TOP

Mbega adduse mu musango gwa Kanyamunyu

Added 18th January 2017

Mbega adduse mu musango gwa Kanyamunyu

 Kanyamunyu

Kanyamunyu

Mbega abadde anoonyereza ku musango gwa Kanyamunyu aguvuddeko ng’agamba nti akooye okutiisibwatiisibwa.

Fayiro y’omusango Matthew Kanyamunyu ne muganzi we Cynthia Munwangari ssaako mukulu we Joseph Kanyamunyu, ekyusizza emikono omulundi ogwokubiri.

Kino kiddiridde mbega wa poliisi abadde anoonyereza ku musango guno okutegeeza bakama be nti aba famire ya Kanyamunyu bamutiisatiisa era bamulemesezza okumaliriza omusango kwe kugikwasa Patrick Alunyo mbega okuva ku poliisi ya jinja Road.

Fayiro eno, erudde ng’eri mu mikono gy’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano Johnson Oral ng’abadde atera n’agiweereza ku Jinja Road ne bagyongerako obujulizi ne bamala ne bagimuddiza wabula ku mulundi guno bwe yagibaddizza, yalagidde eweebwe Alunyo.

Ensonda ku poliisi ya Jinja Road zaategeezezza nti, Alunyo yatandikiddewo omulimu gw’oku fundikira omusango abasibe basobole okusindikibwa mu Kkooti Enkulu omusango gutandike okuwulirwa.

“Bakanyamunyu be basibye omusango ng’ekibula ku fayiro kitono ate bwe tunaaba tetunnakifuna, tetujja kuwaayo fayiro. Bajja kumala n’emyaka ebiri nga bajja bwe babazzaayo ku limanda ng’omusango tegunnaatandika kuwulirwa.” ensonda bwe zaategeezezza.

Yagasseeko nti, baagenda e Luzira mu kkomera okufuna omusaayi ku basibe ne balemesebwa ng’ate balina okugeraageranya endagabutonde ze baasanga mu mmotoka ne mu kifo awaddizibwa omusango okuzuula oba zikwatagana.

Okusinziira ku biri mu fayiro, abasawo mukaaga okuva mu malwaliro asatu Kanyamunyu gye yatwala Akena, baakoze sitetimenti era beetegefu okuwa obujulizi mu kkooti.

Ku basawo bano, kuliko aba Victoria Hospital, Akena gye yasooka okutwalibwa, Nakasero Hospital ne Norvik Hospital ku Bombo Road gye yafiira. Bwe yabadde ku kkooti, omuwaabi wa Gavumenti ali mu musango guno, Rachael Nabwire yategeezezza omulamuzi Noah Ssajjabbi awulira omusango mu kkooti e Nakawa nti, okunoonyereza tekunnaba kuggwa era bwatyo omulamuzi n’alagira bazzibwe e Luzira okutuusa nga January 31.

Omulamuzi Elizabeth Kabanda owa Kkooti Enkulu eyali awuliriza okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa yabategeeza nti baddembe okuddamu ne basaba mu bbanga lya wiiki emu ssinga baba tebasindikiddwa mu Kkooti Enkulu era bannamateeka baabwe bali mu nteekateeka okuddamu okuwaayo okusaba kwabwe kusobole okutunulwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...