TOP

Ababaka bakunyizza URA ku ssente kasiimo

Added 2nd February 2017

Ababaka bakunyizza URA ku ssente kasiimo

 Aba URA nga bali mu kakiiko

Aba URA nga bali mu kakiiko

ABABAKA abatuula ku kakiiko ka Palamenti akalondoola ebitongole bya gavumenti aka COSASE bakunyizza abakungu b’ekitongole kya URA bwe babasabye babayonnyole ekyabasabisa pulezidenti Museveni ssente za kasiimo obuwumbi omukaaga ezaagabanyizibwa abakozi ba gavumenti 42.

Aba URA baakulembeddwamu akulira ekitongole, Doris Akol ne Ali Sekatawa akulira ebyamateeka. Ababaka abakulembeddwamu ssentebe wa kakiiko Abdu Katuntu (Bugweri County) basabye aba URA banyonnyole  ekyabakuumisa mu kyama ssente za kasiimo bwe kiba nga ddala zaali  mu bulambulukufu.

Baabasabye n’okulambulula ekyabatwaza ssente ze bamanyi nti ku biwandiiko zaali ziraga nti zaabasomesa ba yunivasite abatasomesa butereevu.

Aba URA bategeezezza nti baali basabye zibaweebwe mu lujudde, ate ku ky’okuba nga ku biwandiiko kwali kuwandiikiddwako nti za bakozi ba yunivasite basabye aba minisitule ye bye nsimbi be baba bakyogerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...