TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obadde okimanyi nti Flavia Namulindwa akola emirimu etaano ? Tugikuleetedde

Obadde okimanyi nti Flavia Namulindwa akola emirimu etaano ? Tugikuleetedde

Added 13th January 2017

Obadde okimanyi nti Flavia Namulindwa akola emirimu etaano ? Tugikuleetedde

 Namulindwa Flavia ng'ali mu nkoko ze

Namulindwa Flavia ng'ali mu nkoko ze

ABANTU abasinga bamulaba ng’omudongo olw’okukola mu bayimbi n’ebidongo kyokka bw’otunula mu pulogulaamu ye lw’okakasa nti by’akola bya buvunaanyizibwa.

Alina obumanyirivu mu mirimu etaano gy’akola n’agituukiriza omulundi gumu kyokka ng’esatu agirinamu ebbaluwa z’obuyigirize. Akeera mu nkoko z’alunda ku makya gy’ava n’agenda mu nnimiro nga tannagenda ku ssomero kusomesa.

Eno gy’ava n’agenda azannya katemba n’okukola pulogulaamu ku Bukedde TV. Ayogerera emikolo oba kiyite okukola obwa MC. Abeera ng’abimaze ate n’omusanga ng’atendeka amazina mu kibiina kye ekya Dance and Beats Cultural Troupe kyokka ng’alina okusigazaawo obudde bw’awaka kubanga alina amaka n’abaana wadde ng’omwami tabeera naye.

 

Nga wamulabye ng’anyeenya ekiwato tolemwa kukkiriza nti ddala Mukama yakwasa ebiri n’amuwa. Akola bino ye w’Engabi, Mary Flavia Namulindwa era olw’okubeera omupambanyi n’enkola ya kyakulassajja, baamukazaako lya Jjajja Mwami sso si lya Jjajja mukyala.

Agamba nti erya Jjajja Mwami lyamuweebwa Patrick Ssembuusi bwe yali azannya mu kibiina kya Alina Talents ng’agamba nti enkola ye eringa ya kisajja. Agamba nti eno Ssekukkulu yalidde ya 27.

Ku bino agattirako okukuba obulango bwa leediyo, obwa ttivvi n’obw’oku bipande. Ye yakola n’akalango ka Kwata Cash ak’olupapula lwa Bukedde ng’olupapula luno luddiza abasomi baalwo obukadde 50 bwe lwali luweza emyaka 22 gye buvuddeko.

Ku ky’okugatta emirimu egyo gyonna n’agikola n’agituukiriza yagambye nti: ‘Nkola n’okwagala era sikakibwa. Neekubiriza era nteekamu okuyiiya kungi okunyumisa bye nkola bwe biba bya bantu kundaba ku ttivvi oba ku mikolo ne bwemba nsomesa.

Ebirala ng’okulima kiva mu kwekubiriza n’obutayagala kwonoona budde.’’

 

OKUKOLA KU TTIVVI

Namulindwa akola ku Bukedde TV1 ku pulogulaamu y’Oluyimba lwo okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano ku ssaawa 7.00 ez’omu ttuntu okutuuka ku 8.00.

Bw’ava awo n’akola eya Ful Doz buli Lwakutaano ekiro ku ssaawa 5.00 nga muno mw’akyaliza abayimbi, bannakatemba ne bassereebu n’ababuuza ebibakwatako n’ebibuuzo ebirala okugezesa obwongo bwabwe.

NAMULINDWA OMUSOMESA

Obusomesa yabukugukira mu Kabulasoke PTC e Gomba gye yafunira satifi keti mu byenjigiriza ebya pulayimale mu July wa 2008.

Yasomesaako mu Lubiri Nabagereka Primary School mu 2009 n’asomesaako mu Dr. Archbishop Kiwanuka Memorial Primary e Nakirebe mu 2008 n’adda mu Nkozi Demonstration primary.

Wabula agamba nti, eby’okusomesa yabiwummuzaamu ng’amala obudde bungi mu kibiina ng’ate abaana abamu beetaaga okuwa obudde obuwera.

Okwo bwe yassaako emirimuemingi gye yali atandise okufuna mu budde bwe bumu ng’atandise okusoma ebyamawulire ku Buganda Royal n’atabeera na kya kukola n’akuwummuzaamu.

 

OBULIMI N’OBULUNZI Alina ennimiro era asinga kulima kasooli, ebinyeebwa, amatooke mu kyalo ewaabwe e Kasaka mu Gomba ku ttaka lye erya yiika ttaano lye yeegulira nga ky’ekimu ku by’obugagga by’alina.

