaka w'e Kalungu west Ssewungu Gonzaga ng'ono yaakiikiridde babaka banne mu palamenti okwogera ku bulamu bw'omugenzi , atenderezza nnyo engeri omugenzi gy'abadde yeeyisaamu omuli okwagala ennyo ekibiina kye ekya DP ssaako n'obutasosola bibiina birala 

Nsubuga abadde musajja atatya kwogera ku nsobi yonna gy'abeera alabye era nga teyeerya ntama mu kintu kyonna wadde kiri mu kibiina kye.

Ye eyaliko katikiro wa Uganda Amaama Mbabazi ayambalidde abo aboogera nti omugenzi abadde muguminkiriza n’agamba nti  abadde tasobola kuguminkiriza nsobi yamuntu era yagenda mu state house emisana n’ayogera ensobi gyaba alabye ku muntu..

 OBUBAKA BWA NOBERT MAO

Nobert Mao agambye nti katonda amutemyeeko omukono ogwa ddyo n’okumukutulamu olubiriizi kuba Nsubuga gw'abadde yebuuzaako munsonga z’ekibiina n’ezize ng’omuntu.
   

Mao agasseeko nti Nsubuga ye muntu abadde teyefuulafuula mu ddiini,obuwangwa n’ekibiina era afudde nga wa Dp kakongoliro.


Nsubuga ye yalemera kunkola eya Federo oluvannyuma lw’okukuba ttooci ng’alaba ebintu bya Buganda biwambibwa okutuusa lwe baamuwooyayooya okulekera Gavumenti yesalirewo.

Mu bubaka Ssaabasaja bwatisse Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde ab'enju y'omugenzi okuviibwako omusajja abadde empagi luwaga ate nga Mmengo agirekedde ekituli ekyamaanyi.

Katikkiro asabye ab'enju y'omugenzi okwekwata Katonda kubanga yaawa era yaggyawo wabula bafube nnyo okusigala ku mpisa kitaabwe zaabalekedde.

Mu bubaka Pulezidenti Museveni bwatisse omumyuka we Edward Kiwanuka Ssekandi asaasidde aba famire y'omugenzi Matia Nsubuga Birekeraawo wamu n'eggwanga okuvibwako omuntu abadde ow'omugaso ennyo bwatyo.

Oluvannyuma lw'obubaka okuggwayo aba Funeral service abaakoze ku mukolo ogw'okuziika bakubye ebyasi mu bbanga ng'akabonero akalaga nti omugenzi aziikiddwa mu kitiibwa.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...