TOP

Mukomye enkola ey'okuyiwa omusaayi-Paapa

Added 3rd January 2017

Mukomye enkola ey'okuyiwa omusaayi-Paapa

 Msgr. Kasibante, Kalidinaali Wamala, Ssaabasumba Michael August Blume, Ssabasumba Lwanga ne Dr. Saturninus Mulindwa (ku ddyo) nga basala keeki.

Msgr. Kasibante, Kalidinaali Wamala, Ssaabasumba Michael August Blume, Ssabasumba Lwanga ne Dr. Saturninus Mulindwa (ku ddyo) nga basala keeki.

Omutukuvu Paapa Francis asabye Bannayuganda n’abantu bonna mu nsi okukomya enkola ey’okuyiwa omusaayi, n’okuyombagana, bwe baba bafunye obutategeeragana.

Yasabye abakulembeze b’eddiini, ne bannabyabufuzi bulijjo okunoonya emirembe nga bayita mu kuteesa. “Enkola ey’okulwana n’okuyiwa omusaayi emirundi gyonna tesobodde kuleeta mirembe. Okuyiwa omusaayi kuvaamu kuyiwa musaayi, oba emirembe egitatuukiridde.

Bulijjo tusaanye tweyambise enkola ey’okuteeseganya, okusobola okufuna emirembe,” Okubuulirira kuno Paapa Francis yakutadde mu bubaka bwe obw’olunaku lw’ensi yonna olw’emirembe (World Day of Peace) obwamusomeddwa omubaka we mu Uganda, Ssaabasumba Michael August Blume, mu Mmisa gye yayimbidde mu Lutikko e Lubaga ku Lusooka omwaka (Ssande, January 1).

Ssaabasumba Blume yennyamidde olw’ebikolwa eby’obukyayi, n’obusambattuko, ebibaddewo omwaka oguwedde, ebyatuuka n’okulabikira mu Klezia w’Omukama, Abakristu n’Abasosodooti abamu bwe baasiiwuuka empisa ne batuuka n’okujeemera abasumba baabwe, n’okwonoona ebintu bya Klezia.

Yennyamidde olw’abantu abaasiwuuka empisa ne bakuba, n’okutta be bateebereza okubeera ababbi. Yagambye nti obusungu tebumalaawo kibi, n’asaba Abakristu okwahhanga ekibi nga beeyambisa obugumiikiriza, okwagala, essaala, obusaasizi, n’okusonyiwa ababanyiizizza.

Ssabasumba Blume yasabye Abakristu okunoonya emirembe nga batandikira mu maka gaabwe. Yasabye n’abantu okufa ku bannaabwe abatali mu mbeera nnungi, n’ababonaabona omuli abaavu, abalwadde, abanaku, abasibe, n’ababundabunda.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga yasabye abazadde okukukuuma abaana baabwe baleme kwonoonebwa obubaka obubi ne pulogulaamu embi ze balaba mu mikutu gy’empuliziganya omuli yintaneeti, ttivvi ne n’ebirala.

Yategeezezza nti essaaza ekkulu erya Kampala nalyo ligenda kuteekawo ekimeeza kya whatsapp, okusobola okuwuliziganya obulungi n’Abakristu, ate n’okubayamba okumanya obulungi eddiini yaabwe.

Mmisa yeetabiddwaamu ne Kalidiinaali Emmanuel Wamala, Viika General, Msgr. Charles Kasibante, Bwanamukulu wa lutikko y’e Lubaga Fr. Joseph Mary Bbuye, n’Abasosodooti abalala. Eyali Ssenkaggale wa DP, Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere, omumyuka wa Gavana wa Bbanka ya Uganda Dr. Louis Kasekende ne Prof. Vanencius Baryamureeba baabaddeyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?

Kakooza ng’alaga bwe yabuuse ekikomera.

Poliisi eyogezza eyakwatidd...

POLIISI eyogezza omusajja eyakwatiddwa ku by'okumenya n'okubba amaka we bazaala omugenzi Ssaabasumba Cyprian Kizito...