TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Asabye abazirakisa okumuyamba adde ewaabwe e Burundi

Asabye abazirakisa okumuyamba adde ewaabwe e Burundi

Added 30th January 2017

MARIA Ndikumaana ow'emyaka 54 asaba abazirakisa okumuyamba okumufunira byonna ebyetaagisibwa omuli n'entambula okudda ewaabwe e Burundi.

 Ndikumaana

Ndikumaana

Bya Yudaya Nalwegayo

Ono eyasangiddwa e Ntebe yalaze nga bwe yava e Burundi ku kyalo kya Kumini - Marangala emyaka 3 egiyise okuyiiya obulamu mu Uganda n'atandika okukola mu bizinga ebitali bimu n'okulima ebipakasi.

Ndikumaana yategeezezza nga bw'abadde asula ku kkanisa y'Abalokole emu e Kawuku ku luguudo lw'e Ntebe wabula nga kati omutima gw'okudda eka gumuluma kuba embeera y'okwebezaawo emukaluubiridde.

Asaba omuzirakisa yenna okumuyamba okumugobera ku biwandiiko bye bupya asobole okuddamu okusisinkana abaana be wamu ne bba gw'agamba nti kati abeera Tanzania.

Ono yasangiddwa mu bitundu by'e Ntebe nga bimusobedde olw'okubula w'asula ng'ebiseera ebisinga asula ku poliisi ez'enjawulo mu bitundu ebiriraanye e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...