TOP

Abasibe abakyala betaaga paadi

Added 30th January 2017

Abasibe abakyala betaaga paadi

 Abamu ku Basibe nga bafuna obujjanjabi e Luzira

Abamu ku Basibe nga bafuna obujjanjabi e Luzira

AKAKIIKO ka palamenti k’ensonga z’omunda n’ebyokwerinda kennyamidde ku ngeri abasibe abakazi gye bayisibwamu mu makkomera ne beemulugunya nti bangi tebaweebwa bikozesebwa bya kikazi bimala nga ppaadi n’obuwale ng’ate abali embuto n’abalina abaana tebaweebwa nkizo.

Ab’akakiiko era bagambye ekitongole ky’amakkomera okudibya enkola y’okugenda mu bidoli ebissibwa mu makkomera naddala ekiro ne bawa amagezi gazimbibwemu kaabuyonjo ez’omulembe.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko kano akakulemberwa eyali omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba ekwata ku makkomera makkomera mu ggwanga.

Ababaka baagambye nti amakkomera gaazimbibwa mu ngeri efananagana awatali kwawula musibirwa basajja na bakazi.

Baayogedde nti abakazi bangi tebawebwa buwale na ppaadi bimala kukola ku nsonga za kikazi ng’ate agamu tegassibwamu mbeera esobozesa bakazi balina baana bato okwetaaya obulungi.

’’Tewali bifo bakazi we bayonseza baana baabwe wadde ebifo awajanjabirwa abasibe abakazi abali embuto,’’ Lipooti bweeraga n’esaba ensonga ezikwata ku kutereeza embeera z’abakyala mu makkomera zitunulwemu mu ngeri ey’enjawulo.

Ku nsonga z’okufuluma mu bidoli, ababaka bagamba nti omuze guno gukyaliwo mu makkoera 63 era baagala kuvirewo ddala kyongere ku basibe okuba mu mbeera eyeyagaza.

Baasabye abalamuzi okutandika okuweesa abasingiddwa engassi oba abakoze emisango egitali minene baleme kuwebwanga bibonerezo bya kusibwa oba bakolenga ebibonerezo ng’ebyokuyonja ebifo bya lukale kye bagamba nti kijja kukendeeza ku mujjuzo mu makkomera.

Baasabye gavumenti okusaawo emmottoka ezitambuza abalwadde ku makkomera zisobole okutwala amangu mu malwaliro abasibe ababa bagwiriddwa obulwadde obwa mangu.

Era ne basaba n’amakkomera okukomya omuze gw’okusibira awamu  abasibe abalina endwadde ezitulira nga TB wamu n’abalala abalamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...