TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino ebipya ebizuuse ku Nnaalinnya eyalumbye Katikkiro

Biibino ebipya ebizuuse ku Nnaalinnya eyalumbye Katikkiro

Added 3rd January 2017

Biibino ebipya ebizuuse ku Nnaalinnya eyalumbye Katikkiro

 Nnaalinnya Tebattagwabwe ne Kyamulabi (wakati) mu Lubiri ku Lwomukaaga. Wano yabadde tannatabukira Katikkiro.

Nnaalinnya Tebattagwabwe ne Kyamulabi (wakati) mu Lubiri ku Lwomukaaga. Wano yabadde tannatabukira Katikkiro.

ABAMU ku Balangira bategeezezza nti Omumbejja Kyamulabi eyalumbye Katikkiro mu maaso ga Kabaka yabadde agezaako kutuusa ku Ssaabasajja okwemulugunya kwe balina (Abalangira) kyokka nga buli lwe bagezaako okumulaba balemesebwa Mmengo.

“FFe Abalangira, obukulembeze obuli e Mmengo butukutudde ku Kabaka nga muganda waffe. Ab’e Mmengo batugamba kuwandiika, kyokka bwe tutwalayo amabaluwa tegatuuka mu Lubiri. Ebbaluwa ezimu basooka kuzisoma ne balaba ebitabasanyusa ne bazisuula mu kasero,” omu ku Balangira bwe yategeezezza. N’agattako nti emirundi egimu ab’e Mmengo babawabula ebbaluwa baziyise mu Ssaabalangira, kyokka naye eddoboozi lye ttono.

Ku Lwomukaaga, Ssaabasajja bwe yabadde mu Lubiri okuyingiza abantu be omwaka omuggya 2017, Kyamulabi yagenze awali Kabaka ng’alamusa ku bantu Amasiro g’e Bugembegembe Nnaalinnya Kyamulabi g’avunaanyizibwako.

Ssaabalangira Musanje Minisita Noah Kiyimba Nnaalinnya Tebattagwabwe ne Kyamulabi (wakati) mu Lubiri ku Lwomukaaga. Wano yabadde tannatabukira Katikkiro. n’abaako by’amugamba. Oluvannyuma yalabiddwa ng’alumba Katikkiro amusongamu olunwe kyokka Kabaka n’amutangira.

Wabula era yawulikise ng’ayisaamu eddoboozi nti; mundeke mbuulire Kabaka ebituluma. Zino ensonga za Balangira tezikwata ku bakopi.” Eggulo abantu abenjawulo baayogedde ku kikolwa kino ng’abamu bagamba nti tekyalabise bulungi Kyamulabi okulumba Katikkiro mu lujjudde. Kyokka abamu ku Balangira baamuwabudde nti bafubye okulaba Kabaka ne balemesebwa nga kati basigadde kukozesa kakisa konna ke bafuna ne bwe guba mukolo.

Baagambye nti okuva nga Moses Kayima akyali Ssaabalangira babadde n’ensonga ze baagala okuggusa ewa Kabaka kyokka ne balemesebwa Mmengo. Ensonga zino mulimu okussaawo ensawo okubalabirira naddala abakadde abeetaaga obujjanjabi. Baagala ekifo kyabwe ng’Abalangira kinywezebwe babeere n’enkizo ku kulaba Kabaka oba wabeewo engeri ennuhhamu mwe bayita okutuusa ensonga zaabwe embuga.

Abamu balina okwemulugunya ku ttaka nga bagamba nti Ebyaffe bwe byakomezebwawo, ettaka lyonna okuli erya Bassekabaka lyazzibwa mu Buganda Land Board (BLB) so ng’enju ez’enjawulo mu lulyo Olulangira zandibadde n’obuvunaanyizibwa ku ttaka eryo. Abava mu Ssekabaka Daudi Chwa II baludde nga boogera ku nsonga eyo.

Abalangira era balina enkaayana mu lulyo ze baagala okutegeeza Kabaka. Zino kuliko okukyusa obukulembeze bw’olulyo Olulangira ne baleeta Abalangira b’e Kibulala mu Ssingo okulya obwami. Baawadde ekyokulabirako kya Kazawula Walugembe amyuka Ssaabalangira nga bagamba nti tekibangawo mu Buganda abava e Kibulala okulya ekifo ekyo. Kyokka Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe yagambye nti Omulembe Omutebi gugatta Abaganda bonna. Okusosola mu bantu ba Ssaabasajja kyakoma.

Buli alina obusobozi asobola okuweebwa omukisa okuweereza mu kifo kyonna. Yakkirizza nti waliwo okwemulugunya mu Balangira era baamuwa kkoppi y’ekiwandiiko. N’agamba nti ategese okubasisinkana enkya ku Lwokusatu boogere ku nsonga zino ng’enkola entuufu bw’eri.

“Buli Mulangira oba Omumbejja alina okwemulugunya akuleeta ewa Ssaabalangira n’akutunulamu bwe kiba kyetaagisa n’alyoka ayongerayo ensonga ewa Kabaka”, bwe yagambye. N’agattako nti Kyamulabi kye yakoze mu Lubiri yakikoze ye ng’omuntu era eyo si ndowooza ya Balangira bonna. Nja kulaba Kyamulabi aweebwe omukisa okulambulula ensonga ze zikolweko.

 

” N’agattako nti bakoze enteekateeka Kabaka okusisinkana olulyo Olulangira. Ku ky’okulwawo okubalaba, yagambye nti Kabaka alina obuvunaanyizibwa bungi takola ku nsonga za Balangira zokka kye yava assaawo Ssaabalangira akole ku nsonga ezimu.

Minisita w’Ebyamawulire e Mmengo, Noah Kiyimba yagambye nti bakyetegereza ensonga ezaatabudde Kyamulabi. Kyokka Obwakabaka bulina enkola eyitibwamu okutuusa ku Kabaka obubaka eteekwa okugobererwa.

Mu Lubiri, Kabaka yasiimye kulamusa ku bantu be nga kyabadde kikyamu Kyamulabi okuleeta ensonga ze ku mukolo ogwo. Okumala ekiseera wabaddewo okwemulugunya mu bantu abalala okuli Abataka abakulu b’Ebika nga bagamba nti Kabaka abakwekebwa nnyo ebintu bingi ne bikolebwa ng’afunye kuwabulwa bakungu b’e Mmengo bokka so nga bo ng’abakulu b’ebika waliwo ensonga ze bateekwa okwenyigiramu oba okuwabula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...