TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Lutaaya ayogedde lwaki yagobye aba Golden Band mu kuziika kitaawe; Nabo bamwanukudde

Lutaaya ayogedde lwaki yagobye aba Golden Band mu kuziika kitaawe; Nabo bamwanukudde

Added 28th December 2016

Lutaaya ayogedde lwaki yagobye aba Golden Band mu kuziika kitaawe; Nabo bamwanukudde

 Lutaaya ku kkono ne Musa Kavuma (KT)manager wa Golden Band

Lutaaya ku kkono ne Musa Kavuma (KT)manager wa Golden Band

GEOFFREY Lutaaya awadde ensonga kwe yasinzidde okugoba aba Golden Band mu kuziika kitaawe Nelson Kaboggoza. Eggulo Lutaaya, yalambuludde ensonga eziwera kyokka buli emu nga maneja wa Golden Band, Musa Kavuma agitangaazaako.

Lutaaya yagambye bwati: Nze nnabadde sisobola kwogera bintu bizito ng’ebyo mu kuziika kitange kyokka ensonga zino ze zandeetedde ekyo era ssejjusa kubyogera.

Abayimbi ba Golden Band bankoze bingi bukya twawukana (mu 2014) omuli okwagala okusuula ekibiina kyange n’okunjagaliza okufa. Ku kino, Kavuma yagambye nti ekibiina kyabwe kikola byakyo, ebya Lutaaya tebalina kye babyetaaza.

Bwe njagala okukola ebivvulu, waliwo gye sisobola kubikolera ng’abayimbi b’ekibiina ekyo bayita emabega ne bannemesa.

Waliwo lwe nnayagala okukola ekivvulu omwaka oguwedde ku Africana kyokka ‘buukingi’ yange (olunaku lwe nnali njagala) baalugaana nga bagamba nti lwali lutwaliddwa. Oluvannyuma nnategeezebwako omuntu omu nti abantu abo be baabiri emabega, era ne ku lunaku olwo tewaaliyo kivvulu.

Kyokka ne kino Kavuma yagambye nti talina ky’akimanyiiko wabula alutwala ng’olugambo olusaasaanyizibwa abantu abaagala okulaba nga wasigalawo olukonko. l Nnali nsasudde ‘buukingi’ ku Calendar nkolerewo ne Bbandi yange eya Da Nu Eagles ku lw’abaagalana omwaka ogujja kyokka nnalemesebwa ne ssente ne bazinziriza.

Abo bennyini be baatuukirira aba Calendar ne babasaba nti sikolerawo ne batiisatiisa nti bo bajja kusengukawo singa nzikirizibwa okussaawo ekivvulu era bannyini kifo bwe baatya okufiirwa bizinensi y’aba Golden, kwe kusazaamu ebyange ne banziriza ssente.

Bino nabyo Kavuma yabisambazze n’awa Lutaaya amagezi okusengejja bye bamubuulira aleme kubyesigamako kusunguwala atuuke n’okukuba ekimuli ku ‘ssanduuke’ ya mukadde we. l Basiiba basekeeterera abayimbi ba bbandi yange abato bave mu kibiina nga babasuubiza emmotoka singa bavaayo.

Wabula Kavuma yagambye nti ebyo byonna tebiriiko mutwe na magulu kubanga mu kibiina kya Lutaaya tebalinaayo muyimbi yenna gwe beetaaga.

l Bwe baba banjagala nga ky’ekyabaleese okuziika, maama wange Margaret Kaboggoza yalwadde n’amala mu ddwaaliro e Nsambya ennaku 391, nga tebazze na kumulabako ate ng’eddwaaliro ly’e Nsambya libali ku nnyindo; ate bwe bava awo nga bajja nti okuziika taata!

Okuggyako Catherine Kusasira yamulambula ate n’ewange atera okuyitawo n’ambuuzaako era bwe nnabagobye ye (Kusasira) nnabadde sirina bwe mmutaliza naye ye muntu yekka atalina buzibu.

Baabadde bazze kweragira ku kitange kubanga baabadde bazze n’owa kkamera abakube n’ebifaananyi abisaasaanye balyoke bagambe nti oba mugamba nti tetukolagana ne Lutaaya, ate lwaki twamuziikiddeko.

Singa baabadde balina ekimuli ekyabwe ne bakireeta lwabwe, ekyo kirala. Naye nneewuunyizza bwe nnasituse ate nabo ne bansitukirako ng’ate nze saagala kubeesembereza ndudde nnyo nga mbatya. l Nze ssirina nkwe bwe nkunyiigira nkugamba.

Naye abasajja abo balaga abantu ku ngulu nti balina enkolagana n’abantu abalala wabula nga munda babapangira bibi byereere. Abatabamanyi lwe mulibamanya nti bwe batyo bwe bali mulikitegeera.

