
Kabaka(ku ddyo) ng'atangira Nnaalinnya Kyamulabi okulumba Katikkiro (mu galubindi) bwe baabadde mu Lubiri ku Lwomukaaga
Bya DICKSON KULUMBA NE JOSEPHAT SSEGUYA
NNAALINNYA Kyamulabi yasonze olunwe mu Katikkiro mu bukambwe ekyawalirizza Kabaka okumukwata n’amutangira okulumba Kamalabyonna mu lujjudde.
“Tukooye abatugaana okulaba Kabaka. Nze ne Kabaka tuli ba lulyo Lulangira. Lwaki abakopi batutangira okwogera ne Ssaabasajja”, bwe yategeezezza ng’asonze olunwe mu Katikkiro mu maaso ga Kabaka eyabadde agenze mu Lubiri okuyingiza abantu be omwaka omuggya 2017 ku Lwomukaaga akawungeezi.
Kabaka yabadde tannasimbula kuva mu Lubiri, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’amukulembera okumulaga ku bagenyi be.
Yasoose kumutwala ku weema omwabadde Baminisita b’e Mmengo,ababaka ba Palamenti abaakulembeddwa Muyanja Ssenyonga- akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda, bonna Beene yababuuzizzaako.
Kabaka yazzeeko awaabadde Abalangira n’Abambejja n’Abakulu b’Ebika.
Kyamulabi yalabise nga yabadde ne by’ayagala okugamba Ssaabasajja era bakira afuba okusembera ku mwanjo kyokka abaserikale ne bamutangira.
Minisita avunaanyizibwa ku kulambula kwa Kabaka, Hajati Mariam Mayanja naye yagezezzaako okumukomako aleme kutabuka na bakuumi ba Kabaka.
Abambejja abaafunye omukisa okusemberera Ssaabasajja bakira bafukamira okumulamusa. Abamu yabakutte mu ngalo.
Kyokka Kyamulabi olwafunye omukisa yayogedde ne Kabaka ng’ayimiridde ekitaalabise bulungi. Bangi baalabise nga bawuniikiridde.
Katikkiro naye yalabise nga tekimusanyusizza nga Kyamulabi aliko by’ategeeza Kabaka ng’ayimiridde ate mu ddoboozi eritali lya bwetoowaze.
Yabadde ayogera ne Kabaka nga Katikkiro ali kumpi awo n’amwambalira: Zino nsonga za Balangira, omukopi taziyingiramu.
Abamu ku baabaddewo ye Meeya w’e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Omuzaana w’Omulangira Nakibinge e Kibuli, Nnaalinnya Getrude Tebattagwaabwe, Omumbejja Jane Mpologoma n’abalala.
KYAMULABI Y’ANI?
Ye Nnaalinnya w’amasiro ga Ssekabaka Walugembe e Bugembegembe - Kasengejje mu disitulikiti y’e Wakiso mu Busiro. Yava kuno mu 2000 n’agenda mu Amerika gy’abeera kyokka atera okudda.
Ku luno yazze ku mukolo Kabaka kwe yasisinkanidde Abaganda ababeera ebweru wa Buganda.
OBUBAKA BWA KABAKA
KABAKA yakalaatidde abantu be okukomya okwekubagiza wabula bakole n’amaanyi mu mwaka 2017 okwegobako obwavu.
Obubaka bwasomeddwa Katikkiro n’agamba nti “ Kabaka ayagala mubeere balamu omwaka guno, muleme kwekubagiza wabula mukole n’amaanyi okweggya mu bwavu.” Mayiga yeebazizza abeetabye mu kulambula kwa Kabaka okwetoloola Obwakabaka okuli Baminisita, abaami b’amasaza, abakuba embuutu, okwera enguudo, okukuba enduulu n’ebirala.