TOP

Yahya Jammeh adduse mu Gambia

Added 22nd January 2017

PULEZIDENTI Yahya Jammeh eyabadde yeeremezza mu buyinza e Gambia bamutaddeko akazito n’apondooka n’asaba ekkubo aw’okuyita agende mu buwanganguse!

 Yahya Jammeh nga bimusobedde

Yahya Jammeh nga bimusobedde

BANJUL

PULEZIDENTI Yahya Jammeh eyabadde yeeremezza mu buyinza e Gambia bamutaddeko akazito n’apondooka n’asaba ekkubo aw’okuyita agende mu buwanganguse!

Jammeh , omusajja ow’embazuulu afuze Gambia n’omukono ogw’ekyuma okumala emyaka 22 wakati mu kukekemya obukoko abamuvuganya wabula amababba gaamuwedde olw’emizinga amagye ga Nigeria, Senegal ne Ghana gye gaamwetooloza mu kibuga Banjul.

Nigeria, Senegal ne Ghana gaayungulidde Jammeh eggye ekkambwe eryatuumiddwa Economic Community of West African States Military Intervention in Gambia (ECOMIG) nga lirimu abajaasi abatendeke obulungi ne bayingira Gambia ku Lwokuna ekiro.

 

Abaserikala ba ECOWAS nga bali ku nsalo ya Gambia ku Lwokutaano.

Jammeh ng’ebitiibwa bye ebijjuvu ye, Sheikh Pulofeesa, Dokita, Alhaji Colonel Yahya Abdul-Aziz Jemus Junkung Jammeh Naasiru Deen yasoose kubiyita bya mannyowenu n’atiisatiisa okukolawo akatiisa okulaga ensi nti Gambia nsi eyeefuga era ye taweebwa biragiro kuva eri muntu yenna okuggyako Katonda.

Olwo lwabadde Lwakuna ku ssaawa ez’omu ttuntu, nsalesale amawanga ag’omukago gwa Economic Community Of West African States (ECOWAS), gwe baamuwadde okuwaayo obuyinza mu mirembe oba si ekyo bamusesebbule.

ECOMOG mwe mwegattira amawanga 15 ag’omu bugwanjubwa bwa Afrika; Benin, Burkina Faso, Cape Verde, Ivory Coast, Gambia, Ghana, Guinea, Guinea Bissau, Liberia, Mali, Niger, Nigeria, Senegal, Sierra Leone ne Togo.

Jammeh yatuuse n’okufuluma State House y’e Gambia nga yeebunguluddwa abajaasi abakambwe ng’enjuki n’awera nga bw’awanise Kulaani waggulu nti “ Nze Sheikh Pulofeesa, Dokita, Alhaji Colonel Yahya Abdul-Aziz Jemus Junkung Jammeh Naasiru Deen sitiisibwatiisibwa”, oluvannyuma n’addayo mu State House.

Wabula we bwakeeredde ku Lwokutaano ng’amagye ga ECOMIG gamaze okwebungulula ekibuga ekikulu Banjul, ekibuga ekisinga obutono mu Afrika nga kirimu abantu 60,000 bokka nga ne ggombolola y’e Nakawa ekikubisaamu emirundi ng’ebiri mu bunene.

 

Amagye ga ECOMIG gaabadde gaduumirwa , Gen. Seydou Maiga Mboro nga gaabadde gakoze Pulaani okulumba ku ssaawa 6.00 ez’omu ttumbi.

Olwo ng’ennyonnyi ennwaanyi eza Nigeria ne Senegal zaabadde ziri mu bwengula bwa Gambia nga zeekaalisa.

Jammeh olwategedde nti amagye geebunguludde Banjul, Jammeh ne yeesibira mu State House, olwo n’atandika okukubira abakulembeze ab’enjawulo ab’amawanga ga West Afrika ng’abasaba amagye galindeko katono basooke bateese.

