TOP

Abasiraamu batutte Gavt. mu kkooti

Added 3rd January 2017

Abasiraamu batutte Gavt. mu kkooti

 Abasiraamu nga basaala ku muzikiti e Nakasero.

Abasiraamu nga basaala ku muzikiti e Nakasero.

ABASIRAAMU b’omuzikiti gw’e Nakasero bawawaabidde gavumenti mu kkooti enkulu ku bya poliisi okulumba n’okutyoboola ekitiibwa ky’omuzikiti nga bayingiramu n’engatto. Habib Buwembo akulira ebyamawulire ye yakulembeddemu banne okuli Siraje Nsambu Kifamba akola ng’omuwandiisi w’omuzikiti era omwogezi ne Yusuf Musa Musuda ne bagenda mu kkooti ku lw’Abasiraamu bannaabwe.

Baasabye kkooti eyimirize gavumenti okukozesa ekintu kyonna poliisi kye yaggye mu muzikiti ng’obujulizi mu musango gwonna mwe bavunaanira Abasiraamu emisango gy’okutta bannaabwe. Mu kiro kya December 27, 2016, poliisi yazinze omuzikiti gw’e Nakasero ng’egamba nti yabadde efunye amawulire nga bwe waliwo ebyokulwanyisa ebyabadde biterekeddwaamu era oluvannyuma yategeezezza nti baasanzeemu amasasi, obwambe, omutego gw’akasaale n’obusaale musanvu.

Akugoba takutadde tabulwa ky’akusuuza. Abasiraamu balumiriza poliisi nti mu kwaza omuzikiti yatutte ebintu okwabadde obutambi, kompyuta, essimu eziwerako, pikipiki 6, ssente enkalu, ebiwandiiko, fayiro y’ebiwandiiko by’omusango gw’eyali omukulembeze waabwe, Sheikh Muhammad Yunus Kamoga erimu sitetimenti z’abantu eziraga nti Kamoga teyeetabangako mu kutta Basiraamu banne.

Basaba kkooti eragire poliisi ebawe olukalala lw’ebintu byonna bye yaggye mu muzikiti era wano we baasinzidde ne basaba kkooti ewe ekiragiro ekiyimiriza gavumenti okukozesa bye baggye mu muzikiti ng’obujulizi mu misango mwe bavunaanira Abasiraamu wabula babibaddize.

Nga bayita mu munnamateeka Isaac Ssemakadde ow’ekitongole kya ‘Centre For Legal Aid’ basabye akulira abalamuzi, Dr. Yorokamu Bamwine abalage omulamuzi eyayisa ekiragiro poliisi kye yasinziddeko okulumba n’okwaza omuzikiti.

Buwembo ne banne bagamba nti awatali kiragiro kiva mu kkooti kiragira poliisi kwaza muzikiti, tebasobola kukakasa nti ebintu byonna bye basiba ku muzikiti ddala byasangibwamu. Yusuf Musa eyaliwo nga poliisi erumba omuzikiti agamba nti ekiro ekyo abantu bonna abaalimu okuli ne ba Imaam baatulugunyizibwa, ne basibwa akandooya, okubakuba ebifaananyi n’okubakwata ku butambi bwe batamanyi kye bugenda kukozesebwa nga babagasseemu abantu be batamanyi gye baava.

Bagamba nti okuva poliisi lwe yalumbye omuzikiti, baafunye okutya era abamu tebakyayagala kugenda ku muzikiti kusaala olw’okutya nti poliisi essaawa yonna esobola okuddamu n’ekola obulumbaganyi obulala. Kwe kusaba kkooti egaane poliisi okuddamu okubakolako obulumbaganyi obw’ekika kino. Abasiraamu batutte Gavt. mu kkooti

GWE BALUMIRIZ A OKUKULEMBER A POLIISI OKULUMB A OMUZIKITI YEEWOZ AAKO :

Shiekh Hassan Kaluuma eyabaddewo nga poliisi erumba omuzikiti yategeezezza nti abaakulembeddemu poliisi kwabaddeko Abasiraamu. Tayatula mannya wabula Abatabuliiki ne batandika okulumiriza nti baazudde amannya ng’eyakulembeddemu poliisi nga ye Sharif Ssennoga. Akatambi akaafulumidde ku WhatsApp nga kali mu ddoboozi lya Ssennoga, yategeezezza nti bye bamwogerako byabulimba. Yajulizza akatambi k’omugenzi Maj. Muhammad Kiggundu ke yaweereza ku ‘WhatsApp’ nga tannafa ng’ayogera ku butambi obusaasaanyizibwa obw’obulimba.

ABOOLUG ANDA LW ’ABAZZE BAKW ATIBW A BASISINKANA KAYIHURA:

Ensonda ezeesigika zaategeezezza nti leero abakyala n’abaana b’abasibe Abatabuliiki abazze bakwatibwa mu bitundu eby’enjawulo ku nsonga z’okutta Maj. Kiggundu lwe bagenda okusisinkana omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura abalage abantu baabwe kubanga bo balumiriza nti baabakwatira bwereere ate bagaanyi okubatwala mu kkooti.

SWIDIQ NDAWULA AWAGIDDE POLIISI OKULUMB A OMUZIKITI :

Ono yagambye nti poliisi yaddembe okukola kyonna ekitangira obumenyi bw’amateeka ssinga eba efunye okwekengera ku kifo kyonna wadde amaka ge. “Mbuuza, mu Uganda tulina emizikiti emeka? Naye lwaki yasazeewo kulumba muzikiti gw’e Nakasero?

Nsuubira poliisi eteebereza nti omuzikiti guno we wali ensibuko y’obuzibu bw’okuttibwa kwa Bamasheikh abazze battibwa mu ggwanga” Ndawula bwe yabuuzizza n’aggumiza. Yasambazze olugambo nti yalwadde olwa dduwa gye baamusabidde n’agamba nti mu Uganda si ye mulwadde yekka era abasawo baamukebedde ne bazuula ekimuluma ne bamuwa eddagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...

Salvado ne Daphine nga bakung'aanya ebirabo.

Kazannyirizi Salvado ne Dap...

Kazannyirizi Salvado akiggadde mu sitayiro. Akubye kabiite we Daphine embaga ne yewaana. '' sikyali mu kiraasi...