TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sheikh Mwanje avunaaniddwa ogw'okutemula bba wa Maama Fiina

Sheikh Mwanje avunaaniddwa ogw'okutemula bba wa Maama Fiina

Added 6th January 2017

AMIR Umah w'Abatabuliiki ku muzikiti e Nakasero, Sheikh Yahaya Mwanje avunaaniddwa omusango gw'okutta Maj. Muhammad Kiggudu, eyali bba wa Maama Fiina era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.

 Sheikh Yahaya Mwanje

Sheikh Yahaya Mwanje

AMIR Umah w'Abatabuliiki ku muzikiti e Nakasero, Sheikh Yahaya Mwanje avunaaniddwa omusango gw'okutta Maj. Muhammad Kiggudu, eyali bba wa Maama Fiina era n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.

Mwanje avunaaniddwa n'abavuzi ba pikipiki eza bodaboda 2 okubadde Buyondo Muhammad avugira e Nsangi, Abduwahab Ssendegeya avugira e Kyengera ne Muhammad Ssekandi omusuubuzi  e Masanafu Kiggudu gye yattibwa.

Bagguddwaako emisango ebiri egy'okutta Kiggundu n’eyali omukuumi we, Sgt. Steven Mukasa.

Bombi bagaaniddwa okukkiriza oba okugaana emisango saako n'okusaba okweyimirirwa omulamuzi Jamson Karemani owa kkooti ya Buganda Road, n’abagamba nti kino bajja kukikolera mu kkooti Enkulu fayiro yaabwe bw’eriba eyitiddwa.

Emisango egibasomeddwa kigambibwa nti baagizza nga November 26, 2016 bwe baateega Maj. Kiggundu ku tawuni e Masanafu ng'agenda ku Leediyo emu okwogerera mu pulogulaamu ne bamusindirira amasasi n'omukuumi we Mukasa bombi ne bafiirawo.

Mu kkooti, looya waabwe, Fred Muwema asabye omulamuzi ayite akulira poliisi y’e Nalufenya, Senior Commissioner of Police Wilson Omodingi annyonnyole lwaki Mwanje ne banne babadde bakuumibwa ku poliisi okumala emyezi 2 nga tebaleetebwa mu kkooti ate ng’amateeka galagira omuntu okutwalibwa ku kkooti okuvunaanibwa mu saawa 24.

Muwema agambye nti Omoding akoze ku bavunaanibwa ebikolobero bingi omuli n'okubatulugunya nga kkooti esaana emuyite abitebye!

Kyokka omulamuzi Karemani agambye nti kino ajja kukisalawo nga January 20, Mwanje ne banne lwe banaakomezebwawo.

Mwanje ye yadda mu bigere bya Sheikh Muhammad Yunus Kamoga ali ku misango gy'okutta Abasiraamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...