TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Kavuma aweereddwa mbale okwewozaako mu gw'okubba ettaka

Omulamuzi Kavuma aweereddwa mbale okwewozaako mu gw'okubba ettaka

Added 3rd February 2017

KKOOTI Enkulu eragidde omulamuzi era omumyuka wa Ssaabalamuzi Steven Kavuma yeewozeeko ku by’okubba ettaka lya Johh Ssentongo eribalirirwamu obukadde 200.

 Omulamuzi Kavuma

Omulamuzi Kavuma

Bya ALICE NAMUTEBI

KKOOTI Enkulu eragidde omulamuzi era omumyuka wa Ssaabalamuzi Steven Kavuma yeewozeeko ku by’okubba ettaka lya Johh Ssentongo eribalirirwamu obukadde 200.

Ekiragiro kino kiyisiddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti ekola ku nsonga z’ettaka Esther Nambayo n’alagira Kavuma okwewozaako ku musango guno mu nnaku 15.

Ettaka eritwazizza Omulamuzi Kavuma mu kkooti liri Makindye mu Kizungu Zooni ku poloti 1257 ne 1258.

Ssentongo agamba nti yagula ettaka lino ku Obed Kabagambe mu December 2008 n’awandiikira Buganda Land Board ng’asaba liizi kyokka oluvannyuma mu March 2016 yagenda okulaba ng’abantu batandise okuzimba mu ttaka lye nga bataddemu n’akapande okwali ennamba y’essimu nga kaliko n’ebigambo ebigaana abantu abalala okusaalimbiramu.

Agamba nti bwe yakuba ku nnamba eyali ku kapande omulamuzi Kavuma ye yagikwata n’amuyita mu ofiisi ye.

Ssentongo annyonnyola nti, ng’amaze okwogera ne Kavuma era ng’amulaze n’endagaano kwe yagulira ettaka lino, Kavuma ate yagenda ku poliisi e Makindye n’amuggulako omusango gw’okusaalimbira mu ttaka lye era ne bamusiba era n’okutuusa kati akyeyanjula ku poliisi olw’ettaka lye yagula.

Agamba nti omulamuzi Kavuma kati ettaka alikuumya ba mmundu era n’abazimbi baatandika dda okusima omusingi nga kw’otadde n’okuteekako obupande obugamba nti, “Tewali poloti zitundwa ku ttaka lino, weekuume ababbi n’abafere’.

Ssentongo ng’ayita mu balooya be aba M/s KGN Advocates asabye kkooti eyise ekiragiro ekigaana omulamuzi Kavuma okuteeka enkulaakulana yonna ku ttaka lino okutuusa ng’omusango guwedde era n’ettaka lino kkooti erimugobeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.