TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baleese abaana abalala mu lumbe lwa Matia Nsubuga Birekeraawo. Beyazaala e Canada ne London tebaaziise kitaabwe

Baleese abaana abalala mu lumbe lwa Matia Nsubuga Birekeraawo. Beyazaala e Canada ne London tebaaziise kitaabwe

Added 25th December 2016

Baleese abaana abalala mu lumbe lwa Matia Nsubuga Birekeraawo. Beyazaala e Canada ne London tebaaziise kitaabwe

 Bamulekwa abato okuli Peter Nsubuga ne Jacinta Nsubuga.

Bamulekwa abato okuli Peter Nsubuga ne Jacinta Nsubuga.

OMUWENDO gw’abaana b’omugenzi Mathias Nsubuga gweyongeddeko oluvannyuma lw’okuleeta abaana abalala bana ne babanjula mu lumbe. Olukalala lwasoose kubeerako abaana munaana wabula bwe baaleese abaana abalala abana, olwo kwe kutuuka ku baana 12.

Mu be baayanjudde mwabaddemu n’omulenzi asembayo obuto ow’emyaka 12 era yabadde asibiddwa amafuvu (ekyayi mu kiwato) agasibwa bamulekwa.

Ono baamwanjudde nga Peter Nsubuga era ne banjula ne bamulekwa abalala: Steven Mubiru, Kevin Nsubuga, Marion Nankya (mukyala w’Omulangira David Wasajja), Richard Kizito, Simon Peter Nsubuga, Jacinta Namubiru, Josephine Nalwoga, Mathias Nsubuga, J.B Nsubuga, Gorret Birungi ne Bosco Mubiru.

Kevin Nsubuga, omu ku baana abakulu y’eyasomye amannya ga baganda be era n’asiima engeri kitaabwe gy’abakuzizzaamu, okubalabirira n’okubaweerera mu masomero amalungi. Nnamwandu Jennipher Nsubuga yasibiridde bamulekwa entanda okukolagana obulungi n’okweyisa obulungi baleme kuswaza linnya kitaabwe ly’akoleredde.

Abaana ababiri okuli Nalwoga gwe yazaala e London teyeetabye mu kuziika kubanga yasangiddwa nnakawere era Nsubuga we yafiiridde yabadde ategese okugenda e London okulaba ku muzzukulu eyazaaliddwa n’okuyozaayoza muwala we.

Omwana omulala gwe yazaala e Canada n’amuweera ddala amannya ge aga Mathias Nsubuga naye teyasobodde kuziika olw’entambula z’ennyonyi ezaakalubye mu biseera by’ennaku enkulu. Aba famire abalala baakuutidde abaana bonna okwagalana kubanga kitaabwe abadde abakuutira entakera okubeera obumu n’okukolagana obulungi.

Olw’emirimu emirungi Nsubuga gy’akoledde Bukoto South gye yakiikirira ebisanja bibiri, Ssentebe wa Lwengo George Mutabaazi yagambye nti olukiiko lwa disitulikiti lwayisizza ekiteeso ekimubbulamu oluguudo.

 

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi okwasooseewo e Lubaga, Nnamwandu Jennipher Nsubuga yasoose kwanjula Jolly Akiiki gwe yayogeddeko nti, “Ono muganda wange bwe tuzaala abaana.” OKULONDA ANADDA MU KIFO KYA NSUBUGA KWA MWAKA GUJJA Ssenkaggale wa DP Nobert Mao yagambye nti ekifo kya Ssaabawandiisi w’ekibiina Nsubuga ky’aweerezzaamu obulungi okumala emyaka munaana ssi kya kujjuzibwa kati.

Mao yategeezezza abakungubazi abeetabye mu kuziika e Mmanja mu ggombolola y’e Kisekka mu Lwengo nti ng’ekibiina, baakutwala ekiseera nga bamukungubagira era okulonda anadda mu kifo ky’abaddemu kwakulowoozebwako mu mwaka ogujja.

Yasekeredde n’abeesunga ekifo ekyo nga n’olumbe lwa Nsubuga terunnaba kumala kwabizibwa n’abawa amagezi essira balisse ku kwefumiitiriza kw’ebyo omugenzi by’akoledde ekibiina, obwerufu n’obwesimbu, okuwuliriza buli muntu, obwegendereza n’obukkakkamu mu ngeri gy’abadde akwatamu ensonga.

Nsubuga yakubwa Puleesa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ng’agenze ku Colline House okusisinkana nnyini yo Augustine Kasozi wabula ne bamutegeeza nti taliiwo. Yasannyalala oludda olwa ddyo lwonna n’amala ku kitanda ennaku bbiri, n’afa mu kiro kya Ssande era abasawo ne bategeeza nti bwe yasannyalala, omusuwa ogutwala omusaayi ku bwongo gwesiba ne kimuviirako okufa.

Yaziikiddwa abeebitiibwa bangi era Kabaka n’aweereza obubaka obusaasira obwasomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga. Yafiiridde ku myaka 60 era we yafiiridde nga ye Ssentebe w’omukago ogugatta ebibiina by’obufuzi ebirina ababaka mu Palamenti, oguyitibwa IPOD.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...