TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nsereko bamuwadde eddagala ery'amaanyi omusaayi gufulume

Nsereko bamuwadde eddagala ery'amaanyi omusaayi gufulume

Added 3rd February 2017

Meddie Nsereko asimattuse okufiira mu kabenje ne bamubbako ebyapa!

 Nsereko mu Ddwaliro ate mu katono bwafaanana

Nsereko mu Ddwaliro ate mu katono bwafaanana

Nsereko akyawulira obulumi obw’amaanyi mu kifuba bwe yatomedde ekikondo ng’agezaako okutaasa owa bodaboda eyayingidde mu luguudo mu ngeri y’ekimama.

Akabanje kano Nsereko yakafunidde kumpi n’Omuzikiti gw’e Kibuli ku ssaawa nga 5:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano bwe yabadde adda ewuwe e Kisugu ng’ava ku mulimu ku CBS gye yabadde ava okukubiriza pulogulaamu eyitibwa ‘Kkiriza oba Gaana”.

Nsereko ayogedde Ebyabaddewo Bwe nnavudde ku mulimu, nnakyamyeko awantu ne nnyumyamu ne mikwano gyange. Bwe zaaweze essaawa nga 5:00 kwe kusalawo nzire eka.

Nabadde nzikirira nga ku muzikiti e Kibuli, owa bodaboda n’ayingira ekkubo omulundi gumu. Namwekanze nnyo era mu kulwana okumuwonya, mmotoka yampabyeko n’etomera ekikondo ky’ettaala y’oku kkubo era awo nze we nakomye okutegeera.

Nazzeemu okutegeera nga ndaba ndi mu ddwaaliro abasawo bankolako. Eby’okunzigya mu mmotoka byonna n’okuntwala mu ddwaaliro ebyakoleddwa abazirakisa saabitegedde era simanyi bannyambye kunzigya mu kifo ekyo.

Kyokka wadde abadduukirize bannyambye nnyo, naye mu bo mwabaddemu abatali balungi ababbye ebintu ebyabadde mu mmotoka ng’ebyapa by’ettaka ebya kkampuni emu gye nkolera, amasimu era nsaba eyabitutte annyambe abinzirize.”

Obulumi bw’alimu Nsereko siteeringi ya mmotoka yamukubye mu kifuba era mw’asinga okuwulira obulumi. Ekitiisizza abasawo, kwe kuba nti teyavuddemu musaayi ekyeraliikiriza nti guyinza okuba nti gwazze munda nga kati kaweefube abasawo gwe baliko kwe kukakasa nti teyafunye buvune bubi mu nda mu kifuba.

Baamukubye ebifaananyi mu kifuba bazuule oba tewali buzibu bw’amaanyi bwe yafunye mu kifuba kyokka nga we bwakeeredde ku Lwokutaano, Nsereko yabadde akyawulira obulumi obw’amaanyi naddala mu kifuba.

Abasawo abamujjanjaba abataayagadde kwatuukiriza mannya, baategeezezza nti, omusaayi tegwafulumye oluvannyuma lw’akabenje naye bamuwadde eddagala eryamaanyi gufulume.

Nsereko mu ddwaaliro yabadde ajjanjabwa mukyala we Sarah Mirembe naye eyasabye abantu obutayogeza nnyo bba asobole okuwummula ekimala ng’abasawo bwe baalagidde.

Poliisi eyogedde Akulira poliisi y’ebidduka ku poliisi e Kabalagala, Apollo Sirvasco yakakasizza nti akabenje kano kaavudde ku wa bodaboda nti era Nsereko yabadde avuga mmotoka ya kika kya Prado nnamba UA X 906Q.

Yagambye nti mmtoka eno baagiggye mu kifo awaagudde akabenje ne bagitwala ku poliisi e Kabalagala kyokka nga baakugiddiza Nsereko amangu ddala ng’avudde mu ddwaaliro kubanga bamaze okugiggyako byonna bye baagala.

Ebikwata ku Meddie Nsereko

l July 2012, baamuyita ku kitebe kya bambega e Kibuli ne bamukunya okumala essaawa ssatu ku byali bigambibwa nti yakola pulogulaamu z’ebyobufuzi ku leediyo nga zikuma omuliro mu bantu.

Gavumenti bwe yaggalawo CBS oluvannyuma lw’okwekalakaasa mu 2009, Nsereko yalinnya ennyonyi n’agenda e Bulaaya ebigambo ne bifulumizibwa nti yali Bungereza ng’akola gwa bukuumi.

Ng’atandika okukola ku CBS yabeerangako kiro ku pulogulaamu z’okukuba ennyimba. Yasooka kweyita Omusezi Meddie Nsereko ne yeeyongerako Omugagga omuto.

Akola pulogulaamu z’ebyobufuzi okuli; Kkiriza Oba Gaana ne Palamenti yaffe ku CBS

Yasooka okukola ku CBS nga talina diguli oluvannyuma n’addayo e Makerere n’asoma diguli mu mawulire.

l Mwogezi ku mikolo era awaana nnyo abagagga.  Kizibu okuvaawo ng’omugagga tamuwadde ku ssente.

Olutalo olwaleeta gavumenti ya Museveni, Nsereko yali ‘kadogo’ era ebiseera ebimu bw’afuna omwagaanya okutuuka awali pulezidenti amukubayo akaama nga bwe yakola mu May 2015 mu kuziika Nnamwandu wa Samson Kisekka.

Yeesolossa awali Museveni n’abeerako by’amutegeeza.

2014 yawooye Sarah Mirembe embaga yabadde ku Hotel Africana yakuhhaanyizza abantu bangi.

Muwagizi wa mupiira era mumyuka wa pulezidenti akola guno ne guli mu SC Villa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...