TOP

Baabano ababbi 30 abateegera ku bbanka

Added 20th January 2017

Olukalala poliisi lwe yafulumizza yawaddeko ne bbanka ez'enjawulo nga kuliko ababbi abazze bakwatibwa enfunda ez'enjawulo ne baggalirwa ku poliisi ezitali zimu okwetoolola eggwanga.

BYA JOSEPH MAKUMBI

POLIISI efulumizza olukalala lw'ababbi ab'omutawaana 34 okuli n'abakazi 9 nga bano baagufuula mulimu okuteega abantu abava mu bbanka ne babanyagako ssente.

Poliisi okufulumya olukalala luno, kiddiridde munnansi wa Eritrea, Daniel Weldu Oukba Michael okuwambibwa ne bamubbako ssente ne bamutta omulambo poliisi n'eguzuula e Kenya.

Olukalala poliisi lwe yafulumizza yawaddeko ne bbanka ez'enjawulo nga kuliko ababbi abazze bakwatibwa enfunda ez'enjawulo ne baggalirwa ku poliisi ezitali zimu okwetoolola eggwanga.

 

Bano, abamu baferera mu doola, abalala beefuula abakozi ba bbanka n'abalala bateegera munda mu bbanka nga beefudde bakasitoma.

Ku lukalala lw'abantu 34 kuliko; Innocent Kwesiga, Immaculate Atwikirize, Tonny Muyingo eyeeyita Katoole Magezi Miiro, Hassan Mulamuline Kenneth Ahimbisibwe ne John Bosco Mukasa oluusi eyeeyita Isma Anakulya abalina emisango ku CPS mu Kampala gattako Ali Lugemwa, Rose Bukirwa ne Yasin Kayombe abaferera mu doola balina emisango ku poliisi y'e Kisubi.

Abalala ye Prossy Namwanje emisango gye giri Ishaka ne Pallisa, Jane Kabbanyoro naye giri Pallisa, Nandudu poliisi y'e Jinja emunoonya, Douglous Nsubuga olumu yeeyita Doogo emisango gye giri ku poliisi y'e Iganga, Esther Muleefu giri ku poliisi y'e Tororo.

Abalala nga Martin Woniala omusango guli ku poliisi y'e Mbale, Martin Kityo ku poliisi y'e Hoima, Hakim Kyobe giri ku poliisi y'e Bwera, Will Lukwago olumu yeeyita Jap emisango giri ku poliisi y'e Ishaka, Tom Mirembe olumu yeeyita Muko Tom giri ku poliisi y'e Ibanda, Sam Mugerwa emisango giri Jinja, Nicholas Kemigisha ku poliisi y'e Mbale.

Jennifer Namusoke olumu yeeyita Allen, Ssegawa Mbagatuzinde, Charles Mutyabule, Mathais Sserubombwe, Hassan Kiiza yeeyita Alex Swalleh ne Ibrahim Kiti abbira e Masaka ne Fort Portal.

 

ABA BBANKA BASITUKIDDEMU

Dayirekita w'ekibiina ekigatta aba bbanka mu ggwanga ekya Uganda Bankers' Association, Wilbrod Humphreys Owor yategeezezza nti, engeri okulwanyisa obumenyi bw'amateeka gye gutali mulimu gwa muntu omu, bbanka zonna zikolagana ne poliisi okulwanyisa ababbira mu bbanka.

Yagasseeko nti, okwongera okulwanyisa obulabbayi mu bbanka, ekibiina ekigatta aba bbanka mu ggwanga kyateekawo akakiiko akakola ku nsonga eyo akatuula buli oluvannyuma lw'ekiseera okukubaganya ebirowoozo ku ngeri gye bayinza okwongera okufufuggaza ababbira mu bbanka.

"Akakiiko kano kakolaganira n'ebitongole by'ebyokwerinda ebitali bimu okulwanyisa ebikolwa by'okubba bakasitoma", Owor bwe yategeezezza mu kiwandiiko Bukedde kye yalabyeko.

POLIISI ERABUDDE

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano yagambye nti balina ebiti by'ababbi bya mirundi ena ababbira mu bbanka.

Waliwo abateega abantu ku bibanda bya ssente, waliwo abaswamira munda mu bbanka, waliwo abeefuula abavungisa doola n'abalala abanyakula ensawo ku bantu abava mu bbanka.

Yagambye nti, emirundi mingi bafuna abantu abeemulugunya ku babbi bano era fayiro nnyingi ezigguddwaawo y'ensonga lwaki baasalawo okukwatagana ne bbanka okutimba enkalala z'ababbi bano ababa beataagibwa n'okufulumya ebirango mu mawulire.

"Ebiseera ebisinga kitubeerera kizibu okukwata abantu abo kubanga abasinga basenguka mu maka gye bageera ne bamala ebbanga eddene nga tebazzeeyo mu bbanka mwe baba babbidde", Kayima bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti ababbi bano bakozesa obukodyo bungi okukwata be babbako ssente obujega.

 

"Omuntu ajja ne ssente nnyingi nga tamaze kuzisengeka mu mitendera emituufu n'atuuka w'agenda okuwandiikira n'aziteeka awo azisengeke ng'omubbi ye alaba kubanga beefuula abagenda okutereka ssente ate nga bali simaati.

Bw'aziraba ng'asembera atandika okweyogereza ku muntu ng'amala abulawo ne ssente." Kayima bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, bbanka ziteekawo obusenge abantu mwe balina okubalira ssente ennyingi naye abamu baziggyayo n'adda ebbali n'azibala ng'omubbi alengera n'amanya omuwendo omuntu gw'alina n'alyoka atandika okumulinnya akagere.

Yagambye nti, ne siteegi za bodaboda ku bbanka za bulabe nnyo kubanga be bawa ababbi amawulire ku bantu ababa bafulumye ne ssente ne balinnya mmotoka gy'aba alinnye akagere okutuuka gye bamubbira nga tasobola na kuteebereza nti olukwe lwalukiddwa kuva ku bbanka.

"Tukubiriza abantu bave awaka nga bamaze okusengeka ssente mu mitendera nga bwe zirina okubeera balyoke bayingire bbanka naddala mu biseera bino bye tugendamu eby'okuzza abaana ku masomero." Kayima bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...