TOP

Omusawo w'ekinnansi gamumyuse

Added 24th January 2017

Omusawo w’ekinnansi gamumyuse

 Nakato n’omwana we gwe baali bawambye.

Nakato n’omwana we gwe baali bawambye.

ABANTU bawadde obujulizi obutiisa ku musawo w’ekinnansi, amaaso ne gamumyukira mu kaguli ka kkooti enkulu e Masaka. Steven Wasswa, bamulumiriza okuwamba omwana Hope Resty Nakirijja nga July 19, 2008 n’ekigendererwa ky’okumusaddaaka.

Abamu ku baawadde obujulizi ku Wasswa kuliko Steven Ssembatya ne Reginah Nakato nga bano be bazadde ba Nakirijja.

Kuno kw’ossa Agnes Nankya agambibwa okuba nti ye yalonda omwana ono mu kisaka we baali bamusudde nga bamusibye akandooya mu kikutiya.

Ssembatya yategeezezza kkooti nti Wasswa yatiisatiisa abantu b’omu maka ge okubatuusaako obulabe ng’abalanga kumuttira nkoko ze ezaali zisaalimbira mu nnimiro ya Reginah Nakato, mukyala wa Ssembatya.

Yagambye nti oluvannyuma lwa Wasswa okumulabula, waayitawo akaseera katono omwana we n’abbibwa. Kuno Reginah Nakato n’abalala kwe baagasse obujulizi obwaleetedde abaabadde mu kkooti abamu okukulukusa amaziga.

Omulamuzi Eudesi Keitirima yalagidde Wasswa azzibwe mu kkomera okutuusa nga January 25, 2017 (enkya) nga kkooti bw’erinda abajulizi abalala.

Ye omuwaabi wa gavumenti omukulu owa kkooti enkulu e Masaka, David Baxter Bakibinga yagambye nti okusinziira ku bujulizi obuliwo, Wasswa yandiba alina ky’amanyi ku bimwogerwako era n’ategeeza singa gumumegga waakuwanikibwa ku kalabba.

Wasswa yakwatibwa kyokka n’ayimbulwa mu ngeri etetegeerekeka okutuusa lwe baamukwatidde e Mukono

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...