TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire y'omugenzi Namaganda eyombye ne Mbidde lwa bintu

Famire y'omugenzi Namaganda eyombye ne Mbidde lwa bintu

Added 1st January 2017

Beemulugunya nti Mbidde yezza ebyobugagga byonna Namaganda bye yaleka ate ng’ebisinga yabifuna tannafumbirwa Mbidde.

 Omubaka Veronica Nannyondo (ku ddyo) ng’alina by’agamba Mukasa Mbidde (ku kkono).

Omubaka Veronica Nannyondo (ku ddyo) ng’alina by’agamba Mukasa Mbidde (ku kkono).

Bya BASASI BAFFE

MUKASA Mbidde asanze akaseera akazibu mu kwabya olumbe lwa mukazi we Susan Namaganda “Bbeeyi ya birime”, abamu ku bako bwe bamutabukidde ng’entabwe eva ku byabugagga omukazi bye yaleka.

Abamu ku ba famire ya Namaganda baludde nga boogera ne Fred Mukasa Mbidde (omubaka mu Palamenti ya East Africa) nga baagala batuule bakkaanye ku nzirukanya y’ebyobugagga muwala waabwe bye yaleka kyokka ng’abeepena.

Akakisa baakafunidde mu lumbe olwasuliddwaamu ku Lwokutaano ne bamuzza mu kafunda ne batabuka nga baagala ensonga eyo egonjoolwe ng’omusika tannalagibwa.

Beemulugunya nti Mbidde yezza ebyobugagga byonna Namaganda bye yaleka ate ng’ebisinga yabifuna tannafumbirwa Mbidde.

Namaganda eyali omubaka omukazi ow’e Bukomansimbi yafi ira mu kabenje e Kampiringisa ku lw’e Masaka, emmotoka ye Mark II mwe yali atambulira bwe yatomerwa takisi nga December 11, 2015 era olumbe baalwabizza nga gwakawera omwaka bukya afa.

Kaadi gye baakoze eyita abantu.

 

EBYOBUGAGGA EBIBAGULUMBYA

1 Ettakka yiika 10 okuli n’amaka ku kyalo Bugana-Kawoko mu ggombolola ye Butenga e Bukomansimbi we baayabirizza olumbe.

2 Ettakka e Bunnamwaya – Zzana mu Wakiso okuli ennyumba bbiri ezipangisibwa.

3 Emmotoka nnya okuli Progress, Mazda, Ipsum ne Pajero omugenzi ze yalina mu kkampuni ya Egypro ekola ku by’okupangisa emmotoka ku b’emikolo n’abalambuzi. Eno yagitandika tannafuuka mubaka era nga tannafumbirwa Mbidde.

4 Ettakka ku lubalama lw’ennyanja e Nabugabo mu ggombolola y’e Bukakata e Masaka, era Namaganda we yafiira yali azimbawo Bbiici.

Abamu ku ba famire ya Namaganda baabadde baagala Mbidde aleete ebiwandiiko byonna ebikwata ku byobugagga ebyo kubanga y’abirina olwo bakkaanye ku ngeri gye binaddukanyizibwa kyokka kino Mbidde yakigaanye.

Owooluganda omulala yagasseeko nti nga Namaganda tannafa yafunamu obutakkaanya ne bba Mbidde era n’anobera ewa muganda we Ritah Namugenyi e Nansana mu Wakiso era okumuggyayo n’okumuwooyawooya Mbidde yawa omukazi emmotoka kika kya Benz kyokka n’eno kati temanyiddwaako mayitire.

ENGERI GYE BAZZE BAGULUBA

Okwabya olumbe nga kutegekebwa, Mbidde yasoose kufuna kuwakanyizibwa okuva mu b’enju ya Muzeeyi Erineewo Wasswa (kitaawe wa Namaganda) era ne basalawo obutamuyingiza mu lumbe butereevu wabula ajje nga muko.

Baakubisizza kkaadi nga tebalina we boogerera ku Mbidde era kino aboludda lwa Mbidde kyabayisizza bubi nnyo ne bapanga engeri gye ‘beddiza’ olumbe.

