TOP

Amagye gazingizza owa Gambia

Added 21st January 2017

Amagye gazingizza owa Gambia

PULEZIDENTI wa Gambia Yahya Jammeh akyesibidde mu maka g’Obwapulezidenti agali mu lubiri lwe olusangibwa mu kibuga Banjul. Yeesibiddeyo n’abajaasi be ab’oku lusegere abakambwe nga bwe balasawo entotto ku kiddako.

Jammeh okwesibira mu Lubiri kiddiridde amagye g’omukago gwa ECOMOG agaduumirwa Gen Sydou Maiga, okwesogga Gambia nga gatandise ebikwekweto.

Ennyonyi ennwaanyi nazo ziri bulindaala nga bwezirawuna obwengula bwa Gambia. Zirinda kiragiro kyokka zitandike okukuba amagye ga Jammeh okumumalamu emputtu aweeyo obuyinza.

Omukago gwa ECOWAS gwayongedde okuteeka akazito ku Jammeh nga Adama Barrow yaakamala okulayira nga Pulezidenti wa Gambia omuggya mu Senegal ku Lwokuna akawungeezi..

Abagwira bonna badduse mu ggwanga ne beesogga ku muliraano mu Senegal, enguudo zonna zaakaze tekuli bantu okuggyako abajaasi ab’eggye erikuuma Pulezidenti Jammeh.

Akulira ECOWAS Marcel de Souza, yategeezezza nti okuvaawo mu mirembe kyabadde kikyasoboka ne bawa Jammeh nsalesale, nga ku ssaawa 6:00 mu ttuntu ku Lwokutaano (eggulo) akkirize afulume eggwanga mu mirembe oba amagye gamukube.

Ku Lwokuna, omuduumizi w’eggye lya ECOMOG, Gen. Seydou Maiga Mboro yagambye nti pulaani ey’olutalo gye baakoze yakuggyako Jammeh mu ssaawa 24 zokka ng’enteekateeka yaabwe yabadde eraga nti emmundu etandika okutokota ku ssaawa mukaaga ez’ekiro ekyakeesezza (eggulo) ku Lwokutaano kyokka n’ategeeza nti bakyayimirizzaamu naye essaawa omukaaga eziweereddwa bwe ziggwaako ng’emmundu etandika okutokota. mpozzi nga wanaabaawo ekikyuseeko.

Yagambye nti pulaani y’olutalo, ekyali nga bwe baagitegese nga ya kusooka kukuba olubiri lwa Pulezidenti Jammeh ekisaawe ky’ennyonyi ekya Banjul International Airport, emyalo ebiri ogwa, Buniadu ne Karenti Bolon ebalemese Jammeh ow’emyaka 51 okudduka mu ggwanga.

Ng’oggyeeko ennyonyi ennwaanyi, Nigeria yayungudde n’emmeeri ennwaanyi luvookwaya eyitibwa NNS Unity ng’eno egumbye mu guyanja Atlantic n’etunuza emidumu gy’emmundu mu Gambia.

Jammeh eyaakamala mu buyinza emyaka 22, yalabiddwako eggulo ng’afulumyeko olubiri lwe yeebunguluddwa bakomando be nga mu mukono ogumu akutte Kulaani n’emmundu mu mukono omulala.

Yagambye nti agenda kulwanirira ensalo za Gambia nga bwe yeeyama mu kirayiro kye yakuba nga Pulezidenti n’alagira abajasi bonna ne bannansi ba Gambia okukwata emmundu n’ekyokulwanyisa kyonna okulwanirira ensi yaabwe. Kaweefube wa Pulezidenti wa Mauritania, Mohamed Ould Abdel Aziz eyagenzeeyo ekipayoppayo ku Lwokusatu ekiro okumumatiza aweeyo obuyinza mu mirembe yagudde butaka.

Wadde Jammeh yakunze abantu okulwana, omuduumizi w’amagye ga Gambia, Gen. Ousman Badjie yavudde mu mukama we n’ategeeza nti amagye ga Gambia si meetegufu kulwana n’amagye ga ECOMOG.

Gambia erina eggye ly’abajaasi nga 1,000 bonna ng’omuduumizi w’amagye Gen. Ousman y’omu ku ba Genero Jammeh kw’abadde asibidde olukoba era nga yamwegattako mu kugaana obuwanguzi bwa Barrow wabula kati amuvuddemu.

ECOMOG yategeseewo abajaasi 800 abatendeke obulungi nga kuliko abajaasi 200 okuva e Nigeria, abajaasi 400 aba Senegal n’abalala nga bavudde mu mawanga ag’omu bugwanjuba bwa Afrika ab’omukago ogwa ECOWAS Gambia y’emu ku nsi ezisingayo obusirikitu mu nsi yonna, ng’ogatta bu Gambia 22 n’ekitundu okufuna Uganda emu.

Eggye lya ECOMOG lisuubira okweyambisa obutono bwa Gambia okwanguyirwa okuggyako Jammeh. Ng’ekiseera ekyamuweereddwa bwe kinaggwaako nga batandikirawo okumukuba.

Adama Barrow 51, yawangula akalulu nga December 1, 2016, kokka ne batamulangira Mu kiseera kino Barrow ali mu Senegal gye yaddukidde nga teyasobodde na kuziika ku mwana we Habibou Barrow ow’emyaka omunaana yafudde ku Mmande

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...