Waliyo abantu babiri be sigenda kwogera mannya ssaawa eno naye be basinga okubeera ab’omutawaana (mu kibiina kya Golden); tebaagaliza ate eby’eddogo bye basiibamu. l Abampaayiriza nti nayuzizza ssente z’amabugo gaabwe, balimba kubanga nze simanyi na kumanya oba baawadde amabugo.

Ekirala, ssi nze nnabadde ngakwata era sibimanyi. l Gen. Katumba Wamala yatukuutira twagalane nga twawukana kyokka bbo balaga nti kiri bulungi ate bwe badda ebbali ne babissaamu effitina.

lNabadde n’obulumi bwa Muzeeyi bungi nga siyinza kubugattika na bulumi bw’abantu abatanjagala okujja okunsaasira ng’ate nkimanyi nti si kye bategeeza.

IRENE NAMATOVU (mu ka Lutaa ya) ayoge dde: Mu bigambo bye yategeezezza bwati: Bwe yamaze (Lutaaya) okwogera ebyo, nnamutuukiridde ne mmusaba antegeeze lwaki anyiize nnyo bw’atyo kubanga nze sikirabangako ng’avudde mu mbeera okutuuka awo. Kye mmumanyiiko, talina nkwe ayogera kimuli ku mutima.

Era yanzizeemu nti, “Ebintu ebyo nnabyogedde biva ku ntobo ya mutima gwange era mbikakasa”. Bwe yah− hambye nti kaabyogedde bimuvudde ku mutima, kyansanyusizza kubanga ekyo kisingako okutereka obusungu ebbanga lyonna.

Mu February wa 2011, Omusumba Bugembe owa Light Your World e Nansana yayita abayimbi ne basereebu abalala bonna era ekyasinga okusaanikira okusaba kw’olwo ly’eddogo eryali ligambibwa okubaawo wakati w’ekibiina kya Eagles Productions ekyalimu Lutaaya ne banne aba Golden bwe banenehhana nga balowooza nti muyimbi munnaabwe, Fred Ssebatta abaloga era tebalinnya ku siteegi emu.

Kw’olwo Bugembe yabakaka beekwate mu ngalo ne bagaana wabula Stecia Mayanja yalugwamu bwe yatuuka kikeerezi ne bamugamba akwate Ssebatta mu ngalo n’akikola nga tamanyi nti bakamaabe baakigaanye dda. Bugembe yabagamba nti kati bwe liba ddogo, katulabe ekiddirira. Kigambibwa nti baasooka kugendayo abasabire ku by’eddogo lyerimu.

Abby Musingu zi (aman yiddwa nga Abte x) awagi dde Lutaa ya Yagambye nti: Lutaaya kye yakoze ky’ekituufu kubanga ow’enkwe bamulangirira misana nga buli omu alaba; Nze simunenya kubanga ne bwe mbeera nze nneebuuza, nti bwe nfiirwa nga gwe tonjagala, lwaki ojja okuziika nga mmanyi nti olina enkwe!

Muzee yi Ka bogo zza okukubwa PULEESA ye kanaalu zaala -Tonn y Ssempi jja Ssempijja akulira ekibiina kya Uganda Music Promoters and Venue Owners Network yagambye nti ekimu ku birudde nga byogerwa ky’eky’obulwadde obwasse muzeeyi Kaboggoza okuba nga bwasajjuka mu 2014 bwe yakubwa puleesa nga bamutegeezezza nti abayimbi okuli Mesach Ssemakula, Ronald Mayinja ne bannaabwe baawukanye ku Lutaaya n’asigala yekka ne mukazi we Namatovu era Muzeeyi n’atya ng’alowooza nti eyo y’enkomerero ya mutabani we.

Kyokka abaddukanya ebibiina byombi balina okumanya nti bwe biba bya kugenda mu maaso, balina okutabagana. EBY ABADD EWO n’okubuulira Lutaa ya Omugagga Guster Lule Ntakke eyabadde n’akazindaalo bwe yayise Lutaaya akulemberemu bayimbi banne okuganzika ekimuli ku mubiri gwa Muzeeyi Kaboggoza, abayimbi okwabadde Haruna Mubiru Kitooke, Kusasira, Ssemakula n’abalala beesowoddeyo ne bayimirira emabega wa Lutaaya.

Abayimbi abalala abaabadde bakyajja bwe baalabye Lutaaya ng’akaaye, beemuludde mpola olwo Lutaaya n’asaba akazindaalo nga bw’akutte ekimuli n’atandika okulangira banne nga bw’akaaba ng’agamba nti kitaawe tabadde na nkwe era tekijja kumukola bulungi bw’awerekerwa abantu ab’enkwe, abeefuula abamwagala ate nga baakolerera kimu agwe. Wano yatambudde mukungujjo n’ekimuli n’akikuba ku ssanduuko ya kitaawe nga bw’ayongera okulangira banne.

