TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kusasira ne Stecia balwanidde akazindaalo ku kivvulu; Mesach abalagidde okwetondera abawagizi

Kusasira ne Stecia balwanidde akazindaalo ku kivvulu; Mesach abalagidde okwetondera abawagizi

Added 27th December 2016

Kusasira ne Stecia balwanidde akazindaalo ku kivvulu; Mesach abalagidde okwetondera abawagizi

 Stecia (ku kkono) ne Kusasira nga bagasimbaganye.

Stecia (ku kkono) ne Kusasira nga bagasimbaganye.

Catherine Kusasira avumbagidde Stecia Mayanja n’amunyweza omukono ng’amutangira okumusooka okuyimba. Baagenze mu maaso ne bawaanyisiganya ebisongovu ekyaleetedde abawagizi abazze mu kivvulu mu bungi ku Calendar ku Ssekukkulu okuwuniikirira nga beebuuza ekibatabudde.

Wakati mu kusika omuguwa, Mesach Ssemakula yabiyingiddemu n’abalagira bakomye okulwanira mu maaso g’abawagizi era n’abalagira beetondere abawagizi. Entabwe yavudde ku buli omu okwagala okusooka okuyimba nga kigambibwa nti baabadde beeyuna okugenda mu bifo ebirala gye baabade basasuddwa.

 

Oluvannyuma lwa buli omu okugaana okulekera munne akazindaalo asooke okuyimba, Ssemakula yawummuzzaamu okuyimba n’abawa amagezi bayimbe bonna kasavu kanyama, ng’era obwedda Stecia bw’amala okuyimba nga ne Kusasira ayimba.

Baakubye abawagizi baabwe emiziki okumala eddakiika 45 olwo Mesach n’addamu n’ayimba ennyimba ze. Abayimbi Bebe Cool, Ronald Mayinja, Chris Evans ne Titie Tabel be bamu ku baasinze okucamula abadigize.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.