TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamukadde w'emyaka 70 bamutuze lwa ssente 1,000,000/-

Nnamukadde w'emyaka 70 bamutuze lwa ssente 1,000,000/-

Added 1st February 2017

POLIISI y'e Luweero eyigga abatemu abaayingiridde Efulansi Nakabugo 70, eyagabanye ssente 1,000,000/- z'abadde yatereka mu kibiina ne bazimubbako ate ne baleka nga bamusse.

 Abatuuze nga bazze okwetegereza omulambo gwa Nakabugo.

Abatuuze nga bazze okwetegereza omulambo gwa Nakabugo.

POLIISI y'e Luweero eyigga abatemu abaayingiridde Efulansi Nakabugo 70, eyagabanye ssente 1,000,000/- z'abadde yatereka mu kibiina ne bazimubbako ate ne baleka nga bamusse.

Bino byabadde Kiryannyonza mu ggombolola y'e Luweero mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri ababbi bwe baasambye oluggi ne bayingirira Nakabugo.

Mu nnyumba munda ebintu byonna abatemu baabimansizza nga kirabika baabadde banoonya ssente.

Oluvannyuma lw'okumutuga omulambo baagulese mu mulyango muzzukulu we eyategeerekeseeko erya Joan we yamusanze ku makya.

Oweebyokwerinda ku kyalo kino Moses Semmambo yagambye nti abasse omukadde kirabika baabadde bamumanyi.

Akulira ebikwekweto bya poliisi e Luweero, David Okot yasabye abatuuze okuwa poliisi amawulire agayinza okubatuusa ku batemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...