Kigambibwa nti Jammeh yasoose kukubira ssentebe wa ECOWAS, Pulezidenti Ellen Johnson Sirleaf owa Liberia, wabula essimu n’agaana okugikwata n’addako okukubira Pulezidenti omupya owa Ghana, Nana Addo Dankwa Akufo-Addo wabula yakamutemye nti talina ky’asobola kumuyamba kubanga yakatuuka mu ntebe

ADUUMIRA MAGYE NAYA YAMUVUDDEMU

Olwo, omuduumizi w’amagye ga Gambia, Gen. Ousman Badjie yabadde yaakamala okulangira ng’amagye bwe gakkiriza obukulembeze bwa Pulezidenti omupya eyali nkubakyeyo Adama Barrow, 51, era kino kyannyogozza nnyo Jammeh.

Jammeh amagezi gaamwesibye kwe kukuba essimu esambayo gye yakubidde Pulezidenti wa Mauritania, Mohamed Ould Abdel Aziz n’amusaba okumutaasa era bwatyo n’akkiriza okuddayo mu Gambia omulundi ogw’okubiri kubanga yabadde yakavaayo mu Lwokusatu ekiro.

Pulezidenti Mohamed Ould Abdel Aziz yazambalidde ku mugongo n’agenda kipayoppayo mu Gambia ng’ali ne Pulezidenti wa Guinea Alpha Conde ne beevumba akafubo okukkakkana nga Jammeh akkiriza byonna bye baamugambye n’oluvannyuma bamutemere ekkubo okugenda mu buwanganguse.

Bannansi ba Gambia nga bajaganya oluvannyuma lwa Jammeh okulangirira nga bw’alekedde Barrow.

 

YASOOSE KULANGIRIRA KU TTIVVI

Zaabadde essaawa nga 6.00 ez’omu ttumbi, Jammeh n’agenda ku Ttivvi y’eggwanga n’alangirira nti akkiriza okuwaayo obuyinza mu mirembe.

Yeekangabirizza nti,’’ Nze Sheikh Pulofeesa, Dokita, Alhaji Colonel Yahya Abdul-Aziz Jemus Junkung Jammeh Naasiru Deen siyinza kukkiriza musaayi gwa Banna Gambia okuyiikira obwereere”.

Jammeh abadde akyogera lunye nti ajja kufuga Gambia emyaka gyonna Katonda gye yamutegekera okuwangaala kagibeera emyaka kawumbi.

Yagambye nti agenda kuva mu ggwanga, Barrow eyamuwangudde mu kalulu ka December asobole okufuga.

Kigambibwa nti mu ddiiru ey’okuwaayo obuyinza, Jammeh yasabye obweyamo okuva mu mawanga ga ECOWAS nti tebajja kumuvaamu bamuweeyo okuvunaanibwa emisango mu ICC nga Nigeria bwe yavaamu eyali Pulezidenti wa Liberia Charles McArthur Ghankay Taylor gwe baawayo mu ICC wadde nga yali akkiriza okuwaayo obuyinza mu mirembe mu 2003.

Jammeh yasabye n’obweyamo nti Famire ye, buzinensi ze n’ebintu bye by’akoze mu Gambia obutayingirirwa bukulembeze bwa Barrow n’abantu b’abadde akola nabo obutaggulwako misango.

Wabula Pulezidenti omupya, Barrow yasinzidde mu Senegal n’agamba nti bannansi ba Gambia be bajja okusalawo oba Jammeh ne basajja bavunaanibwa n’agattako nti n’ebintu byonna Jammeh bye yeekomezza biteekwa okununulwa.  

Barrow ng’awuubira abantu oluvannyuma lw’okulayizibwa.

 

BARROW ADAMA Y’ANI

•Adama Barrow yazaalibwa nga February 11 , 1965 ku kyalo Mankama Kunda mu ssaza ly’e Jimara.

•Nnyina ye Haddy Jallow ate kitaawe ye, Mamadou Barrow.

•Adama mulongo nga ssinga yali wano mu Uganda yandibadde Kato wabula mwannyina Babirye yafa akyali muwere.

