TOP

Abakubi b'ebicupuli kayingo basatu bakwatiddwa

Added 24th January 2017

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwannyisa abazigu be mmundu kikutte abasajja basatu abagambibwa okukuba ebicupuli ne babisasannya mu bantu mu kitundu bya Kampala.

 Abakwate Yazid Kalyowa ne Francis Kasolo ku poliisi e Katwe

Abakwate Yazid Kalyowa ne Francis Kasolo ku poliisi e Katwe

BYA SHAMIM NABUNYA  

EKITONGOLE kya Flying Squad ekirwannyisa abazigu be mmundu kikutte abasajja basatu abagambibwa okukuba ebicupuli ne babisasannya mu bantu mu kitundu bya Kampala.    

Ku bakwatiddwa kuliko,Yazid Kalyowa45 ng'ono mutuuze we Kawempe Nabukalu zooni, Francis Kasolo 33 ng'ono mutuuze we Fortportal ne Isma Muhammed nga naye w’e Fort Portal nga bano bonna mu kiseera kino bakuumibwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okubakwata nga batambuza ebicupuli ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 8.  

Isma Mohammed omu ku bakwatiddwa

 

Bano basinga kukuba bicupuli mu kapapula ak’emitwalo ebiri.  Kino kiddiridde okukwata Kalyowa oluvannyuma nalonkoma banne kyokka bano basangiddwa mu mayumba gaabwe nga bayina ssente ze bayita “Blank money” ne z’ebicupuli ezibalirirwamu obukadde 8 nga zonna zino zikumibwa Katwe ku poliisi.  

  Abakwate bano okuli Kasolo ne Isma Muhammed kigambibwa okuba nti batoloka mu kkomera ly’e Fort nga bali mu uniform y’e kkomera era nga babadde bayiggibwa poliisi ku misango egye gyawulo okuli ogwo'kufera abantu nga babawa ebicupuli.

Akuliira ekitongole kya Flying Squad e Katwe Ronald Baritwijuka yategeezezza nti baafuna amawulire gano okuva ku muntu omu gwe baali bawadde ebicubuli ne batandika okubalinnya akagere abantu bano okutuusa lwe bakwatiddwa era nga bagenda kubaggulako omusango gwo'kufera abantu ku fayiro nnamba GEF 003/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...