Alunda n’enkoko, embaata kw’assa n’embizzi e Masanafu mu munisipaali y’e Lubaga mu Kampala nga bino abitunda n’ayongera ku nfuna ye. KATEMBA Yamutandikira mu Alina Talents mwe yazannyiranga nga Jjajja mwami.

Kyokka kati agamba nti bamupangisa bupangisa okuzannya emizannyo omuli ‘Kama mbaya ni mbaya’ ekitegeeza ekijja kijje ogwali gukwata ku kisaddaaka baana nga gwategekebwa John Ssegawa.

Yazannyako n’aba Zubair Family, Bakayimbira Dramactors n’awalala. OBULANGO Obumu ku bulango bw’azze akuba mulimu obulanga langi, obw’amakampuni g’amasimu, obwa kondomu n’obulala.

OBWA MC Ye yabadde omu ku ba MC abakulu ku konsati ya Sheebah Karungi ku Afrikana gye buvuddeko ne ku Freedom City. Ekimu ku bikyasinze okumulaga nga MC ow’amaanyi ky’ekivvulu kya Club Megafest ekyali e Namboole mu 2014 lwe yagwa ekigwo ku siteegi ng’amaze okulanga omuyimbi addako n’abeera ku mimwa gy’abantu abaali mu kivvulu ekyo.

EBYAMAWULIRE Namulindwa yasomera ne ku Buganda Royal Institute e Mengo gye yafunira dipulooma mu by’amawulire mu 2012. Agenda okutikkirwa ng’ali ku Bukedde mu lupapula mwe yagasakiranga mwe yava n’agenda akola olugambo ku Bukedde TV1 bye yavaako ate n’atandika Oluyimba lwo ne Ful doz.

EBIKWATA KU BBA Bw’obuuza Namulindwa ekya bba akuddamu nti: “Tombuuza bya mwami, mbuuza taata w’abaana olwo n’akuddamu nti ye, Charles Godfrey Kanyike akolera e Bungereza.

Mbeera Masanafu n’omwana wange, Lebron Lenox Lewis Charles Kanyike Jr. owa Kanyike. Tombuuza bya musajja taliiwo kuba twasoowaganamu.’’ By’afunye mu by’akola; Agamba nti asinze kufuna buvumu bw’okwogerera mu bantu abangi nga yasinga kubuggya mu kusomesa.

Obuvumu bumuwadde amaanyi okukola obwa MC ne ku ttivvOkusoomoozebwa Agamba nti waliwo abamulowooleza ky’atali. Agamba nti waliwo ne lw’alinnya bodaboda naye buli amulaba n’amulowooleza nti yandibadde mu mmotoka nsajja.

Alina emmotoka era azikyusakyusa. Waliwo n’abamulaba ku ttivvi ne batandika okumutetenkanyiza naddala by’ayambala. Engule z’awangudde;

Rtv eya 2015 ng’eyasinga okuweereza ku ttivvi.

Eyasinga okusanyusa abalabi eya Best entertainment TV presenter mu ngule za Uganda entertainment awards eza 2016. Ebikyasinze okumunyiga Lwe yafi irwa omwana we ne lwe yafi irwa nnyina, Florence Nabakooza.

Bw’ofuna ebizibu okola otya?

Nkaaba bukaabi. Ekikyasinze okumusanyusa Lwe yafuna olubuto olwo        

Ebimu ku bikwata ku Namulindwa      

Namulindwa yazaalibwa 1989 mu ddwaliro e Mitala Maria. Ebiseera ebyo bazadde be baali babeera Buwama kyokka e Kanoni mu Ggomba baagendayo nga ba Namulindwa bakulu nga kitaawe, Moses Kubulamwana Matovu azimbyeyo amaka kyokka oluvannyuma nnyina yafa.

Pulayimale yagisomera mu masomero munaana omuli;

St. John Bosco Katende Primary, St. Bernadette Nkozi Demonstration school, Aidha and Topher primary e Kanoni, Kanoni C/U n’amalala ge yagambye nti n’okugajjukira tagajjukira.

Agamba nti ekyagamugyangamu kyavanga ku kwagala ennyo kitaawe kwe yamulinako nga bwe bamukubako ku ssomero n’amuloopera ng’anyiiga n’amugyayo n’amutwala mu ssomero eddala.

Aga siniya kuliko, Kasaka SS, St. Mary’s Nkozi gye yamalira S4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...