•Wadde baamuzaalira mu kyalo, Adama yakulira mu kibuga Banjul. •Yakuzibwa kojja we , Alhaji Mousa Njie, nnannyini kkampuni ya Mousa Njie and Sons. Mu maka ga Alhaji Njie, Adama mwe yayigira ebyobusuubuzi.

•Yasomera mu Crab Island junior secondary ne Muslim High school. •Yakuba ekyeyo e Bungereza gye yakola ng’omukuumi w’ekiro okumala ebbanga nga bw’asoma.

•Musajja musiraamu omukuukuutivu, alina ‘haki’, Fatou Barrow ne Sarjo Barrow.

•Alina abaana bana ( abadde n’abaana bana kyokka omu Habibou Barrow ow’emyaka omunaana embwa yamulumye n’afa ku Mmande.

•Adama mwagazi nnyo wa byamizannyo naddala omupiira, nga muwagizi wa Arsenal

YAHYA JAMMEH Y’ANI?

•Yazaalibwa May 25, 1965 ku kyalo Kanilai mu disitulikiti y’e Foni Kansala mu Gambia.

•Bazadde be ye Muky. Aja Fatou Ashombi Bojang n’omugenzi Junkung Jammeh wabula kigambibwa nti bazadde be bombi baali nzaalwa za Senegal abaasenga mu Gambia mu myaka gya 1940.

• Mukyala we ye Zineb Yahya Jammeh, omwana enzaalwa ey’e Moroco nga balina abaana babiri, omuwala Mariam n’omulenzi Muhammed.

•Okusoma yakutandikira mu Kanilai Primary School mu 1972 gye yava n’adda mu Saint Edwards Primary School mu kitundu ky’e Bwiam gye yamalira Pulayimale mu 1978 ne yeesogga siniya mu Gambia High School mu kibuga Banjul gye yatuulira S4 mu 1983.

• Bwe yamala S4 yeesogga amagye mu 1984 n’afulumira ku ddaala lya Sergeant. Yafuna n’okutendekebwa mu matendekero g’amagye ag’enjawulo, okutuuka mu 1989 lwe yaweebwa ennyonta ez’Obwa ‘Lieutenant’.

•Mu 1992 yalondebwa okuduumira ‘Mitale Polisi’ ey’eggwanga n’asindikibwa ne mu kutendekebwa mu Senegal ne Amerika mu kkoosi ez’enjawulo omuli n’eyitibwa ‘Military Police Officers Basic Course (MPOBC) gye yasomera e McClellan, mu ssaza ly’e Alabama mu Amerika ne Dipulooma eya ‘Military science’ nayo gye yasomera mu Amerika.

•Nga July 22, 1994, Lt. Yahya Jammeh yakulembera bajaasi banne okuwamba Gavumenti ya Sir Dawda Jawara. Akakiiko k’amagye ak’oku ntikko katuula ne kakuza Pulezidenti Jammeh okutuuka ku ddaala lya ‘Captain’ mu November 1994.

•Nga August 28, 1996 Pulezidenti Jammeh yakuzibwa okutuuka ku ddaala ery’Obwa ‘Colonel’ oluvannyuma n’awummula amagye.

•Mu January 2007, yawuniikiriza ensi bwe yategeeza nti yali azudde ekikolo n’eddagala lya siriimu. Eddagala lye, Pulezidenti Jammeh yategeezza nti yali alizudde mu kutabula emiti egy’enjawulo nga kw’agattako n’emmumbwa z’akola mu kutabika ebikoola, n’ensaano z’ebikolo ebyenjawulo mu bbumba.

•Abalwadde be, Pulezidenti Jammeh abakolerako mu ddwaaliro lye eriyitibwa Kanilai Alternative Clinic erisangibwa ku kyalo gye bamuzaala.

•Yasazeewo Gambia okuva mu ICC mu 2016 era yali yaggya Gambia mu mukago gwa Commonwealth mu 2013.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.