TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssabalabirizi Nkoyooyo e Bungereza; Ensimbi ezimujjanjaba zikyabuze

Ssabalabirizi Nkoyooyo e Bungereza; Ensimbi ezimujjanjaba zikyabuze

Added 11th January 2017

Ssabalabirizi eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo yetaaga emitwalo gya Pound mukaaga (obukadde 270 ) okujjanjabwa e Bungereza.

Josephine Nkoyoyo, Ruth Nkoyooyo (muky. Bishop) Ssabalabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo, Rtd Rev, Dan Kajumba. Abayimiridde; Isaac Nkoyooyo (mutabani we), omukungu wa Kabaka e Bungereza ne Rtd Rev. Nathan Ntege e London.

Josephine Nkoyoyo, Ruth Nkoyooyo (muky. Bishop) Ssabalabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo, Rtd Rev, Dan Kajumba. Abayimiridde; Isaac Nkoyooyo (mutabani we), omukungu wa Kabaka e Bungereza ne Rtd Rev. Nathan Ntege e London.

Bya Catherine Lutwama

Ssabalabirizi eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo yetaaga emitwalo gya Pound mukaaga (obukadde 270 ) okujjanjabwa e Bungereza.

Bishop Nkoyoyo ajjanjabirwa mu St. Mary's Hospital, Paddington mu Central London e Bungereza.  

Ensonda mu famire zitegeezezza nti Ssabalabirizi Nkoyooyo asuubirwa okuzzibwayo mu ddwaliro leero abasawo basalewo oba wa kulongoosebwa oba tekyetaagisa.

"Ssente abasawo ze baatusalira zituyinze tetuzirina naffe kwe kugezaako okukwatagana ne Banayuganda bannaffe abali wano e Bungereza okulaba nga tusondera Ssabalabirizi ssente ezeetaagisa, asobole okufuna obujjanjabi.

Obubaka obukunga Bannayuganda okusondera ku Bishop ensimbi ez'okumujjanjaba.

 

Tukunze Bannayuganda bannaffe bonna abali wano e Bungereza okutukwatirako era tubadde tusaba ne Bannayuganda abali e Uganda okutukwatiraka Mzeeyi alongoosebwe mu bwangu." Ow'oluganda lwa Ssabalabirizi bwe yategeezezza.  

Ssabalabirizi Nkoyooyo aludde ng'atawanyizibwa ekizimba mu bulago era nga yatwalibwako e Bungereza omwaka oguwedde okujjanjabibwa.  

Aba famire bataddewo n'enkola ya GoFundme mwe banoonyeza ssente ku ndagiriro eno; https://www.gofundme.com/archbishops-medical-fund

Obubaka obwawerezeddwa Bannayuganda Abakulisitaayo e Manchester.

 


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...