TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sitetimenti Kirya gye yaleka akoze etadde Kamoga mu kattu

Sitetimenti Kirya gye yaleka akoze etadde Kamoga mu kattu

Added 13th January 2017

Agambye nti Kirya yafuna n’obubaka ku ssimu nnamba 0782344324 nga bumutiisa okumutta ensonga n'azibuulirako Sheikh Najib Ssonko eyamuwa amagezi okugenda ku poliisi n'akola sitetimenti kyokka wayita ebbanga ttono naye ne bamukuba amasasi bwe yali agula ebintu e Bweyogerere.

 Kamoga (ku ddyo) nga bamuzza e Luzira ne banne.

Kamoga (ku ddyo) nga bamuzza e Luzira ne banne.

Bya ALICE NAMUTEBI

KKOOTI ekkirizza sitetimenti y’omugenzi Sheikh Hassan Kirya gye yakola ng’alumiriza Sheikh Yunus Kamoga okumutiisatiisa okumutta okukozesebwa ng'obujulizi obugenda okumulumika nti ye yali emabega w’ettemu ly’Abasiraamu.

Sitetimenti ya Kirya gye yakolera ku poliisi y'e Kireka nga January 12, 2015, ereeteddwa omupoliisi Mark Paul Odongo ng’eno yagikola oluvannyuma lwa Sheikh munne Mustapha Bahiga okukubibwa amasasi e Bwebajja agaamutta.

Okusinziira ku sitetimenti Kirya gye yaleka, agamba obuzibu bwe yalina ne Kamoga bwava ku kulwanirira bukulembeze bwa Butabbuliiki nga Kamoga tayagala kumuggyako.

Odongo agambye nti, Kirya yamutegeeza nti, Kamoga okumutiisa okumutta obubaka yabuyisanga mu Sheikh Ramathan Mwanje (avunaanibwa okutta Sheikh Muhammad Kiggundu eyali bba wa Maama Fiina), Siraje Kawooya, Hamid Mbaziira ne muganda we Mutta Bukenya.

Annyonnyodde nti Kirya era yamutegeeza Kamoga yamugamba nti embwa ze (abavubuka) balinze bulinzi biragiro kuva eri ye bamulumbe era essaawa yonna omuyaga gwa Sunami gugenda kumugwira ng'ekibwatukira.

Agambye nti Kirya yafuna n’obubaka ku ssimu nnamba 0782344324 nga bumutiisa okumutta ensonga n'azibuulirako Sheikh Najib Ssonko eyamuwa amagezi okugenda ku poliisi n'akola sitetimenti kyokka wayita ebbanga ttono naye ne bamukuba amasasi bwe yali agula ebintu e Bweyogerere.

Wabula waabaddewo okusika omuguwa ku sitetimenti eno nga looya MacDusman Kabega agezaako okugiremesa okukozesebwa ng’obujulizi obulumika Kamoga mu ttemu lino.

Kabega yategeezezza abalamuzi Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kiggundu nti engeri Kirya gyataliwo kunnyonnyola bye yayogera, sitetimenti ye tesobola kukozesebwa ng’obujulizi wabula abalamuzi ne bagaana okukkaanya naye ne bakkiriza ekozesebwe ng’obujulizi.

Eyali akulira Abatabbuliiki mu Uganda, Sheikh Yunus Kamoga ne banne 13 be bawerennemba n’omusango gw’okutta abasiramu mu Uganda nga kigambibwa nti kuno bagattako n’okutiisa omulangira Kassim Nakibinge okumutta yadde nga bakyegaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...