
ABANTU abasoba mu 50 be bajjanjabibwa mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw'okulumibwa embwa.
Twatuuseeko e Mulago ng'abantu bangi bali mu lunyiriri balinze okubawa eddagala.
Ku bano twayogeddeko ne Jessie Namaganda 30 ow'e Kawanda agambye nti yabadde ava ku mulimu ng'atambula ku ssaawa 3:00 ez'ekiro embwa n'emubaka okugulu n'ekuluma kyokka tebamanyi nnannyiniyo.
Miracle Nampijja myaka esatu ow'e Kazinga Lugoba mu Munisipaali y'e Kawempe ye yali asala oluguudo embwa n'emugoba n'agwa wansi n'emuluma.
Abdul Swabula Lubulwa 3, (mu katono) ow'e Zzana yabadde ava mu saluuni ng'asala ekkubo okudda awaka embwa n'emuluma omukono.
Nnyina Sarah Nannungi agamba nti embwa zisusse obungi kyokka obulwa gw'owawaabira ne basaba KCCA okuzitta.
Omujjanjabi Florence Kateregga mu ddwaaliro e Mulago yategeezezza nti bajjanjaba abantu 50 abalumiddwa embwa buli wiiki.
Ekitongole ky'ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kigamba nti abantu 59,000 be bafa nga balumiddwa embwa.