TOP

Mmengo ewadde ekiragiro ku ttaka lya Kabaka

Added 26th January 2017

Mmengo ewadde ekiragiro ku ttaka lya Kabaka

 Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II ow’e Busujju (ku ddyo) ng’aliko by’ayogera ne Kiwalabye Male akulira ekitongole kya Kabaka ekya Buganda Land Board

Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II ow’e Busujju (ku ddyo) ng’aliko by’ayogera ne Kiwalabye Male akulira ekitongole kya Kabaka ekya Buganda Land Board

ABALI ku ttaka lya Kabaka baakutandika okusasula obusuulu okutandika n’olwa February 1,2017. David Kyewalabye Male, akulira Buganda Land Board ye yayanjudde entegeka eno mu nsisinkano ekitongole gye kyabaddemu n’abaami b’Amasaza mu Buganda ku Jevine Hotel ku Lwokubiri.

Kyewalabye yagambye nti “Enteekateeka eno yaakukolebwa buli muntu ali ku kibanja era ekolebwa mu mateeka ga gavumenti era tugenda ku ngereka y’ensimbi za Busuulu nga bwe zaagerekebwa Gavumenti ne zikakasibwa gavumenti z’ebitundu.

” EBITUNDU NGA BWE BIGENDA OKUSASULA: Abali mu Disitulikiti y’e Masaka nga basangibwa mu Munisipali baakusasula 12,000/- ate abali mu Town Council ba 10,000/- olwo ababeera mu byalo basasule 2,500/-.

E Luweero bakusasula 20,000/- (mu Town Council) ate abali mu byalo basasule 5,000/-. Mu Disitulikiti y’e Nakaseke ababeera mu Town council basasula 30,000/- ate mu byalo 5,000/-. Ababeera mu bubuga e Rakai baakusasula 30,000/-, abasangibwa mu Town Council ba 20,000/- ate mu byalo ssente ezaakakasibwa gavumenti ziri 5,000/-. E Sembabule (Mawogola) abaayo bagereka 20,000/- okusasulwa abo ababeera mu Town Council.

Ababeera mu Town Board 15,000/- ate mu byalo ba 5,000/-. Okusolooza Busuulu kiri mu kiragiro Nnamba 55 aka 2011 mu butundu 31 ne 93 obw’etteeka ly’ettaka. Ssente zonna zisasulwa buli mwaka.

Mu ngeri y’emu Kyewalabye yakubirizza abantu abali ku ttaka lya Kabaka okwongera okwewandiisa kubanga abateewandiisa baakufuna obuzibu bwe banaabeera balina bye baagala okukola ku ttaka lyabwe okuli okutunda ekibanja.

Ye Ssentebe w’abaami b’Amasaza, David Ssekyeeru Kayima yasabye aba BLB nga batandika enkola eno okusindika mu byalo abakozi abeesigwa.

Ssekyeeru yagambye nti “Tusaba ekitongole kino kirowooze ku nsonga y’okuzzaawo ebibanja by’abaami b’Amasaza ebisangibwa ku kibuga kubanga baabikozesanga okukolera Obwakabaka emirimu okuli okuwewula abo abava mu masaza ageewala omugugu gw’okusula.” Abaami b’amasaza abawerako beetabye mu nsisinkano eno nga bateesezza ensonga ez’enjawulo ezikwata ku ttaka ly’Obwakabaka erisangibwa mu masaza ate n’okulagibwa enkola egenda okuyitibwamu okusolooza Obusuulu buno.

Ab’ekitongole kino baategezezza nti ensimbi zonna eza Busuulu zaakusasulwa mu Stanbic bbanka nnamba 9030005607948, Pay way ne Mobile Money.

Okwewala abafere, Kyewalabye agambye nti ebiwandiiko ebitongole eby’ekitongole kino bye birina okukozesebwa. Eyaliko Katikkiro wa Buganda, Owek. Dan Muliika ku nsonga eno yagambye nti; Wano mu Buganda tulina amateeka agagobererwa mu nsonga z’ettaka naye sikkiriziganya ne minisitule y’ebyettaka mu ggwanga okugereka ensimbi ezirina okusasulwa mu busuulu.

Obusuulu busasulirwa okuteekawo entegeeragana n’omukwano eri nnanyinni ttaka, kyokka ekizibu kye twafuna kwekuba nti gavumenti eyawakati eterina ky’emanyi ku bya ttaka ate okuteeka amateeka ku ttaka eririna ennono eririfuga.

Olaba nabo tebasasula busuulu awali Palamenti ng’ate ttaka lya Buganda. N’ekirala njagala bannaffe abo bamanye nti ettaka lya Buganda lirina bannyinni lyo okufaanana ne bwe kiri mu bitundu ebirala.

Noolwekyo yali nsonga okusooka okugamba nti Busuulu alina okusasulwa alina kubeera 1,000/-. Kino bwe kibeera kyakyusiddwa, kirungi ko naye lwaki gavumenti eya wakati y’eteeka ebisale bya busuulu nga ffe, abali ku ttaka ate era abalina n’Olukiiko lwa Buganda, nga tetuteesa ku nsonga zino.

Dr. Adam Kimala Nsubuga, Katikkiro w’ekika ky’Emmamba eyawummula era Ssentebe w’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda agamba nti; “Eky’ennono mu Buganda kiri nti ettaka lya Kabaka era abantu bonna ba Kabaka.

Awo Kabaka we yasimira buli muntu we okubeera n’ekibanja, ekitegeza nti ky’ofunye kikubanja okuwa ekkanzu, okuzimba, okuwasa, okuwa omusolo, okulima emmere ya Kabaka n’ebirala bingi. Obusuulu nsaba bukolebwe nga bwe kyabeeranga edda ng’omuntu awa okusinzira ku bunene bw’ekibanja kyalina

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....