Bano bwe bati bwe baayogedde ku nsonga eno: Benon Kibuuka: Njagala okubuulirira Lutaaya nti omuntu bw’afiirwa aba mu bulumi naye kye yakoze kyabadde kinene nnyo. Mu kuziika mufuuka omuntu omu okuggyako nga kizibu nnyo.

Nange maama wange okufa nali ku ‘sho’ ng’abalabi balaba ate ne bambikira nti maama afudde. Nasiba obulumi ne mmala ekivvulu. Meddie Nsereko yafiirwa omwana ne tuguma omuzannyo ne guggwa. James Ssenkubuge taata we yafa tuli ku siteegi era n’aguma.

Omutaka Fredrick Kasibante Kayiira Gajuule (Mukubiriza wa lukiiko lw’Abataka): Wano mu Buganda mu kufiirwa, olumbe byonna ebibi ebyakolebwa obissa ku bbali kuba lino libeera kkuhhaanyizo lya buli muntu eyakusobya, abakwagala bonna babeera awo. Emikolo gino gyateekebwawo Bajjajjaffe ng’entabiro y’okuleeta obumu mu bantu era ky’ova olaba nti omuntu bw’afa, amabanja g’alese tufuba okulaba nga gasasulwa.

Kino kitegeeza nti okufiirwa, okuziika n’olumbe bikulu nnyo mu kuleeta obumu emirembe n’okuta-bagana mu bantu. Ne ku mabugo bwe kityo; tegagaanibwa ne bwe kiba ng’agakuwadde temukolaganirako ddala; era kitwalibwa nti gasobola okufuuka entandikwa y’okutabagana.

Dr. Adam Kimala Nsubuga (muwandiisi w’ebitabo ku byobuwangwa: Ku mufu tebakolerako ekyo era wano ewaffe mu Buganda buli muntu ajja mu kufiirwa ayanirizibwa nga bwe wabeerawo ebitaatambula bulungi, ebyo mubyogerako luvannyuma ate si mu luggya eyo wala mu bitooke.

Lutaaya ky’alina okukola kati, kuyita banne abo (aba Golden Band) okubayita n’abawa ekita ky’omwenge oba ekijjulo abeetondere n’okubeenenyeza nga kino kyakulaga nti ddala musajja eyategedde ensobi ne yeemenya mu mmeeme era akulidde ddala mu birowoozo.

Omulabirizi Henry Katumba Tamale (Mulabirizi wa West Buganda eyakulembedde okusaba nga baziika): Nnabaddewo naye saabadde kumpi okwetegereza kiki kyenyinni ekyavuddeko embeera eno.

Okutwalira awamu abantu bwe babeera nga bafunye obutategeeragana balina okusonyiwagana kubanga kino Katonda ky’atwagaza- okwagalananga n’okusonyiwagananga. Ng’enda kugezaako okulaba nga mpita abaana bano mbatuuze njogere nabo okulaba nga tumalawo obuzibu.

Bano bantu baffe n’olwekyo nga tulina okulaba ng’okusowagana kwabwe nga kuggwaawo kuba tetulina kukkiriza mbeera kutambula bwetyo. Nkyalinzeeko Lutaaya ave mu mbeera y’okunyolwa ndyoke mbakane n’omulimu ogwo. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Latif Ssebaggala nga yeewandiisa e Ntinda.

Latif Ssebaggala olumaze ok...

OMUBAKA Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North n'awera....

Sarah Nkonge ng'awaayo ttanka ze yagulidde ab'e Lwengo.

Sarah Nkonge awadde ab'e Lw...

EKITONGOLE kya Dr.Sarah Nkonge Muwonge Foundation kidduukiridde amasomero, amalwaliro n'amasinzizo ag’enjawulo...

Abamu ku bakazi abaasibiddwa.

70 baggaliddwa ku bya Bobi ...

Abaavunaaniddwa kwabaddeko Milly Nantale, Proscovia Nakamya n’abalala. Bonna abaavunaaniddwa balina ebyalaani mu...

Okukuza olunaku lw'emmere m...

ENSI yonna ng’ekuza olunaku lw’emmere, akulira Nationala Children Authority Martin Kiiza ategeezezza nti mu Uganda...

Ekif: ERIA LUYIMBAZI

Okukuza olunaku lw'okunaaba...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa kuzudde nti abakyala banaaba engalo emirundi mingi okusinga abasajja buli lunaku naddala...