Omu ku bako yategeezezza Bukedde nti abooludda lwa Mbidde baasazeewo okukozesa ssente ‘okuwamba’ olumbe era Mbidde kye yasoose okukola kwe kukwatagana n’omubaka Veronica Nannyondo (muganda wa Namaganda eyadda mu kifo kya Bukomansimbi) okukakasa nti tamuwakanya.

Omuko yagasseeko nti: Yakwataganye (Mbidde) ne bannabyabufuzi abaakulembeddwa Minisita Haruna Kasolo kwe yagasse abavubuka abaavudde e Makindye abajjidde mu ‘Koosita” bbiri ku Lwokuna ne beefuga olumbe.

Abavubuka ba DP okuli Dick Lukyamuzi Ssenyondo ne Dennis Lukanga Majwala obwedda be bassa mu nkola ebiragiro bya Mbidde ku kirina okukolebwa mu lumbe, ng’aba famire ya Namaganda amaanyi gaabawedde.

Ebyokwerinda nabyo byakoleddwaako ttiimu ya Mbidde.

Waasooseewo ekitambiro kya Mmisa ekyakulembeddwaamu Rev. Fr. Pascal Ssewalu eyasabye abantu b’e Bukomansimbi okusabira Namaganda.

 

MBIDDE YEERWANYEEKO

Mu kiro ky’Olwokutaano, Mbidde yayitiddwa okwogerako eri abantu abaasuze mu lumbe era olwakutte akazindaalo n’akakasa abantu nti byonna Namaganda bye yali atandiseeko birina okugenda mu maaso.

Yagasseeko nti ebintu byonna Namaganda bye yaleka abimanyi era biddukanyizibwa bulungi okukakasa nti ebirooto bye bituukirira.

Yayongeddeko nti: N’olwekyo anaakolagana nange njagala akkakkanye Puleesa kuba ebikwata ku nteekateeka z’omugenzi byonna nze mbirina era mbimanyi.

Oyo (Namaganda) mutwala nga mukama wange era nja kumutwala nga mukama wange okutuuka nange lwe nnaava mu bulamu bw’ensi.

Abamu ku baabadde mu lumbe okuli ne bannabyabufuzi abaabaddewo baawagidde Mbidde okuddukanya ebintu Namaganda bye yaleka kubanga y’alabirira n’abaana abasatu omugenzi be yaleka ku nsi.

Omubaka Nannyondo yasiimye abantu b’e Bukomansimbi olw’okubayambako okuteekateeka olumbe luno naddala okubadduukirira ku byokulya n’ebirala n’asaba abantu okwongera okumussaamu obwesige nti ajja kubaweereza bulungi ng’omubaka waabwe.

BABIYINGIZZAAMU ENKOLAGANA YE NE NANNYONDO

Abamu ku ba famire baalaze n’obutali bumativu ku nkolagana ya Mbidde n’omubaka Nannyondo gye bagamba nti ewadde Mbidde omwagaanya okuddukanya ebintu by’omugenzi byonna nga talina muntu mulala gwe yeebuuzaako.

Namaganda bwe yafa, Nannyondo yasalawo okudda mu nnyumba muganda we mwe yali abeera ne Mbidde, ayambeko mu kukuza abaana abato muganda we be yaleka.

Abamu ku ba famire ya Namaganda baagala Nannyondo ave mu nnyumba ya Mbidde kubanga bazze bafuna n’okwemulugunya okuva mu famire ya Ronnie Ssali gye yafumbirwa n’azaalayo n’omwana.

Nannyondo ne Ssali balina omwana omu.

Mu kiseera kino Ssali ali ku kyeyo e Dubai era bwe yali agenda, Nannyondo n’omwana yabaleka mu maka ga bazadde b’omulenzi e Nakinyuguzi – Luwafu mu Makindye.

Aba famire ya Namaganda bagamba nti waliwo aba famire ya Ssali abeemulugunya nti okuva Nannyondo lwe yagenda ewa Mbidde, enkolagana ne taata w’omwana yayonooneka era yamussaako n’amateeka ag’obutamukubira ssimu kiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...