TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka awudiisizza mukyala muto n'asiba omukulu empeta

Ssemaka awudiisizza mukyala muto n'asiba omukulu empeta

Added 29th January 2017

Mukyala muto okubuzaabuuzibwa, enkiiko bba ne banne ze batuuzanga okutandika n’omwaka oguwedde zaalaganga bba bwe yali agenda okwanjulwa nga tewali we zaasiinyizaako ku kigambo kya kugattibwa mu Klezia.

 Matovu (ku kkono) ku mukolo gw’okwanjulwa.

Matovu (ku kkono) ku mukolo gw’okwanjulwa.

Bya JOSEPH MAKUMBI ne JOSEPHAT SSEGUYA

OMUSUUBUZI w’omu Kampala, awudiisizza mukyala muto, bw’amutegeezezza nti agenda kwanjulwa mukyala mukulu kyokka omukolo ne gusooka kuba gwa kugattibwa mu Klezia!

Nassolo ng’amema mu kadaali

 

Mukyala muto okubuzaabuuzibwa, enkiiko bba ne banne ze batuuzanga okutandika n’omwaka oguwedde zaalaganga bba bwe yali agenda okwanjulwa nga tewali we zaasiinyizaako ku kigambo kya kugattibwa mu Klezia.

Abamu ku banne ababadde mu nkiiko zino nabo kyababuuseeko bwe baategeezeddwa ku ssaawa esembayo nti ku nkazu ne gomesi bagatteko ebyambalo by’embaga!

Tonny Matovu omusuubuzi w’engatto ku Boost Arcade esangibwa ku luguudo lwa William mu Kampala, alina abakyala babiri okuli mukyala muto, Betty Nakiwolo ne mukyala mukulu Juliet Nassolo gw’alinamu abaana abasatu.

Matovu yasalawo ayanjulwe mukyala mukulu era abazadde b’omukyala ku kyalo Betereemu e Kyotera mu disitulikiti y’e Rakai ne bamutegekera mu ssanyu.

Kigambibwa nti wakati awo, mukyala muto yawulira lugambo nti bba mu ntegeka zino mwalimu n’okukuba muggya we embaga makeke.

Wano Nakiwolo yabuuza bba ku by’embaga, Matovu n’amutegeeza nti baali bagenda kumwanjula bwanjuzi.

Mu kiseera kino, ne mukyala mukulu yamanya nti, mukyala muto yali ategedde eby’embaga era abamu ku b’ehhanda ze we baatandikira okuyiiya amagezi engeri gye bayinza okutambuzaamu ebintu nga tewali buzibu bukoleddwa.

Wano we baasalirawo omuko Matovu asooke kugattibwa olwo okwanjulwa kujje oluvannyuma. Mu mbeera eno, Matovu yasoose kugattibwa mu Klezia y’oku kyalo ku Lwomukaaga, ate enkeera olwo n’ayanjulwa.

Nakiwolo

 

OKWANJULA

Okwanjula kwabadde kw’amaanyi okusinga embaga gy’oyinza okugamba nti yagudde bugwi.

Era emmere eyaliiriddwa mu kwanjulwa, abamu baaliiriddemu n’eyandibadde ey’embaga kubanga bangi ku mbaga tebaabaddewo. Matovu, yayiye ssente mu kwanjula ng’ebintu bye yatutte kwabaddeko ne loole ya sseminti kwe yagasse n’emmotoka y’omugole ng’ekirabo ne kalonda w’ebintu ebirala.

Olw’okuba kye baabadde baagala kyabadde kiwedde n’embaga ey’amangu, ebya ‘hane muunu’ Matovu teyabifuddeko baakomyewo Kampala ne badda ku mirimu.

Matovu yasoose kuggya dduuka lye eriri ku Boost ku mukyala muto mw’abadde atundira engatto n’alikwasa omugole. Nassolo bulijjo abadde akolera ku kizimbe kya Angels Plaza.

Wabula Nakiwolo ku by’edduuka eryamuggyiddwaako yategeezezza nti, bamaze kukkaanya na bba nti agenda kumukolera eddala.

ENTEGEKA Y’EMBAGA

Hajji Muzafaru Kasozi nga ye yabadde ssentebe w’okwanjula ate oluvannyuma era eyafuuse ssentebe w’embaga, yategeezezza Bukedde nti, tewali kye baakoze mu kwekweka era ye kennyini ye yatuukirira Nakiwolo n’amutegeeza nti bagenda kwanjula bakole n’embaga.

Yagasseeko nti, bwe waba nga waliwo ekintu kyonna, Nakiwolo kye yeemulugunyako oba kye yeetaaga ewa Matovu, abatuukirire akibategeeze balabe engeri gye bakimuwa.

Kasozi era nga wa luganda ne Matovu, yagenze mu maaso n’agamba nti si buli mukyala gw’ozaddemu nti omuwasa.

Kasozi ne Matovu ne bagagga bannaabwe ku kizimbe kya Boost, balina ekibiina kyabwe mwe beegattira kye baatuuma G7 ab’omunda nga be baasooka n’okumanya eby’embaga okubaawo wadde abalala mu nteekateeka baasooka kumanya bya kwanjulwa kwokka.

Kigambibwa abamu ku bammemba ba G7, baasalawo okuwasa abakyala abasukka mu omu era nga kati abamu kalombolombo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...