TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekitongole ekiramuzi kiwagidde Kadaga ku kiragiro kya Kavuma

Ekitongole ekiramuzi kiwagidde Kadaga ku kiragiro kya Kavuma

Added 13th January 2017

EKITONGOLE ekiramuzi kitegeezezza nti engeri yokka ekiragiro ky’Omulamuzi Steven Kavuma gye kisobola okusazibwamu, ye Ssaabawolereza wa Gavumenti okussaayo okujulira mu kkooti.

Bya Ahmed Mukiibi

EKITONGOLE ekiramuzi kitegeezezza nti engeri yokka ekiragiro ky’Omulamuzi Steven Kavuma gye kisobola okusazibwamu, ye Ssaabawolereza wa Gavumenti okussaayo okujulira mu kkooti.

Omuwandiisi omukulu ow’ekitongole ekiramuzi, Paul Gadenya yawabudde nti, okuva Omulamuzi Kavuma lwe yafulumizza ekiragiro ng’ali yekka, kati Ssaabawolereza wa Gavumenti alina okujulira eri abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu okuggyawo ekiragiro kya Kavuma.

Bino biddiridde Sipiika wa Palamenti okulagira Ssaabawolereza wa Gavumenti okugenda mu kkooti esazeemu ekiragiro ky’Omulamuzi kye yayisizza ku Mmande akawungeezi ng’agaana Palamenti okwogera ku buwumbi omukaaga abakungu ba Gavumenti 42 ze beegabanya.

Kadaga yagambye nti Palamenti tegenda kuddamu kutuula kuteesa ku nsonga yonna okuggyako ng’ekiragiro kya Kavuma, Kadaga kye yayise ekiragiro 'eky’ekisiru' kisaziddwaamu.

Gidenya yasiimye Palamenti olw’engeri gye yakuttemu ensonga naddala ku ky’okuyita mu kkubo ery’okusaba Ssaabawolereza wa Gavumenti okugenda mu kkooti eggyewo ekiragiro n’agamba nti singa Ssaabawolereza anaaba tamatidde na nsalawo ey’abalamuzi ba kkooti ejulirwamu, asobole okweyongera mu kkooti ey’oku Ntikko.

Ekibiina omwegattira bannamateeka mu Uganda ekya Uganda Law Society kivumiridde Omulamuzi Kavuma olw’okuyisa ekiragiro kye baagambye nti kigendereddwaamu okulemesa Palamenti okukola emirimu gyayo.

Pulezidenti wa ULC Francis Gimara, mu kiwandiiko kye yafulumizza yagambye beeteefuteefu okwegatta ku musango ogw’okusaba kkooti okusazzaamu ekiragiro kya Kavuma.

Ate bannamateeka Alex Chandia n’omusajja Eric Sabiiti eyaddukidde mu kkooti okusaba Omulamuzi Kavuma okuyisa ekiragiro yagenze mu Palamenti ne yeetonda olw’embeera eyaguddewo mu ggwanga oluvannyuma lw’ekiragiro kya Kavuma.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...