
Ekitooke ekifuuse eky'obulambuzi
Bya Florence Tumupende
ABATUUZE ku kyalo Kigaragi mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti ey’e Lwengo bali mukusattira olw'ebitooke bibiri ebyasizza omulundi gumu nga buli kitooke kiriko enkota mwenda.
Ekisinze okubewuunyisa kwe kuba nga ebitooke bino birina eηηo emu naye nga buli ηηo eriko enkota mwenda ate nga buli nkota eriko ebiwagu mwenda.
Nnanyini lusuku luno oluli ku yiika ttaano Hasan Katende olwalabye
ebitooke bino nakwatamu obubwe ne famire ye n'atambulamu era kati amaka galiko kufulu.
Olunwe balutadde ku nannyini bitooke bino nti oba olyawo yaleeta
amajiini gamukuumire olusuku lwe kuba kino babadde tebakirabangako bukya bazaalibwa.
Obulombolombo bwe batadde ku bitooke bino bagamba nti tekikkirizibwa musajja yenna kukwata ku mukazi ng'atunuulidde ebitooke bino era obwedda buli abagezaako okubitunuulira nga bivaamu amaloboozi agabwatuka ng'eggulu.
Abantu batandise okuva munsonda ez’okumpi n’ewara okweyiwa mu
kifo kino kyebayise eky’obulambuzi okwelorera ku bitooke bino
Basabye abavunaanyizibwa ku by’obulimi baveeyo bategeeze eggwanga ku bitooke bino oba bulwadde bwabitooke obubaluseewo nakyo bakimanye.
AKULIRA EBY’OBULIMI MU LWENGO ANNYONYODDE.
Emmanuel Muwanga yategeezezza nga bwe batandise okunonyereza ku bitooke bino bazuule oba bulwadde bwe bwabaluseewo oba bwebityo bwe byatondebwa.
Muwanga yasabye abantu obutatwalira mateeka mungalo ku nnanyini bitooke bino kuba kimenya mateeka n'amusaba okukomawo mu makaage atuule ntende.