TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Lutaaya gye yagobyemu aba Golden Band mu kuziika kitaawe

Engeri Lutaaya gye yagobyemu aba Golden Band mu kuziika kitaawe

Added 27th December 2016

Engeri Lutaaya gye yagobyemu aba Golden Band mu kuziika kitaawe

 Lutaaya (ku ddyo) n’abakungubazi abalala nga bateeka ssanduuko y’omugenzi mu ntaana ate mu katono Musa Kavuma (ku kkono), Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja (emabega wa Kavuma) mu kuziika eggulo.

Lutaaya (ku ddyo) n’abakungubazi abalala nga bateeka ssanduuko y’omugenzi mu ntaana ate mu katono Musa Kavuma (ku kkono), Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja (emabega wa Kavuma) mu kuziika eggulo.

GEOFFREY Lutaaya yagobye abayimbi ba Golden Band mu kuziika kitaawe bwe baagenze okussa ekimuli ku ssanduuko.

Abalangidde okwefuula abamwagala ng’ate be bamu ku bamuwalana abatamwagaliza kalungi. Abayimbi okwabadde Mesach Ssemakula, Catherine Kusasira, Ronald Mayinja, Micheal Kinene, Grace Ssekamatte n’abalala, baabadde bategeka kussa kimuli ku mulambo gwa Nelson Kaboggoza eyafi iridde ku myaka 89, eggulo e Mityebiri mu disitulikiti y’e Rakai gye yaziikiddwa.

Olwayise abayimbi bano okuganzika ekimuli, Lutaaya yakubye omulanga ng’agamba nti “Taata wange abadde talina nkwe, naye bano bavudde wa abeefuula abanjagala mu budde buno ng’ate baludde nga baagala nfe.” Olwo abantu baabadde beesooza nga bwe bajjukira engeri bbandi ya Eagles gye yasasikamu mu March wa 2014. Abagikulira okwali Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja, Fred Sserugga baatandika Golden Band ate Lutaaya ne mukazi we Irene Namatovu ne bakola eyaabwe eya Da Nu Eagles.

MANEJA WA GOLDEN BAND AYOGEDDE

Musa Kavuma akulira bandi eyo, yategeezezza Bukedde nti, taata wa Lutaaya omuto, Guster Lule Ntakke yayise abayimbi bonna bawerekere munnaabwe kyokka bwe baasimbye layini, Ntakke n’akwata ekimuli akiwe abayimbi bakitwale ku ssanduuko era wano Lutaaya we yatabukidde n’akaaba nga bw’agamba tayagala kukwata muyimbi yenna ku ba Golden mu ngalo kubanga balogo.

Wano Ntakke, mukyala we Namatovu ne bannaddiini kwe kumwegayirira akkakkane n’agaana era okubadde nga okukkakkana kwe kukwata ekimuli n’akikuba ku ssanduuko ne kisansuka. Abayimbi abo oluvannyuma beesasizza ne babulira mu mimwanyi wabula Kavuma n’awa omwana omukulu mu luggya amabugo ga bbandi eyo ga mitwalo 70, n’emitwalo 50 ezaavudde ewa Gen. Katumba Wamala.

Muzeeyi Kaboggoza yafudde ku Lwamukaaga ng’enkeera Ssekukkulu era yalese mutabani we Lutaaya mu kattu olw’ebivvulu bye yali yasasulwa edda ssente ng’alina okubiyimba kyokka nga y’omu ku baana abakulu abavunaanyizibwa obutereevu ku lumbe.

Eby’okugoba bayimbi banne byabadde tebinnabaawo, ng’abaamugula okuyimba mu kifo kya Maria Flo e Masaka bamusabye waakiri agende ku leediyo ategeeze abantu nti wadde ye yafi - iriddwa, ekivvulu gye kiri kyokka nakyo ne kimulema ng’agamba nti eby’ebiduula talina maanyi gabirowoozaako.

Maneja wa Da Nu Eagles, Umar Katumba yategeezezza nti oluvannyuma bakkaanyizza n’aba kkampuni ya Mugra Promotions abaamugula ne bamuleka wabula ne bamusaba aweereze mukyala we Irene Namatovu ne bbandi yonna bamukiikirire olwo n’asaba ab’ekika basonyiwe Namatovu olw’okukola nga ssezaala we afudde.

Kaboggoza yasaba Lutaaya awase Namatovu nga tannafa era yafudde yeebaza Katonda olw’okulaba ku mbaga yaabwe eyaliwo mu January wa 2014 mu maka ga Kaboggoza e Mityebiri. Omugenzi yaziikiddwa eggulo oluvannyuma lw’okusabira mu kkanisa ya Mityebiri C/U ku sssaawa 8:00 ez’olweggulo.

EBITABULA ABAYIMBI BANO

Oluvannyuma lw’ebbanga ng’abayimbi bano beesojja n’okwerangira enkwe ssaako okukivaamu nga bwe bakiddamu, baasalawo mu March 2014 ekibiina kya Eagles okukiggalawo. Baatuula ku bbiici e Ggaba nga kigambibwa nti maneja waabwe Musa Kavuma, Ssemakula, Mayinja, Sserugga ne Ssekamatte baali bamaze okweteesa nga n’ekibiina kya Golden baamala dda okukiwandiisa era Lutaaya yagenda okutuukayo nga baasazeewo dda n’abavaako n’atandika Da Nu Eagles ne mukyala we Irene Namatovu.

ABA GOLDEN ABALALA BOOGEDDE

Grace Ssekamatte Simanyi muganda waffe oyo ky’abadde naye ekikulu abayimbi batera okutuuka mu mbeera ebakyamuukiriza olumu ne bakola ebintu ebitakkirizika. Lutaaya ky’alina okumanya nti twafuuka baaluganda era okuziika twagenze kuziika kitaffe so si kitaawe yekka naye atwefuulidde. HARUNA MUBIRU Kirungi muzeeyi waffe tumuwerekedde bulungi, kya buntu okunyiiga naye ate kibi nnyo omuntu obutafuga busungu.

MESACH SSEMAKULA

Nze sigenda kwogera era ffe ng’ekibiina tekyandibadde kituufu twogere kubanga abantu bayinza okugamba nti ffe ffekka be yagobye so nga waabaddewo n’abalala. Nze ndowooza kyetaaga kuleka bules

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...