TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ababba mmotoka gye bakozesaamu abapoliisi abamu

Engeri ababba mmotoka gye bakozesaamu abapoliisi abamu

Added 12th January 2017

OMUSUUBUZI wa mmotoka yeekubidde enduulu eri omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kiyuhura olwa poliisi y’e Kiruhura eyakutte mmotoka ze n’eziddiza omujaasi wa UPDF gw’alumiriza okuzimubbako mu lukujjukujju.

 Emmotoka za Sseruwagi ( mu katono) nga ziri ku poliisi e Kiruhura.

Emmotoka za Sseruwagi ( mu katono) nga ziri ku poliisi e Kiruhura.

Bya HERBERT MUSOKE

OMUSUUBUZI wa mmotoka yeekubidde enduulu eri omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kiyuhura olwa poliisi y’e Kiruhura eyakutte mmotoka ze n’eziddiza omujaasi wa UPDF gw’alumiriza okuzimubbako mu lukujjukujju.

Fazil Sseruwagi, omutuuze w’e Zzana era dayirekita wa Fazil Enterprises mw’agulira n’okutunda mmotoka, alumiriza omuserikale wa UPDF George Muserebende nti yamubbako mmotoka ze.

Wabula Muserebende agamba nti Sseruwagi ye yamupangisa mmotoka zino azikozese mu mirimu gy’amagye, nti yali azimuguzizza ate oluvannyuma ne yeekyusa.

Sseruwangi agamba nti w’atuuse ali ku kisenge, nga takyalina gy’asobola kwekubira nduulu kuba yagenda mu kkooti ne ofiisi endala ezikwasisa abaserikale empisa ne birema.

ENGERI GYE BAAMUBBAKO MMOTOKA

“Mu January wa 2016, Muserebende yajja we ntundira mmotoka n’antegeeza nti yeetaaga mmotoka z’okukozesa mu kampeyini za Pulezidenti Museveni nti era ssente zigenda kuva mu maka g’Obwapulezidenti.

Twakkiriziganya ku mmotoka bbiri ekika kya Spacio okuli nnamba UAW 150P ku bukadde 27 n’ansasulako obukadde butaano ng’abanjibwa obukadde 22 ne UAX 824A ku bukadde 21 n’asasulako obukadde mukaaga.

Yantegeeza nti ssente ezisigaddeyo yali waakuzimpa oluvannyuma lw’okulonda nga State House emusasudde.

Kyokka okuva olwo Muserebende yabula, n’essimu tazikwata.

Mu June wa 2016 nasalawo okuggulawo omusango gw’obubbi ku poliisi ya CPS mu Kampala ku fayiro nnamba SD REF: 39/02/06/2016 era ne poliisi n’etandika okumunoonya.

Mu October, mmotoka zino zaasangibwa e Kiruhura, Muserebende ne tumukwata nga tuli wamu n’abaserikale okuva ku poliisi y’e Nkunga nga n’emmotoka azirina.

Akulira poliisi y’e Nkunga, yatusindika ku poliisi enkulu eya disitulikiti y’e Kiruhura kyokka bwe twatuukayo agitwala yatandika okutubuzaabuza n’okutusaba ebintu ebitaggwaayo ng’alinga alina ekigendererwa ky’okunnemesa.

Namutwalira kkaadi n’okusasulira abaserikale be ne bajja mu URA okunoonyereza ku kkaadi za mmotoka zino nabo ne bakakasa nti nze nnyini mmotoka.

Kyokka wadde bino byonna byakakasibwa DPC yasigala akalambidde nti mmotoka zirina kusigala ku poliisi ye okutuuka omusango lwe gulimala okuwulirizibwa n’okusalibwa.

Bwe nnalaba guli bwe guti, naddukira mu kkooti era omulamuzi Moses Baligeya Bufumbiro owa kkooti ya Mengo yawa ensala ye nga November, 30,2016 n’alagira mmotoka zange okuzinziriza kyokka era DPC yazigaanira.

Omukungu mu poliisi, D/SSP Mutungi Charles nga 1/12/2016 yawandiikira atwala poliisi mu bitundu bya Rwizi (Mbarara) okulaba nga DPC anziriza mmotoka zino kyokka era yagaana.

Bwe naddayo yantegeeza nti ye aliwo kukuuma bantu b’e Kiruhura era mmotoka n’azikwata n’aziddiza Muserebende!

Nsaba abakungu bonna abakwatibwako okunnyamba kubanga nze ndi musajja wa bizinensi ng’okutwala mmotoka zange ez’obukadde obusoba mu 40 ku ssente ezitamala kusasula wadde omusolo gwazo nga ziyingira kibeera kya kunfiiriza.

Abasuubuzi bangi ababbibwako mmotoka mu ngeri eno ng’omuntu ajja n’akulaga nti waabuvunaanyizibwa n’omwesiga kyokka olumala ng’abula n’okukwefuulira.

POLIISI KY’EGAMBA

DPC w’e Kiruhura bwe twamufunye ku ssimu yatukwasizza akulira okunoonyereza ku musango ate naye n’atujuliza omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwizi Idd Ibin Ssenkumbi.

Ssenkumbi yagambye nti mmotoka zino zaakwatibwa poliisi y’e Kiruhura kyokka nga waliwo abantu abaatwala omusango mu kkooti ku musajja eyazibaguza olw’okubaguza mmotoka ate n’atabawa kkaadi zaazo.

Ssenkumbi agamba nti eno erabika y’ensonga lwaki mmotoka zino zaali zikuumirwa ku poliisi kubanga nabo baali basasudde mu ngeri y’e ttaka, ente, amayumba gaabwe n’ebirala nga nabo baagala okuliyirirwa.

“Nga tukyagoba omusango gw’abantu b’e Kiruhura abaali bavunaana omusajja okubaguza mmotoka ez’empewo, ate ne Sseruwagi we yajjira ng’agamba nti mmotoka zino zaali zize kyokka nga mu kiseera ekyo kyali kizibu okuzita”, Ssenkumbi bw’agamba.

Ono agamba nti mu kiseera kino banoonya omusajja eyaguza abantu bano mmotoka ez’empewo okulaba nga wabeerawo obwenkanya n’okubayamba okuliyirirwa.

MUSEREBENDE YEEWOZEZZAAKO

Muserembende yakkirizza nti ddala alina mmotoka za Sseruwagi era nga kkooti yazimuddizza oluvannyuma lw’okumaliriza emisango gy’abaali baziguze wabula yeekokkola enneeyisa ya Sseruwagi gy’agamba nti emufiirizza ssente n’okwonoona erinnya lye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...