TOP
  • Home
  • Agawano
  • Endiga eyereeta awaka emuzaalidde ebyeru!

Endiga eyereeta awaka emuzaalidde ebyeru!

Added 23rd January 2017

Badru Sebirumbi 32, omutuuze ku kyalo Nakanyonyi mu Ggombolola y’e Nabbaale e Mukono ye yeekalizza ku poliisi y’omu kabuga k’omu Kalagi gy’akuumirwa.

SSEMAKA amaaso gamumyukidde ku poliisi bwe bamukwatidde mu bubbi bw’endiga ne yeekaza nti endiga gye bamulanga okubba yajja waka nga teriiko omuntu awondera naye kwe kugitunda aguliremu abaana ssabbuuni.

Badru Sebirumbi 32, omutuuze ku kyalo Nakanyonyi mu Ggombolola y’e Nabbaale e Mukono ye yeekalizza ku poliisi y’omu kabuga k’omu Kalagi gy’akuumirwa.

Omutuuze Kityo eyabbiddwaako endiga yategeezezza nti endiga ze nnya.

Zaakutula ku ttale kwe yali azisibye ne zigenda mu maka ga Sebirumbi kyokka bwe baagendayo n’abawaako endiga ssatu n’abategezza nga eyookuna bwe yali tagirabyeko kyokka omu ku batuuze n’amutegeeza nga bwe yali alabye endiga nnya ewa Sebirumbi.

Oluvannyuma yakirizza okubba endiga n’aggulwako omusango gw’obubbi ku fayiro SD: 10/17/01/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...